Okubikkulirwa 10:1-11

  • Malayika ow’amaanyi ng’akutte omuzingo omutono (1-7)

    • “Tewajja kubaawo kulwa nate” (6)

    • Ekyama ekitukuvu kya kukomekkerezebwa (7)

  • Yokaana alya omuzingo omutono (8-11)

10  Ne ndaba malayika omulala ow’amaanyi ng’akka okuva mu ggulu, ng’ayambadde* ekire, ku mutwe gwe nga kuliko musoke, obwenyi bwe bwalinga enjuba,+ era amagulu ge* gaalinga empagi z’omuliro.  Yalina mu mukono gwe omuzingo omutono oguzinguluddwa. N’ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja ate ekya kkono n’akiteeka ku nsi,  n’ayogera n’eddoboozi eddene ng’empologoma ewuluguma.+ Bwe yayogera n’eddoboozi eddene, ebibwatuka omusanvu+ ne byogera n’amaloboozi gaabyo.  Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera, nnali ŋŋenda kuwandiika naye ne mpulira eddoboozi okuva mu ggulu+ nga ligamba nti: “Teeka akabonero ku bintu ebibwatuka omusanvu bye byogedde era tobiwandiika.”  Malayika gwe nnalaba ng’ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi n’ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri ggulu,  n’alayira mu linnya ly’Oyo abeerawo emirembe n’emirembe,+ eyatonda eggulu n’ebintu ebiririmu n’ensi n’ebintu ebigiriko n’ennyanja n’ebintu ebigirimu,+ n’agamba nti: “Tewajja kubaawo kulwa nate.  Naye mu kiseera nga malayika ow’omusanvu+ anaatera okufuuwa ekkondeere lye,+ ekyama ekitukuvu+ Katonda kye yabuulira abaddu be bannabbi+ ng’amawulire amalungi kijja kukomekkerezebwa.”  Era ne mpulira eddoboozi okuva mu ggulu+ nga lyogera nange nate, ne liŋŋamba nti: “Genda okwate omuzingo oguzinguluddwa oguli mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi.”+  Ne ŋŋenda eri malayika ne mmugamba ampe omuzingo omutono. N’aŋŋamba nti: “Gukwate ogulye,+ era gujja kukaaya olubuto lwo naye mu kamwa ko gujja kuwoomerera ng’omubisi gw’enjuki.” 10  Ne nzigya omuzingo omutono mu mukono gwa malayika ne ngulya,+ ne guwoomerera ng’omubisi gw’enjuki+ mu kamwa kange; naye bwe nnamala okugulya ne gukaaya olubuto lwange. 11  Ne baŋŋamba nti: “Oteekwa okwogera nate obunnabbi obukwata ku bantu, ku mawanga, ku nnimi, ne ku bakabaka bangi.”

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “nga yeezingiridde.”
Obut., “ebigere bye.”