Okubala 4:1-49
4 Awo Yakuwa n’ayogera ne Musa ne Alooni n’abagamba nti:
2 “Mubale abaana ba Kokasi+ mu baana ba Leevi okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe,
3 bonna okuva ku b’emyaka 30+ okutuuka ku b’emyaka 50,+ abali mu kibinja ekiweereddwa okukola emirimu mu weema ey’okusisinkaniramu.+
4 “Gino gye mirimu abaana ba Kokasi gye banaakolanga mu weema ey’okusisinkaniramu,+ era gikwata ku bintu ebitukuvu ennyo:
5 Abantu bwe banaabanga basitula okugenda, Alooni ne batabani be bajja kujjanga bawanuleyo olutimbe+ balubikke ku ssanduuko+ ey’Obujulirwa.
6 Bajja kugibikkangako eky’okubikkako eky’amaliba amagonvu* era kungulu babikkeko olugoye olwa bbulu, era bagiyingizeemu emisituliro+ gyayo.
7 “Era bajja kwaliriranga olugoye olwa bbulu ku mmeeza ey’emigaati egy’okulaga+ era ku mmeeza eyo bateekeko ebibya n’ebikopo n’ebbakuli n’ensumbi eby’ekiweebwayo eky’eby’okunywa;+ emigaati+ egiweebwayo obutayosa ginaasigalangako.
8 Bajja kubibikkangako olugoye olumyufu, kungulu babikkeko eky’okubikkako eky’amaliba amagonvu, era bagiyingizeemu emisituliro+ gyayo.
9 Era bajja kubikkanga olugoye olwa bbulu ku kikondo ky’ettaala,+ ku ttaala+ zaakyo, ku magalo zaakyo, ku by’okuteekamu evvu ly’entambi,+ ne ku bibya byakyo byonna eby’amafuta ge bakozesa mu ttaala.
10 Bajja kukizinganga mu maliba amagonvu awamu n’ebintu byakyo byonna bakisse ku musituliro.
11 Ku kyoto+ ekya zzaabu bajja kubikkangako olugoye olwa bbulu era babikkeko n’eky’okubikkako eky’amaliba amagonvu era bakiyingizeemu emisituliro+ gyakyo.
12 Ebintu+ byonna ebikozesebwa mu kuweereza mu kifo ekitukuvu bajja kubiteekanga mu lugoye olwa bbulu era babibikkeko eky’okubikkako eky’amaliba amagonvu, babisse ku musituliro.
13 “Bajja kuyoolanga evvu* mu kyoto,+ era ekyoto bakibikkeko olugoye olwa kakobe.
14 Bajja kukissangako ebintu byakyo byonna bye bakozesa bulijjo nga bakiweererezaako: ebiyoolerwamu olunyata, amakabi, ebitiiyo, n’ebbakuli, ebintu byonna ebikozesebwa ku kyoto;+ era bajja kukibikkangako eky’okubikkako eky’amaliba amagonvu, bakiyingizeemu emisituliro+ gyakyo.
15 “Alooni ne batabani be bajja kumalirizanga okubikka ku kifo ekitukuvu+ ne ku bintu byonna eby’omu kifo ekitukuvu ng’abantu basitula okugenda, era oluvannyuma abaana ba Kokasi bajja kujjanga babisitule,+ naye tebakwatanga ku kifo ekitukuvu baleme okufa.+ Abaana ba Kokasi be balina obuvunaanyizibwa obw’okusitula ebintu ebyo ebya weema ey’okusisinkaniramu.
16 “Eriyazaali+ mutabani wa Alooni kabona y’anaabanga n’omulimu gw’okulabirira amafuta g’ettaala,+ obubaani obw’akaloosa,+ ekiweebwayo ky’emmere ey’empeke ekya buli lunaku, n’amafuta amatukuvu.+ Y’anaalabiriranga weema entukuvu yonna ne byonna ebigirimu, nga mw’otwalidde ekifo ekitukuvu n’ebintu byakyo.”
17 Yakuwa era n’ayogera ne Musa ne Alooni n’abagamba nti:
18 “Temuleeteranga ab’olulyo lw’abo abasibuka mu mpya z’Abakokasi+ okusaanawo mu Baleevi.
19 Naye kino kye munaabakoleranga basobole okusigala nga balamu, baleme okufa olw’okusemberera ebintu ebitukuvu ennyo.+ Alooni ne batabani be bajja kuyingiranga bawe buli omu omulimu gw’alina okukola ne ky’alina okusitula.
20 Tebayingiranga okutunuulira ebintu ebitukuvu wadde akaseera akatono, baleme okufa.”+
21 Awo Yakuwa n’ayogera ne Musa n’amugamba nti:
22 Ojja kubala abaana ba Gerusoni+ okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe ne ku mpya zaabwe.
23 Ojja kubawandiika bonna okuva ku b’emyaka 30 okutuuka ku b’emyaka 50, abali mu kibinja ekiweereddwa okuweereza mu weema ey’okusisinkaniramu.
