Okuva 24:1-18
24 Awo n’agamba Musa nti: “Yambuka ku lusozi ggwe ne Alooni ne Nadabu ne Abiku+ n’abakadde 70 aba Isirayiri, muvunnamire Yakuwa nga mwesuddeko akabanga.
2 Musa yekka y’aba asemberera Yakuwa; naye bo tebasembera, era n’abantu tebayambuka ku lusozi naye.”+
3 Awo Musa n’agenda n’ategeeza abantu ebigambo bya Yakuwa byonna n’amateeka ge gonna,+ era abantu bonna ne baddiramu wamu nti: “Ebigambo byonna Yakuwa by’ayogedde tuli beetegefu okubikola.”+
4 Musa yawandiika ebigambo bya Yakuwa byonna.+ Awo ku makya ennyo n’agolokoka n’azimba wansi ku lusozi ekyoto n’empagi kkumi na bbiri ng’ebika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri bwe biri.
5 Oluvannyuma yatuma abavubuka Abayisirayiri ne bawaayo eri Yakuwa ebiweebwayo ebyokebwa era ne bawaayo n’ente ennume nga ssaddaaka ez’emirembe.+
6 Musa n’addira ekitundu kimu kya kubiri eky’omusaayi n’aguteeka mu bbakuli, ate ogwasigalawo n’agumansira ku kyoto.
7 Oluvannyuma n’akwata ekitabo ky’endagaano n’akisomera abantu.+ Ne bagamba nti: “Byonna Yakuwa by’ayogedde tuli beetegefu okubikola, era tujja kuba bawulize.”+
8 Musa n’addira omusaayi n’agumansira ku bantu+ n’agamba nti: “Guno gwe musaayi gw’endagaano Yakuwa gy’akoze nammwe okusinziira ku bigambo bye muwulidde.”+
9 Musa ne Alooni ne Nadabu ne Abiku n’abakadde 70 aba Isirayiri ne bambuka ku lusozi,
10 ne balaba Katonda wa Isirayiri.+ Wansi w’ebigere bye waaliwo ekyali kirabika ng’amayinja ga safiro amaaliire era nga gatukula ng’eggulu.+
11 Teyakola kabi ku basajja ba Isirayiri abo ab’ekitiibwa,+ era baalaba Katonda ow’amazima mu kwolesebwa, ne balya era ne banywa.
12 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Jjangu gye ndi ku lusozi obeere eno. Nja kukuwa ebipande by’amayinja ebiriko amateeka n’ebiragiro bye nnaawandiika okubayigiriza.”+
13 Awo Musa ne Yoswa omuweereza we+ ne basituka, Musa n’ayambuka ku lusozi lwa Katonda ow’amazima.+
14 Naye yali agambye abakadde nti: “Mutulindire wano okutuusa lwe tunaakomawo gye muli.+ Alooni ne Kuli+ bali nammwe. Omuntu yenna alina ensonga agende gye bali.”+
15 Musa n’ayambuka ku lusozi olwali lubikkiddwa ekire.+
16 Ekitiibwa kya Yakuwa+ kyasigala ku Lusozi Sinaayi,+ era ekire kyalubikka okumala ennaku mukaaga. Ku lunaku olw’omusanvu yayita Musa ng’asinziira mu kire wakati.
17 Eri Abayisirayiri abaali balaba ekigenda mu maaso, ekitiibwa kya Yakuwa kyali ng’omuliro ogubumbujja ku ntikko y’olusozi.
18 Musa n’ayingira mu kire n’ayambuka ku lusozi,+ n’abeera ku lusozi okumala ennaku 40 emisana n’ekiro.+