Okubala 8:1-26

  • Alooni akoleeza ettaala omusanvu (1-4)

  • Abaleevi batukuzibwa; batandika okuweereza (5-22)

  • Emyaka gy’Abaleevi abakkirizibwa okuweereza (23-26)

8  Yakuwa n’ayogera ne Musa n’amugamba nti:  “Gamba Alooni nti, ‘Bw’onookoleezanga ettaala omusanvu eziri ku kikondo ky’ettaala, ettaala ezo zinaamulisanga ekifo ekiri mu maaso g’ekikondo ky’ettaala.’”+  Awo Alooni n’akola bw’ati: N’akoleeza ettaala zaakyo okumulisa ekifo ekiri mu maaso g’ekikondo ky’ettaala,+ nga Yakuwa bwe yalagira Musa.  Bwe kiti ekikondo ky’ettaala bwe kyakolebwa: Kyaweesebwa mu zzaabu nga bakozesa nnyondo.+ Okuva ku nduli yaakyo okutuuka ku bimuli byakyo kyaweesebwa na nnyondo. Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa nga Yakuwa bwe yalaga Musa mu kwolesebwa.+  Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti:  “Ggya Abaleevi mu Bayisirayiri obatukuze.+  Bw’oti bw’onoobatukuza: Ojja kubamansirako amazzi aganaazaako ekibi, era bajja kumwa omubiri gwabwe gwonna n’akamweso, booze ebyambalo byabwe, era beetukuze.+  Bajja kuleeta ente ennume ento+ n’ekiweebwayo ekigenderako eky’emmere ey’empeke,+ nga buwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, era ojja kuleeta ente endala ennume ento ey’ekiweebwayo olw’ekibi.+  Ojja kuleeta Abaleevi mu maaso ga weema ey’okusisinkaniramu era okuŋŋaanye ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri.+ 10  Bw’onooleeta Abaleevi mu maaso ga Yakuwa, Abayisirayiri bajja kubassaako emikono gyabwe.+ 11  Alooni ajja kuwaayo* Abaleevi mu maaso ga Yakuwa ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa+ ekiweereddwayo Abayisirayiri, era bajja kukola emirimu gya Yakuwa.+ 12  “Abaleevi bajja kussa emikono gyabwe ku mitwe gy’ente ennume.+ Oluvannyuma bajja kuziwaayo eri Yakuwa, emu ng’ekiweebwayo olw’ekibi ate endala ng’ekiweebwayo ekyokebwa, okusobola okutangirira+ Abaleevi. 13  Ojja kuyimiriza Abaleevi mu maaso ga Alooni ne batabani be obaweeyo* eri Yakuwa ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. 14  Ojja kwawula Abaleevi ku Bayisirayiri abalala, era Abaleevi bajja kuba bange.+ 15  Oluvannyuma Abaleevi bajja kujja baweereze ku weema ey’okusisinkaniramu. Bw’otyo bw’onoobatukuza n’obawaayo* ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. 16  Bampeereddwa ng’ebirabo okuva mu Bayisirayiri. Nja kubatwala mu kifo ky’ababereberye bonna* ab’Abayisirayiri.+ 17  Kubanga buli mubereberye mu Bayisirayiri wange, mu bantu ne mu nsolo.+ Nnabeetukuliza ku lunaku lwe nnatta ababereberye bonna mu nsi ya Misiri.+ 18  Nja kutwala Abaleevi mu kifo ky’ababereberye bonna mu Bayisirayiri. 19  Alooni ne batabani be nja kubawa Abaleevi ng’ebirabo okuva mu Bayisirayiri, bakole emirimu ku lw’Abayisirayiri ku weema ey’okusisinkaniramu+ era babatangirire, akabi kaleme okutuuka ku Bayisirayiri+ olw’okusemberera ekifo ekitukuvu.” 20  Bwe batyo Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri bwe baakola Abaleevi. Abayisirayiri baakola byonna ebikwata ku Baleevi nga Yakuwa bwe yalagira Musa. 21  Awo Abaleevi ne beetukuza ne booza ebyambalo byabwe,+ oluvannyuma Alooni n’abawaayo* ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Yakuwa.+ Ebyo bwe byaggwa, Alooni n’abatangirira okubatukuza.+ 22  Oluvannyuma Abaleevi ne bajja okukola emirimu gyabwe mu maaso ga Alooni ne batabani be ku weema ey’okusisinkaniramu. Abantu baakola byonna Yakuwa bye yalagira Musa okukola ku Baleevi. 23  Awo Yakuwa n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 24  “Bino bikwata ku Baleevi: Anaabanga awezezza emyaka 25 n’okudda waggulu, aneegattanga ku kibinja ky’abo abaweereza ku weema ey’okusisinkaniramu. 25  Naye bw’anaawezanga emyaka 50 anaawummulanga n’alekera awo okuweereza mu kibinja ekiweereza. 26  Anaayambanga ku baganda be nga bakola emirimu gyabwe ku weema ey’okusisinkaniramu, naye ye taaweerezenga. Bw’otyo bw’onookolanga ku bikwata ku Baleevi n’emirimu gyabwe.”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “kuwuubawuuba,” kwe kugamba, okubazza emabega ne mu maaso.
Obut., “obawuubewuube,” kwe kugamba, obazze emabega ne mu maaso.
Obut., “n’obawuubawuuba,” kwe kugamba, n’obazza emabega ne mu maaso.
Oba, “ababereberye bonna abaggula enda.”
Obut., “n’abawuubawuuba,” kwe kugamba, n’abazza emabega ne mu maaso.