Okuva 19:1-25

  • Ku Lusozi Sinaayi (1-25)

    • Isirayiri ya kuba bwakabaka bwa bakabona (5, 6)

    • Abantu batukuzibwa okugenda mu maaso ga Katonda (14, 15)

19  Mu mwezi ogw’okusatu ng’Abayisirayiri bavudde mu nsi ya Misiri, ku lunaku olwo lwennyini, baatuuka mu ddungu lya Sinaayi.  Baava e Lefidimu+ ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi ne basiisira mu ddungu eryo. Abayisirayiri baasiisira eyo mu maaso g’olusozi.+  Awo Musa n’ayambuka eri Katonda ow’amazima, Yakuwa n’amuyita ng’ayima ku lusozi+ n’amugamba nti: “Bw’oti bw’onoogamba ennyumba ya Yakobo, Abayisirayiri,  ‘Mmwe mmwennyini mwalaba kye nnakola Abamisiri,+ okusobola okubasitula ng’empungu ku biwaawaatiro byange mbaleete gye ndi.+  Bwe munaawuliriza n’obwegendereza eddoboozi lyange ne mukuuma endagaano yange, mujja kubeera ekintu kyange ekiganzi* mu mawanga gonna,+ kubanga ensi yonna yange.+  Era mujja kubeera gye ndi obwakabaka bwa bakabona era eggwanga ettukuvu.’+ Bino bye bigambo by’onoogamba Abayisirayiri.”  Awo Musa n’agenda n’ayita abakadde b’abantu n’abategeeza ebyo byonna Yakuwa bye yali amulagidde.+  Abantu bonna ne baddiramu wamu nti: “Byonna Yakuwa by’ayogedde tuli beetegefu okubikola.”+ Amangu ago Musa n’azzaayo eri Yakuwa ebyo abantu bye baali bagambye.  Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Laba! Ŋŋenda kujja gy’oli mu kire ekikutte, abantu basobole okuwulira nga njogera naawe, era naawe bakukkiririzengamu.” Awo Musa n’ategeeza Yakuwa ebyo abantu bye baali bagambye. 10  Yakuwa n’agamba Musa nti: “Genda eri abantu obatukuze olwa leero n’enkya, era booze engoye zaabwe. 11  Era balina okuba nga beetegekedde olunaku olw’okusatu kubanga ku lunaku olwo Yakuwa ajja kujja ku Lusozi Sinaayi ng’abantu bonna balaba. 12  Era ojja kuteerawo abantu ensalo okwetooloola olusozi, obagambe nti, ‘Mwekuume muleme kugenda ku lusozi, wadde okulinnya ku nsalo zaalwo. Omuntu yenna anaalinnya ku lusozi ajja kuttibwa. 13  Tewabaawo omukono ogumukwatako; ajja kukubibwa amayinja oba okufumitibwa.* K’ebe nsolo oba muntu, taasigale nga mulamu.’+ Wabula eŋŋombe*+ bw’eneevuga, ng’awo abantu basemberera olusozi.” 14  Awo Musa n’akka okuva ku lusozi n’agenda eri abantu, n’abatukuza, era ne booza engoye zaabwe.+ 15  N’abagamba nti: “Mwetegekere olunaku olw’okusatu. Mwewale ebikolwa eby’okwegatta.”* 16  Awo ku lunaku olw’okusatu ku makya, ne wabaawo okubwatuka n’okumyansa kw’eggulu, n’ekire ekikutte+ ku lusozi, n’okuvuga kw’eŋŋombe okw’amaanyi ennyo, abantu bonna abaali mu lusiisira ne bakankana.+ 17  Abantu abo Musa n’abatwala basisinkane Katonda ow’amazima, era ne bayimirira wansi okumpi n’olusozi. 18  Olusozi Sinaayi lwonna ne lunyooka omukka kubanga Yakuwa yalukkako mu muliro;+ omukka gwalwo ne gunyooka ng’omukka gw’ekyokero, olusozi lwonna ne lukankana nnyo.+ 19  Eŋŋombe bwe yeeyongera okuvuga ennyo, Musa n’ayogera, era Katonda ow’amazima n’amuddamu.* 20  Awo Yakuwa n’akka ku ntikko y’Olusozi Sinaayi. Yakuwa n’ayita Musa ayambuke ku ntikko y’olusozi, Musa n’ayambuka.+ 21  Yakuwa n’agamba Musa nti: “Serengeta olabule abantu baleme okusemberera Yakuwa okumulaba, si kulwa nga bangi ku bo bafa. 22  Ne bakabona abasemberera Yakuwa bulijjo balina okwetukuza, Yakuwa aleme okubabonereza.”+ 23  Awo Musa n’agamba Yakuwa nti: “Abantu tebayinza kwambuka ku Lusozi Sinaayi kubanga watulabudde ng’ogamba nti, ‘Teekawo ensalo okwetooloola olusozi era olutukuze.’”+ 24  Naye Yakuwa n’amugamba nti: “Serengeta, okomewo ne Alooni; naye tokkiriza bakabona n’abantu okubuuka ensalo okujja eri Yakuwa aleme okubabonereza.”+ 25  Awo Musa n’aserengeta eri abantu n’abagamba.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ekintu eky’omuwendo.”
Obut., “ejjembe ly’endiga ensajja.”
Oboolyawo okumulasa akasaale.
Obut., “Temusemberera mukazi.”
Obut., “Eddoboozi lya Katonda ow’amazima ne limuddamu.”