Okubikkulirwa 19:1-21

  • Mutendereze Yakuwa olw’emisango gy’asaze (1-10)

    • Embaga y’Omwana gw’Endiga (7-9)

  • Omwebagazi w’embalaasi enjeru (11-16)

  • Ekijjulo kya Katonda ekinene (17, 18)

  • Ensolo ewangulwa (19-21)

19  Oluvannyuma lw’ebyo, ne mpulira eddoboozi eddene mu ggulu eryali ng’ery’ekibiina ekinene. Ne bagamba nti: “Mutendereze Ya!*+ Obulokozi n’ekitiibwa n’amaanyi bya Katonda waffe,  kubanga emisango gy’asala gya mazima era gya butuukirivu.+ Kubanga atuukirizza omusango gwe yasalira malaaya omukulu eyayonoona ensi n’ebikolwa bye eby’obugwenyufu,* era awooledde eggwanga ku malaaya oyo olw’omusaayi gw’abaddu be.”+  Amangu ago ne bagamba omulundi ogw’okubiri nti: “Mutendereze Ya!*+ Omukka oguva mu Babulooni gunyooka emirembe n’emirembe.”+  Abakadde 24+ n’ebiramu ebina+ ne bavunnama ne basinza Katonda atudde ku ntebe ey’obwakabaka, ne bagamba nti: “Amiina! Mutendereze Ya!”*+  Era eddoboozi ne liva mu ntebe ey’obwakabaka ne ligamba nti: “Mutendereze Katonda waffe mmwe mmwenna abaddu be,+ mmwe abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa.”+  Ne mpulira eddoboozi eryali ng’ery’ekibiina ekinene, era ng’ery’amazzi amangi agayira, era ng’ery’okubwatuka kw’eggulu okw’amaanyi. Ne bagamba nti: “Mutendereze Ya,*+ kubanga Yakuwa* Katonda waffe, Omuyinza w’Ebintu Byonna,+ atandise okufuga nga kabaka.+  Ka tusanyuke, tujaganye, era tumuwe ekitiibwa kubanga embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga etuuse, era ne mukazi we yeeteeseteese.  Akkiriziddwa okwambala olugoye olwa kitaani olulungi, olumasamasa, era oluyonjo, kubanga olugoye lwa kitaani olulungi lukiikirira ebikolwa eby’obutuukirivu eby’abatukuvu.”+  N’aŋŋamba nti: “Wandiika nti: Balina essanyu abo abayitiddwa ku kijjulo ky’embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga.”+ Era n’aŋŋamba nti: “Bino bye bigambo bya Katonda eby’amazima.” 10  Awo ne nvunnama mu maaso ge okumusinza. Naye n’aŋŋamba nti: “Weegendereze! Ekyo tokikola!+ Nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo abalina omulimu gw’okuwa obujulirwa ku Yesu.+ Sinza Katonda;+ kubanga okuwa obujulirwa ku Yesu kye kigendererwa ky’obunnabbi.”+ 11  Ne ndaba eggulu nga libikkuddwa, era laba! embalaasi enjeru.+ Oyo eyali agyebaggadde ayitibwa Mwesigwa+ era wa Mazima,+ era asala emisango mu butuukirivu era alwana olutalo mu butuukirivu.+ 12  Amaaso ge gaalinga ennimi z’omuliro,+ era ku mutwe gwe kwaliko engule nnyingi. Yali awandiikiddwako erinnya eritamanyiddwa muntu yenna okuggyako ye, 13  era yali ayambadde ekyambalo eky’okungulu ekyali kimansiddwako omusaayi, era erinnya lye ye Kigambo+ kya Katonda. 14  Eggye ery’omu ggulu lyali limugoberera nga lyebagadde embalaasi enjeru era nga lyambadde engoye eza kitaani ennungi, enjeru, era ennyonjo. 15  Mu kamwa ke mwali muvaamu ekitala ekiwanvu+ era ekyogi eky’okutemesa amawanga, era aligalunda n’omuggo ogw’ekyuma.+ Era alirinnyirira essogolero ly’omwenge gw’obusungu obungi obwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.+ 16  Ku kyambalo kye eky’okungulu, kwe kugamba, awali ekisambi kye, kwaliko erinnya lino: Kabaka wa bakabaka, era Mukama wa bakama.+ 17  Era ne ndaba malayika ng’ayimiridde mu njuba, n’akoowoola n’eddoboozi ery’omwanguka ng’agamba ebinyonyi byonna ebibuuka mu bbanga nti: “Mujje wano, mukuŋŋaane wamu ku kijjulo kya Katonda ekinene,+ 18  mulye ennyama ya bakabaka, n’ey’abaduumizi b’amagye, n’ey’abasajja ab’amaanyi,+ n’ey’embalaasi, n’ey’abo abazeebagadde,+ n’ennyama y’abantu bonna, ab’eddembe n’abaddu, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa.” 19  Ne ndaba ensolo ne bakabaka b’ensi n’amagye gaabwe nga bakuŋŋaanye wamu okulwana n’oyo atudde ku mbalaasi n’eggye lye.+ 20  Ensolo n’ekwatibwa awamu ne nnabbi ow’obulimba+ eyakolanga obubonero mu maaso gaayo. Obubonero obwo bwe yakozesanga okubuzaabuza abo abaafuna akabonero k’ensolo+ n’abo abasinza ekifaananyi kyayo.+ Byombi ne bisuulibwa mu nnyanja eyaka omuliro n’obuganga,*+ nga biramu. 21  Naye abalala ne battibwa n’ekitala ekiwanvu ekyava mu kamwa k’oyo eyeebagadde embalaasi,+ ebinyonyi byonna ne bikkuta ennyama yaabwe.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Mu Luyonaani, por·neiʹa. Laba Awanny.
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Laba obugambo obuli wansi ku Is 30:33.