Okubala 5:1-31

  • Okwawula atali mulongoofu ku balala (1-4)

  • Okwatula ebibi n’okuliyirira (5-10)

  • Amazzi agaweebwa oyo ateeberezebwa okuba nti yayenda (11-31)

5  Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti:  “Lagira Abayisirayiri baggye mu lusiisira buli muntu alina ebigenge,+ na buli muntu alina ekikulukuto,+ na buli muntu atali mulongoofu olw’okukwata ku mulambo.+  K’abeere musajja oba mukazi, mumuggyeemu. Mubafulumye ebweru w’olusiisira, baleme okwonoona+ ensiisira z’abantu bange be mbeeramu.”+  Awo Abayisirayiri ne bakola bwe batyo, ne bafulumya abantu abo ebweru w’olusiisira. Abayisirayiri baakolera ddala nga Yakuwa bwe yalagira Musa.  Yakuwa era n’agamba Musa nti:  “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Omusajja oba omukazi yenna bw’anaakolanga ekimu ku bibi abantu bye batera okukola, n’ayonoona mu maaso ga Yakuwa, anaabangako omusango.+  Anaayatulanga*+ ekibi ky’anaabanga akoze,* n’aliwa mu bujjuvu olw’omusango gw’anaabanga azzizza, era n’ayongerako ekitundu kimu kya kutaano+ n’abiwa oyo gw’anaabanga azzizzaako omusango.  Naye singa oyo gwe yazzaako omusango aba yafa, era nga tewali wa luganda lwe wa kumpi gw’ayinza kuwa ebyo by’aliwa, binaaweebwanga Yakuwa era binaabanga bya kabona, okuggyako endiga ennume ey’okutangirira, kabona gy’anaakozesanga okutangirira oyo anaabanga azzizza omusango.+  “‘Buli kintu ekitukuvu Abayisirayiri kye banaawangayo+ ne bakireeta eri kabona kinaabanga kikye.+ 10  Ebintu ebitukuvu buli omu by’anaaleetanga binaabanga bibye. Ekintu kyonna omuntu ky’anaawanga kabona, kinaabanga kikye.’” 11  Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 12  “Yogera n’Abayisirayiri obagambe nti, ‘Kino kye kinaakolebwanga singa muka omusajja anaabanga awabye n’ataba mwesigwa eri bba, 13  omusajja omulala ne yeegatta naye,+ kyokka bba n’atakitegeera era ne kitamanyika; n’aba nga yeeyonoona, naye nga tewali amulumiriza era nga tewali yamukwatiriza: 14  Singa bba akwatibwa obuggya era n’aba nga yeekengera nti mukazi we yandiba nga si mwesigwa, era nga ddala omukazi yeeyonoona; oba singa omusajja akwatibwa obuggya era n’aba nga yeekengera nti mukazi we yandiba nga si mwesigwa, naye ng’omukazi teyeeyonoona, 15  omusajja anaaleetanga mukazi we eri kabona awamu n’ekiweebwayo kya mukazi we, kimu kya kkumi ekya efa* y’obuwunga bwa ssayiri. Takifukangako mafuta wadde okukiteekako obubaani obweru, kubanga kiba kiweebwayo eky’emmere ey’empeke eky’obuggya, ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekijjukiza omusango ogwazzibwa. 16  “‘Kabona anaasembezanga omukazi oyo n’amuyimiriza mu maaso ga Yakuwa.+ 17  Kabona anaayoolanga ku nfuufu eri wansi mu weema entukuvu n’agissa mu mazzi amatukuvu nga gali mu kibya eky’ebbumba. 18  Kabona anaayimirizanga omukazi oyo mu maaso ga Yakuwa, n’aggyako ekisibye enviiri z’omukazi era n’assa mu bibatu by’omukazi ekiweebwayo eky’ekijjukizo eky’emmere ey’empeke, kwe kugamba, ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eky’obuggya;+ era kabona anaabanga akutte mu mukono gwe amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo.