Okubala 36:1-13
-
Etteeka erikwata ku kuwasa omukazi alina eby’obusika (1-13)
36 Awo abakulu b’empya z’abaana ba Gireyaadi mutabani wa Makiri+ mutabani wa Manase okuva mu mpya z’abaana ba Yusufu ne bajja ne boogerera mu maaso ga Musa n’abaami, abakulu b’empya z’Abayisirayiri,
2 ne bagamba nti: “Yakuwa yalagira mukama waffe okugabira Abayisirayiri ensi ng’obusika ng’ekubirwa kalulu;+ era Yakuwa yalagira mukama waffe nti obusika bwa Zerofekaadi muganda waffe abuwe bawala be.+
3 Bwe banaafumbirwa abasajja ab’omu bika bya Isirayiri ebirala, obusika bw’abakazi abo bujja kuggibwa ku busika bwa bakitaffe bugattibwe ku busika bw’ekika kye banaaba bafumbiddwamu, bwe kityo buggibwe ku mugabo gw’obusika bwaffe.
4 Omwaka gw’Abayisirayiri ogwa Jjubiri+ bwe gunaatuuka, obusika bw’abakazi abo bujja kugattibwa ku busika bw’ekika kye banaaba bafumbiddwamu, bwe kityo obusika bwabwe buggibwe ku busika bw’ekika kya bakitaffe.”
5 Awo Musa n’alagira Abayisirayiri nga Yakuwa bwe yamulagira, n’agamba nti: “Ab’ekika ky’abaana ba Yusufu kye bagamba kituufu.
6 Kino kye kigambo Yakuwa ky’alagidde ku bawala ba Zerofekaadi, ‘Bayinza okufumbirwa yenna gwe baba basiimye. Naye balina kufumbirwa mu luggya lw’ekika kya kitaabwe.
7 Tewabangawo busika bw’Abayisirayiri bukyuka kuva mu kika ekimu okudda mu kirala, kubanga Abayisirayiri balina okukuuma obusika bw’ekika kya bajjajjaabwe.
8 Era buli muwala anaafunanga obusika mu bika bya Isirayiri alina kufumbirwa omu ku b’omu kika kya kitaawe,+ Abayisirayiri basobole okusigaza obusika bwa bakitaabwe.
9 Tewabangawo busika bukyuka kuva mu kika ekimu okudda mu kirala, kubanga ebika bya Isirayiri birina okukuuma obusika bwabyo.’”
10 Bawala ba Zerofekaadi baakolera ddala nga Yakuwa bwe yalagira Musa.+
11 Makula, Tiruza, Kogula, Mirika, ne Nuuwa, bawala ba Zerofekaadi,+ baafumbirwa batabani ba baganda ba kitaabwe.
12 Baafumbirwa abasajja ab’omu mpya za Manase mutabani wa Yusufu, obusika bwabwe busobole okusigala mu kika kya kitaabwe.
13 Bino bye biragiro n’amateeka Yakuwa bye yawa Abayisirayiri ng’ayitira mu Musa, mu ddungu lya Mowaabu okumpi ne Yoludaani okuliraana Yeriko.+