Okubikkulirwa 20:1-15
20 Ne ndaba malayika ng’akka okuva mu ggulu ng’alina ekisumuluzo eky’obunnya+ n’olujegere olunene mu mukono gwe.
2 N’akwata ogusota,+ omusota ogw’edda,+ Omulyolyomi+ era Sitaani,+ n’amusiba okumala emyaka 1,000.
3 N’amusuula mu bunnya,+ n’aggalawo era n’ateekako akabonero, aleme okulimbalimba amawanga nate okutuusa emyaka 1,000 lwe giriggwaako. Oluvannyuma, alisumululwa okumala akaseera katono.+
4 Ne ndaba entebe ez’obwakabaka, era abo abaali bazituddeko ne baweebwa obuyinza okusala emisango. Nnalaba abo abattibwa* olw’okuwa obujulirwa ku Yesu n’olw’okwogera ebikwata ku Katonda, era n’abo abataasinza nsolo oba ekifaananyi kyayo era abataateekebwako kabonero kaayo ku byenyi byabwe ne ku mikono gyabwe.+ Baalamuka ne bafugira wamu ne Kristo+ nga bakabaka okumala emyaka 1,000.
5 (Abafu abalala+ tebaalamuka okutuusa ng’emyaka 1,000 giweddeko.) Kuno kwe kuzuukira okusooka.+
6 Balina essanyu era batukuvu abo abazuukirira mu kuzuukira okusooka;+ abo okufa okw’okubiri+ tekubalinaako buyinza,+ naye baliba bakabona+ ba Katonda era ba Kristo, era balifugira wamu naye nga bakabaka okumala emyaka 1,000.+
7 Emyaka 1,000 oluliggwaako, Sitaani alisumululwa okuva mu kkomera lye,
8 era aligenda okulimbalimba amawanga agali mu nsonda ennya ez’ensi, Googi ne Magoogi, okubakuŋŋaanya awamu okulwana. Omuwendo gwabwe gulinga omusenyu gw’ennyanja.
9 Ne batalaaga ensi yonna era ne bazingiza olusiisira lw’abatukuvu n’ekibuga ekyagalwa. Naye omuliro ne guva mu ggulu ne gubasaanyaawo.+
10 Omulyolyomi eyali abalimbalimba n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro n’obuganga* omwali ensolo+ ne nnabbi ow’obulimba;+ era balibonyaabonyezebwa* emisana n’ekiro emirembe n’emirembe.
11 Awo ne ndaba entebe ey’obwakabaka ennene era enjeru n’Oyo eyali agituddeko.+ Ensi n’eggulu ne bidduka mu maaso ge+ era ekifo kyabyo tekyalabika.
12 Ate era ne ndaba abafu, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa, nga bayimiridde mu maaso g’entebe y’obwakabaka, emizingo ne gyanjuluzibwa. N’omuzingo omulala ne gwanjuluzibwa; gwe muzingo ogw’obulamu.+ Abafu ne balamulwa okusinziira ku ebyo ebyawandiikibwa mu mizingo ng’ebikolwa byabwe bwe byali.+
13 Ennyanja n’ereeta abafu abagirimu, n’okufa n’amagombe* ne bireeta abafu ababirimu, ne balamulwa kinnoomu okusinziira ku bikolwa byabwe.+
14 Okufa n’amagombe* ne bisuulibwa mu nnyanja ey’omuliro.+ Ennyanja ey’omuliro+ etegeeza okufa okw’okubiri.+
15 Ate era buli eyasangibwa nga tawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu+ yasuulibwa mu nnyanja ey’omuliro.+