Okukungubaga 1:1-22

  • Yerusaalemi alinga nnamwandu

    • Atudde awo yekka era ayabuliddwa (1)

    • Ebibi bya Sayuuni eby’amaanyi (8, 9)

    • Katonda yeesambye Sayuuni (12-15)

    • Tewali abudaabuda Sayuuni (17)

א [Alefu]* 1  Yerusaalemi eyali ajjudde abantu, kati atudde bw’omu!+ Eyali alimu abantu abangi okusinga amawanga amalala,+ kati afuuse nga nnamwandu! Eyali ng’omumbejja mu masaza, kati afuuse ng’omuddu!+ ב [Besu]   Akaaba nnyo ekiro,+ era amatama ge gabuna maziga ge. Tewali n’omu ku baganzi be amubudaabuda.+ Banne bonna bamuliddemu olukwe;+ bafuuse balabe be. ג [Gimeri]   Yuda agenze mu buwaŋŋanguse,+ abonaabona era ali mu buddu.+ Ajja kubeera mu mawanga;+ tafuna kiwummulo. Abamuyigganya bonna bamujjidde ng’ali mu mbeera enzibu. ד [Dalesi]   Enguudo ezigenda mu Sayuuni zikungubaga, olw’okuba tewali ajja ku mbaga.+ Enzigi ze zonna zimenyese;+ bakabona be basinda. Abawala be embeerera banakuwavu, era naye ali mu bulumi bwa maanyi. ה [Ke]   Abalabe be kati be bakama be;* abalabe be tebeefiirayo.+ Yakuwa amuleetedde okubeera mu nnaku olw’ebibi bye ebingi.+ Abaana be omulabe abatutte mu buwambe.+ ו [Wawu]   Muwala wa Sayuuni+ ekitiibwa kyonna kimuvuddeko. Abakungu be balinga empeewo ezitalina muddo,Era batambula nga bakooye mu maaso g’abo ababawondera. ז [Zayini]   Mu kiseera ekyo ng’ali mu nnaku era nga talina wa kubeera, Yerusaalemi ajjukiraEbintu byonna eby’omuwendo bye yalina mu biseera eby’edda.+ Abantu be bwe baagwa mu mukono gw’omulabe nga tewali amuyamba,+Abalabe baamulaba ne baseka* olw’okuba yali agudde.+ ח [Kesu]   Yerusaalemi ayonoonye nnyo.+ Eyo ye nsonga lwaki afuuse ekintu ekitali kirongoofu. Bonna abaali bamuwa ekitiibwa kati bamuyisaamu amaaso, olw’okuba bamulabye ng’ali bwereere.+ Asinda,+ era olw’obuswavu akyuka n’atunula eri. ט [Tesu]   Obutali bulongoofu bwe buli mu byambalo bye. Teyalowooza ku biseera bye eby’omu maaso.+ Okugwa kwe kwali kwa maanyi nnyo; talina amubudaabuda. Ai Yakuwa, laba ennaku gye ndimu, olw’okuba omulabe yeegulumizza.+ י [Yodi] 10  Omulabe anyaze eby’obugagga bye byonna.+ Yerusaalemi alabye ab’amawanga nga bayingira mu kifo kye ekitukuvu,+Abo be wagamba nti tebalina kujja mu kibiina kyo. כ [Kafu] 11  Abantu be bonna basinda; banoonya emmere.+ Bawaddeyo ebintu byabwe eby’omuwendo bafune eky’okulya, basobole okusigala nga balamu. Tunula, Ai Yakuwa, olabe nti nfuuse ng’omukazi* atalina mugaso. ל [Lamedi] 12  Temufaayo mmwe mmwenna abayitawo ku luguudo? Mutunule mulabe! Eriyo obulumi obulinga obwo obwandeetebwako,Yakuwa bwe yandeetera ku lunaku olw’obusungu bwe obubuubuuka?+ מ [Memu] 13  Yaweereza omuliro okuva mu ggulu n’agusindika mu magumba gange,+ buli limu n’alimala amaanyi. Ateze ebigere byange ekitimba; ampalirizza okudda emabega. Anfudde omukazi omunaku. Mba mulwadde olunaku lwonna. נ [Nuni] 14  Ebibi byange bisibiddwa ku nsingo yange ng’ekikoligo; abisibye n’omukono gwe. Biteekeddwa ku nsingo yange, era mpeddemu amaanyi. Yakuwa ampaddeyo mu mukono gw’abo be sisobola kulwanyisa.+ ס [Sameki] 15  Yakuwa anzigyeeko abasajja bange bonna ab’amaanyi.+ Ayise ekibiina kinnumbe, kibetente abavubuka bange.+ Yakuwa alinnyiridde muwala wa Yuda embeerera mu ssogolero.+ ע [Ayini] 16  Nkaaba olw’ebintu ebyo;+ amaaso gange gakulukusa amaziga. Omuntu yenna eyandibadde ambudaabuda oba okunzizaamu amaanyi andi wala. Abaana bange tebalina ssuubi olw’okuba omulabe atuwangudde. פ [Pe] 17  Sayuuni ayanjadde engalo ze;+ talina amubudaabuda. Abo bonna abeetoolodde Yakobo Yakuwa abalagidde babeere abalabe be.+ Gye bali Yerusaalemi afuuse ekintu ekitali kirongoofu.+ צ [Sade] 18  Yakuwa mutuukirivu,+ kubanga sigondedde biragiro bye.*+ Mmwe amawanga muwulirize, era mulabe obulumi bwe ndimu. Abawala bange embeerera n’abavubuka bange bawambiddwa.+ ק [Kofu] 19  Nkoowodde baganzi bange, naye bandiddemu olukwe.+ Bakabona bange n’abasajja bange abakaddiye* bafiiridde mu kibuga,Nga banoonya emmere baleme okufa.+ ר [Lesu] 20  Laba, Ai Yakuwa, ndi mu nnaku ey’amaanyi. Ebyenda bintokota. Omutima gwange guli mu bulumi obw’amaanyi, kubanga mbadde mujeemu nnyo nnyini ddala.+ Ebweru ekitala kinzitira abaana;+ ne mu nnyumba mulimu okufa. ש [Sini] 21  Abantu bawulidde okusinda kwange; teri n’omu ambudaabuda. Abalabe bange bonna bawulidde akabi akantuuseeko. Basanyufu olw’okuba okaleese.+ Naye ojja kuleeta olunaku lwe wagamba,+ lwe banaafuuka nga nze.+ ת [Tawu] 22  Ebintu ebibi byonna bye bakola ka bijje mu maaso go, era k’obabonereze,+Nga bw’ombonerezza olw’ebibi byange byonna. Kubanga nsinda nnyo, era omutima gwange mulwadde.

Obugambo Obuli Wansi

Essuula 1-4 nnyimba za kukungubaga ezisengekeddwa okusinziira ku walifu y’Olwebbulaniya.
Obut., “be bafuuse omutwe gwe.”
Oba, “bakudaala.”
Wano boogera ku Yerusaalemi.
Obut., “kamwa ke.”
Oba, “n’abakadde bange.”