+ 19  “‘Kabona anaalayizanga omukazi n’amugamba nti: “Bwe kiba nti tewali musajja yenna yeegatta naawe ng’oli wansi w’obuyinza bwa balo,+ era nga towabangako n’oyonoonebwa, amazzi gano agakaawa agaleeta ekikolimo ka galeme kukukolako kabi. 20  Naye bwe kiba nti wawaba ng’oli wansi w’obuyinza bwa balo ne weeyonoona, era ng’omusajja omulala+ atali balo yeegatta naawe,—” 21  Kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro ekirimu okukolimirwa, era anaagambanga omukazi nti: “Yakuwa akufuule ekyo abantu bo kye banaajulizanga nga bakolima era nga balayira, nga Yakuwa akoozimbya* ekisambi* kyo era ng’atumbiiza olubuto lwo. 22  Amazzi gano agaleeta ekikolimo gajja kugenda mu byenda byo gatumbiize olubuto lwo era gakoozimbye* ekisambi* kyo.” Awo omukazi anaddangamu nti: “Amiina! Amiina!”* 23  “‘Kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo mu kitabo era n’abyozaamu ng’akozesa amazzi agakaawa. 24  Era anaanywesanga omukazi amazzi ago agakaawa agaleeta ekikolimo, era amazzi ago ganaamuyingirangamu ne gamuleetera obulumi. 25  Kabona anaggyanga mu mukono gw’omukazi ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eky’obuggya+ n’akiwuubawuuba mu maaso ga Yakuwa, era n’akireeta okumpi n’ekyoto. 26  Kabona anaayoolanga olubatu lw’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke n’akyokera ku kyoto+ ng’ekiweebwayo ekikiikirira ekiweebwayo ekiramba, era oluvannyuma anaanywesanga omukazi amazzi. 27  Awo bw’anaamalanga okumunywesa amazzi, omukazi oyo bw’anaabanga yeeyonoonye, nga tabadde mwesigwa eri bba, amazzi agaleeta ekikolimo ganaamuyingirangamu ne gamuleetera obulumi, era olubuto lwe lunaatumbiiranga era n’akoozimba* ekisambi,* era omukazi anaabeeranga ekintu abantu be kye bajuliza nga bakolima. 28  Kyokka omukazi bw’anaabanga omulongoofu, nga teyeeyonoona, taafunenga kibonerezo ekyo, era anaasobolanga okufuna olubuto n’azaala. 29  “‘Lino lye tteeka erikwata ku buggya,+ omukazi bw’anaawabanga ne yeeyonoona ng’ali wansi w’obuyinza bwa bba, 30  oba omusajja bw’anaakwatibwanga obuggya ne yeekengera nti mukazi we yandiba nga si mwesigwa; omusajja anaayimirizanga mukazi we mu maaso ga Yakuwa, era kabona anaamukolangako byonna ebiragirwa mu tteeka lino. 31  Omusajja taabengako musango, naye omukazi oyo anaavunaanibwanga olw’ekibi kye.’”

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Banaayatulanga.”
Obut., “kye banaabanga bakoze.”
Kimu kya kkumi ekya efa kyali kigyaamu lita 2.2. Laba Ebyong. B14.
Kino kiyinza okuba kitegeeza okufuuka omugumba.
Kirabika kitegeeza ebitundu by’omubiri ebisobozesa omuntu okuzaala.
Kino kiyinza okuba kitegeeza okufuuka omugumba.
Kirabika kitegeeza ebitundu by’omubiri ebisobozesa omuntu okuzaala.
Oba, “Kibeere bwe kityo! Kibeere bwe kityo!”
Kino kiyinza okuba kitegeeza okufuuka omugumba.
Kirabika kitegeeza ebitundu by’omubiri ebisobozesa omuntu okuzaala.