Okukungubaga 3:1-66

  • Yeremiya ayoleka enneewulira ye era n’essuubi ly’alina

    • “Nja kukulindirira n’obugumiikiriza” (21)

    • Okusaasira kwa Katonda kuba kuggya buli nkya (22, 23)

    • Katonda mulungi eri abo abamulinamu essuubi (25)

    • Kirungi abavubuka okwetikka ekikoligo (27)

    • Katonda ataddewo ekire baleme kumutuukirira (43, 44)

א [Alefu] 3  Nze muntu abonyeebonye olw’omuggo ogw’obusungu bwe.   Angobye era n’andeetera okutambulira mu kizikiza so si mu kitangaala.+   Mazima ddala ankuba n’omukono gwe olunaku lwonna.+ ב [Besu]   Anafuyizza omubiri gwange era akaddiyizza olususu lwange;Amenye amagumba gange.   Anzingizza; anneetoolozza obutwa obukaawa n’ebizibu.+   Ampalirizza okutuula mu bifo ebirimu ekizikiza ng’abantu abaafa edda. ג [Gimeri]   Antaddeko olukomera nneme kudduka;Ansibye enjegere enzito ez’ekikomo.+   Bwe mmukaabirira annyambe, tawuliriza* ssaala yange.+   Amakubo gange agazibye n’amayinja amateme;Enguudo zange azikyamizza.+ ד [Dalesi] 10  Anteega annumbe ng’eddubu, ng’empologoma eyeekwese.+ 11  Anzigye mu makubo lwa mpaka n’antaagulataagula;Anfudde omunaku.+ 12  Awese omutego gwe, era andeezeemu akasaale. ה [Ke] 13  Afumise ensigo zange ng’akozesa obusaale obw’omu* nsawo ye. 14  Nfuuse ekisekererwa eri abantu ab’amawanga gonna, era bannyimbako mu nnyimba zaabwe okuzibya obudde. 15  Anzijuzza ebintu ebikaawa n’omususa.+ ו [Wawu] 16  Amenya amannyo gange n’oluyinjayinja;Ansudde mu vvu.+ 17  Ommalako emirembe; sikyamanyi birungi. 18  Kyenva ŋŋamba nti: “Ekitiibwa kyange n’essuubi lye nnina mu Yakuwa biweddewo.” ז [Zayini] 19  Jjukira okubonaabona kwange n’okuba nti sirina we mbeera,+ jjukira nti ndya omususa n’obutwa obukaawa.+ 20  Mazima ddala ojja kujjukira okutame onnyambe.+ 21  Ekyo nkijjukira mu mutima gwange; eyo ye nsonga lwaki nja kukulindirira n’obugumiikiriza.+ ח [Kesu] 22  Tetusaanyeewo olw’okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka,+Kubanga okusaasira kwe tekuggwaawo.+ 23  Kuba kuggya buli nkya;+ bulijjo yeesigika.+ 24  Ŋŋambye nti, “Yakuwa gwe mugabo gwange,+ eyo ye nsonga lwaki nja kumulindirira n’obugumiikiriza.”+ ט [Tesu] 25  Yakuwa mulungi eri oyo amulinamu essuubi,+ eri omuntu amunoonya.+ 26  Kirungi okulindirira+ obulokozi bwa Yakuwa n’obugumiikiriza.*+ 27  Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo ng’akyali muvubuka.+ י [Yodi] 28  K’atuule yekka asirike Katonda bw’aba akimutisse.+ 29  K’ateeke akamwa ke mu nfuufu;+ wayinza okuba nga wakyaliwo essuubi.+ 30  K’aweeyo ettama lye eri oyo amukuba; k’avumibwe nnyo. כ [Kafu] 31  Yakuwa talitusuula eri emirembe gyonna.+ 32  Wadde atuleetedde ennaku, ajja kutusaasira olw’okwagala kwe okutajjulukuka okungi.+ 33  Kubanga tekiri mu mutima gwe okubonyaabonya wadde okunakuwaza abaana b’abantu.