Okubala 34:1-29

  • Ensalo za Kanani (1-15)

  • Abasajja abaweebwa ogw’okugabanyaamu ensi (16-29)

34  Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti:  “Lagira Abayisirayiri nti: ‘Bwe munaatuuka mu nsi ya Kanani,+ eyo ye nsi gye mugenda okufuna ng’obusika, ensi ya Kanani ng’ensalo zaayo bwe ziri.+  “‘Ensalo yammwe ey’ebukiikaddyo ejja kuva ku ddungu lya Zini okuliraana Edomu, ate ku luuyi olw’ebuvanjuba ensalo yammwe ey’ebukiikaddyo ejja kuva Ennyanja ey’Omunnyo* gy’ekoma.+  Ensalo yammwe ejja kuweta eyite ebukiikaddyo w’ekkubo eryambuka Akulabbimu,+ yeeyongereyo okutuuka e Zini n’okutuukira ddala ebukiikaddyo wa Kadesi-baneya.+ Okuva awo ejja kugenda etuuke e Kazalu-addali+ yeeyongereyo e Azumoni.  Ejja kuwetera Azumoni eyite ku Kiwonvu* ky’e Misiri, era ejja kukoma ku Nnyanja.*+  “‘Ensalo yammwe ey’ebugwanjuba ejja kuba Ennyanja Ennene* n’olubalama lwayo. Eyo y’ejja okuba ensalo yammwe ey’ebugwanjuba.+  “‘Eno y’ejja okuba ensalo yammwe ey’ebukiikakkono: Mujja kulamba ensalo yammwe okuva ku Nnyanja Ennene okutuuka ku Lusozi Kooli.  Okuva ku Lusozi Kooli mujja kulamba ensalo okutuuka e Lebo-kamasi,*+ era egendere ddala okutuuka e Zedadi.+  Ensalo ejja kweyongerayo e Zifuloni era ejja kukoma Kazalu-enaani.+ Eyo y’ejja okuba ensalo yammwe ey’ebukiikakkono. 10  “‘Era mujja kulamba ensalo yammwe ku luuyi olw’ebuvanjuba okuva e Kazalu-enaani okutuuka e Sefamu. 11  Okuva e Sefamu ensalo ejja kweyongerayo etuuke e Libula ebuvanjuba wa Ayini, era ejja kuserengeta eyite mu busozi obuli ebuvanjuba w’Ennyanja Kinneresi.*+ 12  Ensalo ejja kweyongerayo etuuke ku Yoludaani, era ejja kukoma ku Nnyanja ey’Omunnyo.+ Eyo y’ejja okuba ensi yammwe+ era ezo ze zijja okuba ensalo zaayo ku njuyi zonna.’” 13  Awo Musa n’alagira Abayisirayiri ng’agamba nti: “Eyo ye nsi gye mujja okugabana nga mukuba akalulu+ nga Yakuwa bw’alagidde, eweebwe ebika omwenda n’ekitundu. 14  Kubanga ekika ky’Abalewubeeni okusinziira ku nnyumba ya bakitaabwe, n’ekika ky’Abagaadi okusinziira ku nnyumba ya bakitaabwe, n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase bimaze okufuna obusika bwabyo.+ 15  Ebika ebibiri n’ekitundu bimaze okufuna obusika bwabyo mu kitundu ekiri ebuvanjuba wa Yoludaani ekiriraanye Yeriko.”+ 16  Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 17  “Gano ge mannya g’abasajja abanaabagabanyizaamu ensi ebeere yammwe: Eriyazaali+ kabona ne Yoswa+ mutabani wa Nuuni. 18  Mujja kuggya omwami omu omu mu buli kika bayambe mu kugabanyaamu ensi okuba obusika bwammwe.+ 19  Gano ge mannya g’abasajja: okuva mu kika kya Yuda,+ Kalebu+ mutabani wa Yefune; 20  okuva mu kika ky’abaana ba Simiyoni,+ Semweri mutabani wa Ammikudi; 21  okuva mu kika kya Benyamini,+ Eridaadi mutabani wa Kisuloni; 22  okuva mu kika ky’abaana ba Ddaani,+ omwami Bukki mutabani wa Yoguli; 23  okuva mu baana ba Yusufu,+ ab’ekika ky’abaana ba Manase,+ omwami Kaniyeri mutabani wa Efodi; 24  okuva mu kika ky’abaana ba Efulayimu,+ omwami Kemweri mutabani wa Sifutani; 25  okuva mu kika ky’abaana ba Zebbulooni,+ omwami Erizafani mutabani wa Palunaki; 26  okuva mu kika ky’abaana ba Isakaali,+ omwami Palutiyeri mutabani wa Azani; 27  okuva mu kika ky’abaana ba Aseri,+ omwami Akikudi mutabani wa Seromi; 28  okuva mu kika ky’abaana ba Nafutaali,+ omwami Pedakeri mutabani wa Ammikudi.” 29  Abo Yakuwa be yalagira okugabanyizaamu Abayisirayiri ensi ya Kanani.+

Obugambo Obuli Wansi

Ennyanja Enfu.
Laba Awanny.
Ennyanja Ennene, Ennyanja Meditereniyani.
Ennyanja Meditereniyani.
Oba, “awayingirirwa e Kamasi.”
Ennyanja ey’e Genesaleeti, oba, ennyanja ey’e Ggaliraaya.