Okubikkulirwa 15:1-8
15 Ne ndaba akabonero akalala mu ggulu, ak’ekitalo era akeewuunyisa, bamalayika musanvu+ nga balina ebibonyoobonyo musanvu. Bino bye bisembayo, kubanga okuyitira mu byo obusungu bwa Katonda bukomekkerezebwa.+
2 Ne ndaba ekyalabika ng’ennyanja ey’endabirwamu+ ng’etabuddwamu omuliro, ne ndaba n’abo abaawangula+ ensolo n’ekifaananyi kyayo+ n’ennamba y’erinnya lyayo,+ nga bayimiridde okumpi n’ennyanja ey’endabirwamu, nga balina entongooli za Katonda.
3 Ne bayimba oluyimba lwa Musa+ omuddu wa Katonda n’oluyimba lw’Omwana gw’Endiga+ nga bagamba nti:
“Yakuwa* Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna,+ emirimu gyo mikulu era gyewuunyisa.+ Kabaka ow’emirembe+ n’emirembe, amakubo go ga butuukirivu era ga mazima.+
4 Yakuwa,* ddala ani atalikutya era ataligulumiza linnya lyo? Ggwe wekka ggwe mwesigwa.+ Amawanga gonna galijja mu maaso go+ ne gakusinza, kubanga ebiragiro byo eby’obutuukirivu byoleseddwa.”
5 Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba ekifo ekitukuvu ekya weema ey’obujulirwa+ nga kigguddwawo mu ggulu.+
6 Bamalayika omusanvu abaalina ebibonyoobonyo omusanvu+ ne bava mu kifo ekitukuvu nga bambadde engoye eza kitaani, ennyonjo, era ezimasamasa. Era baali beesibye emisipi egya zzaabu mu bifuba byabwe.
7 Ekimu ku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya ebya zzaabu musanvu ebyali bijjudde obusungu bwa Katonda+ abeerawo emirembe n’emirembe.
8 Ekifo ekitukuvu ne kijjula omukka olw’ekitiibwa kya Katonda+ n’olw’amaanyi ge, era tewaali n’omu eyali asobola okuyingira mu kifo ekitukuvu okutuusa ng’ebibonyoobonyo omusanvu ebya bamalayika omusanvu+ bikomekkerezeddwa.