+ ל [Lamedi] 34  Okubetentera wansi w’ebigere by’omuntu abasibe bonna ab’omu nsi,+ 35  Okuyisa omuntu mu ngeri etali ya bwenkanya mu maaso g’oyo Asingayo Okuba Waggulu,+ 36  N’okulemesa omuntu okulamulwa mu bwenkanya—Yakuwa tagumiikiriza bintu ng’ebyo. מ [Memu] 37  Kale ani ayinza okwogera ekintu ne kituukirira okuggyako nga Yakuwa y’alagidde kibe bwe kityo? 38  Mu kamwa k’oyo Asingayo Okuba Waggulu,Temufulumamu bintu birungi na bibi mu kiseera kye kimu. 39  Lwaki omuntu omulamu yandyemulugunyizza olw’ebyo ebiva mu kwonoona kwe?+ נ [Nuni] 40  Ka tukebere era twekenneenye amakubo gaffe,+ era ka tudde eri Yakuwa.+ 41  Ka tuyimuse emitima gyaffe awamu n’emikono gyaffe eri Katonda ali mu ggulu nga tugamba nti:+ 42  “Twonoonye, tujeemye,+ era totusonyiye.+ ס [Sameki] 43  Okozesezza obusungu bwo okutukugira okukutuukako;+Otuwondedde n’otutta awatali kusaasira.+ 44  Otaddewo ekire okuziyiza okusaba kwaffe okutuuka gy’oli.+ 45  Otufudde ekintu ekiboolebwa era ebisasiro mu mawanga.” פ [Pe] 46  Abalabe baffe bonna batujerega.+ 47  Okutya n’ebinnya, okulekebwa awo n’okuzikirira,+ bye bifuuse omugabo gwaffe.+ 48  Emigga gy’amazzi gikulukuta okuva mu maaso gange olw’obuvune omuwala w’abantu bange bw’alina.+ ע [Ayini] 49  Amaaso gange gakaaba awatali kulekera awo, awatali kuwummulamu,+ 50  Okutuusa Yakuwa lw’anaayima mu ggulu n’atunula wansi n’alaba.+ 51  Mpulira ennaku bwe ndaba ebyo ebituuse ku bawala b’ekibuga kyange.+ צ [Sade] 52  Abalabe bange banjigga ng’ekinyonyi awatali nsonga. 53  Basaanyirizzaawo obulamu bwange mu kinnya; bankasukiranga amayinja. 54  Amazzi gaakulukuta nga gayita ku mutwe gwange, ne ŋŋamba nti: “Mpedde!” ק [Kofu] 55  Nnakoowoola erinnya lyo, Ai Yakuwa, nga nnyima wansi mu kinnya.+ 56  Wulira eddoboozi lyange; toziba kutu kwo nga nkusaba onnyambe, nga nkusaba onnunule. 57  Wasembera kumpi ku lunaku lwe nnakukoowoola. Waŋŋamba nti: “Totya.” ר [Lesu] 58  Ompolerezza, Ai Yakuwa, onunudde obulamu bwange.+ 59  Ai Yakuwa, olabye ebibi ebinkoleddwako; nkwegayiridde nnyamba wabeewo obwenkanya.+ 60  Olabye bwe beesasuza, enkwe zonna ze bansalidde. ש [Sini] oba [Shini] 61  Owulidde ebivumo byabwe, Ai Yakuwa, enkwe zonna ze bansalidde,+ 62  Owulidde ebigambo emimwa gy’abalabe bange bye gyogera, ne bye banjogerako okuzibya obudde. 63  Batunuulire; ka babe nga batudde oba nga bayimiridde, bankudaalira mu nnyimba zaabwe! ת [Tawu] 64  Ai Yakuwa, ojja kubasasula okusinziira ku bikolwa byabwe. 65  Ojja kubakolimira bakakanyale emitima. 66  Ojja kubawondera mu busungu bwo obazikirize baggweerewo ddala ku nsi ya Yakuwa.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “aziyiza; aggalira ebweru.”
Obut., “abaana ab’omu.”
Oba, “mu kasirise.”