24 Bino ab’omu mpya z’Abagerusoni bye baweereddwa okulabirira n’okusitula:+
25 Bajja kusitulanga emitanda gya weema entukuvu,+ weema ey’okusisinkaniramu, eky’okubikkako kyayo n’eky’okubikkako eky’okungulu+ eky’amaliba amagonvu, n’olutimbe olw’omu mulyango oguyingira mu weema ey’okusisinkaniramu,+
26 n’entimbe z’oluggya,+ n’olutimbe olw’omu mulyango gw’oluggya+ olwetoolodde weema entukuvu n’ekyoto, n’emiguwa gyazo, n’ebintu byonna ebikozesebwa mu kuweereza ku weema. Egyo gye mirimu gyabwe.
27 Alooni ne batabani be be bajja okulabirira emirimu gy’Abagerusoni+ gyonna ne bye balina okusitula byonna; ojja kubawa obuvunaanyizibwa obw’okusitula ebintu ebyo byonna.
28 Egyo gye mirimu ab’empya z’Abagerusoni gye banaakolanga mu weema ey’okusisinkaniramu,+ era banaagikolanga nga balabirirwa Isamaali+ mutabani wa Alooni kabona.
29 “N’abaana ba Merali+ ojja kubawandiika okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe.
30 Ojja kuwandiika okuva ku b’emyaka 30 okutuuka ku b’emyaka 50, abo bonna abali mu kibinja ekiweereddwa okukola emirimu gya weema ey’okusisinkaniramu.
31 Bino bye balinanga okusitula+ mu buweereza bwabwe obukwata ku weema ey’okusisinkaniramu: fuleemu+ za weema entukuvu, emiti+ gyayo, empagi+ zaayo, obutoffaali bwayo obulimu ebituli,+
32 empagi+ ez’oluggya olwetooloddewo, obutoffaali+ bwazo obulimu ebituli, enninga+ zaazo, emiguwa gyazo, ne byonna ebikozesebwa ku bintu bino, ne byonna ebikwata ku buweereza buno. Buli omu ojja kumuwanga ebintu by’alina okusitula.
33 Bwe batyo ab’empya z’abaana ba Merali+ bwe banaaweerezanga ku weema ey’okusisinkaniramu nga balabirirwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.”+
34 Awo Musa ne Alooni n’abaami+ b’ekibiina ne bawandiika abaana ba Kokasi+ okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba ya bakitaabwe,
35 bonna okuva ku b’emyaka 30 okutuuka ku b’emyaka 50 abaali mu kibinja ekyaweebwa okukola emirimu gya weema ey’okusisinkaniramu.+
36 Bonna abaawandiikibwa okusinziira ku mpya zaabwe baali 2,750.+
37 Abo be b’omu mpya z’Abakokasi abaawandiikibwa, abo bonna abaaweerezanga ku weema ey’okusisinkaniramu, Musa ne Alooni be baabawandiika nga Yakuwa bwe yalagira ng’ayitira mu Musa.+
38 Abaana ba Gerusoni+ baawandiikibwa okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba ya bakitaabwe,
39 bonna okuva ku b’emyaka 30 okutuuka ku b’emyaka 50 abaali mu kibinja ekyaweebwa okukola emirimu ku weema ey’okusisinkaniramu.
40 Bonna abaawandiikibwa okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba ya bakitaabwe baali 2,630.+
41 Bwe batyo ab’empya z’abaana ba Gerusoni bwe baawandiikibwa, abo bonna abaaweerezanga ku weema ey’okusisinkaniramu, Musa ne Alooni be baabawandiika nga Yakuwa+ bwe yalagira.
42 Abaana ba Merali baawandiikibwa okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba ya bakitaabwe,
43 bonna okuva ku b’emyaka 30 okutuuka ku b’emyaka 50 abaali mu kibinja ekyaweebwa okukola emirimu ku weema ey’okusisinkaniramu.+
44 Bonna abaawandiikibwa okusinziira ku mpya zaabwe baali 3,200.+
45 Okuwandiikibwa kw’ab’empya z’abaana ba Merali bwe kutyo bwe kwali. Musa ne Alooni baabawandiika nga Yakuwa bwe yalagira ng’ayitira mu Musa.+
46 Musa ne Alooni n’abaami ba Isirayiri baawandiika Abaleevi abo bonna okusinziira ku mpya zaabwe ne ku nnyumba za bakitaabwe.
47 Baali bava ku myaka 30 okutuuka ku myaka 50, era bonna baaweebwa okuweereza n’okusitula ebintu bya weema ey’okusisinkaniramu.+
48 Bonna abaawandiikibwa baali 8,580.+
49 Baawandiikibwa nga Yakuwa bwe yalagira Musa, buli omu ng’obuweereza bwe bwe bwali era nga n’ebyo bye yalina okusitula bwe byali; baawandiikibwa nga Yakuwa bwe yalagira Musa.