Okuva 26:1-37

  • Weema entukuvu (1-37)

    • Emitanda gya weema (1-14)

    • Fuleemu n’obutoffaali obulimu ebituli (15-30)

    • Entimbe (31-37)

26  “Ojja kukola weema entukuvu+ mu mitanda kkumi egikoleddwa mu wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa, ne wuzi eza bbulu, ne wuzi eza kakobe, ne wuzi emmyufu. Emitanda ojja kugitungako ebifaananyi+ bya bakerubi.+  Buli mutanda gujja kuba emikono* 28 obuwanvu, ate obugazi emikono 4. Emitanda gyonna gijja kuba gyenkanankana.+  Emitanda etaano gijja kugattibwa gibe ekitundu kimu, n’emitanda emirala etaano gijja kugattibwa gibe ekitundu ekirala.  Ojja kukola eŋŋango mu wuzi eza bbulu oziteeke ku lukugiro lw’omutanda ogusembayo ku kitundu ekimu, era bw’otyo bw’ojja okukola ne ku lukugiro lw’omutanda ogusembayo ku kitundu ekirala ebitundu byombi we bineegattira.  Ojja kuteeka eŋŋango 50 ku mutanda ogumu, n’eŋŋango 50 ku lukugiro lw’omutanda omulala, zibe nga zitunuuliganye emitanda gyombi we gyegattira.  Ojja kukola amalobo 50 aga zzaabu ogatte wamu emitanda ng’okozesa amalobo ago, emitanda gya weema gyonna gibe nga gigattiddwa wamu.+  “Era ojja kukola emitanda mu byoya by’embuzi+ egy’okubikka ku weema entukuvu. Ojja kukola emitanda 11.+  Buli mutanda gujja kuba emikono 30 obuwanvu, ate obugazi emikono 4. Emitanda gyonna 11 gijja kuba gyenkanankana.  Ojja kugatta emitanda etaano gibe gyokka, n’emitanda omukaaga gibe gyokka, naye omutanda ogw’omukaaga ogw’omu maaso ga weema ojja kuguzingamu. 10  Ojja kuteeka eŋŋango 50 ku lukugiro lw’omutanda ogusembayo ku kitundu ekimu, era oteeke eŋŋango 50 ku lukugiro lw’omutanda ogusembayo ku kitundu ekirala, ebitundu byombi we byegattira. 11  Ojja kukola amalobo 50 ag’ekikomo ogalobese mu ŋŋango emitanda gyonna gibe nga gigattiddwa wamu. 12  Ekitundu eky’emitanda gya weema ekinaafikkawo kijja kusigala nga kirengejja. Ekitundu kimu kya kubiri eky’omutanda ekinaafikkawo kijja kulengejja ku weema emabega. 13  Ekitundu ky’emitanda gya weema ekinaafikkawo ekiweza omukono gumu kijja kuba kirengejja mu mbiriizi za weema eruuyi n’eruuyi okugibikka. 14  “Era ojja kukola eky’okubikka ku weema mu maliba g’endiga ennume amannyike mu langi emmyufu, n’eky’okubikkako ekirala mu maliba amagonvu*+ eky’okuteeka kungulu ku kyo. 15  “Era ojja kukola fuleemu+ za weema entukuvu mu muti gwa sita, nga za kuyimirira busimba.+ 16  Buli fuleemu ejja kuba emikono kkumi obuwanvu, ate obugazi omukono gumu n’ekitundu. 17  Buli fuleemu ejja kuba n’ennimi bbiri nga zitunudde oluuyi lumu. Bw’otyo bw’ojja okukola fuleemu zonna eza weema entukuvu. 18  Ojja kukola fuleemu 20 ez’oku luuyi olw’ebukiikaddyo olwa weema entukuvu. 19  “Era wansi wa fuleemu 20 ojja kukolayo obutoffaali obwa ffeeza 40 obulimu ebituli;+ obutoffaali bubiri obw’okussa wansi wa fuleemu emu omuyingira ennimi zaayo ebbiri, n’obutoffaali bubiri bubiri obw’okussa wansi wa fuleemu endala zonna omuyingira ennimi zaazo ebbiri ebbiri.+ 20  Oluuyi olulala olwa weema, oluuyi olw’ebukiikakkono, ojja kulukolera fuleemu 20, 21  n’obutoffaali bwazo obwa ffeeza 40 obulimu ebituli, obutoffaali bubiri wansi wa fuleemu emu, era n’obutoffaali bubiri bubiri wansi wa fuleemu endala zonna. 22  Ekitundu eky’emabega ekya weema entukuvu, ku luuyi olw’ebugwanjuba, ojja kukikolera fuleemu mukaaga.+ 23  Ojja kukola fuleemu bbiri zikole ng’enkondo bbiri ez’oku nsonda za weema ku luuyi olw’emabega. 24  Buli fuleemu ejja kuba ya bitundu bibiri ebyenkanankana okuva wansi okutuuka waggulu. Ebitundu bijja kugattibwa wamu ku mpeta esooka. Fuleemu zino zombi zijja kukolebwa mu ngeri y’emu. Ze zijja okubeera enkondo ebbiri ez’oku nsonda. 25  Era wajja kubaawo fuleemu munaana n’obutoffaali bwazo 16 obwa ffeeza obulimu ebituli; obutoffaali bubiri wansi wa fuleemu emu, n’obutoffaali bubiri bubiri wansi wa fuleemu endala zonna. 26  “Ojja kukola emiti mu muti gwa sita; etaano gya ku fuleemu ez’oku luuyi olumu olwa weema entukuvu,+ 27  n’emirala etaano gya ku fuleemu ez’oku luuyi olulala olwa weema entukuvu, era n’emirala etaano gya ku fuleemu ez’oku luuyi lwa weema olw’emabega, oluuyi olw’ebugwanjuba. 28  Omuti ogwa wakati gujja kuyita wakati ku fuleemu, nga guva ku luuyi olumu okutuuka ku luuyi olulala. 29  “Fuleemu ojja kuzibikkako zzaabu,+ n’empeta zaazo ojja kuzikola mu zzaabu ziwanirire emiti; emiti ojja kugibikkako zzaabu. 30  Ojja kusimba weema entukuvu ng’ogoberera pulaani yaayo eyakulagibwa ku lusozi.+ 31  “Ojja kukola olutimbe+ mu wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa. Lujja kutungibwako ebifaananyi bya bakerubi. 32  Ojja kuluwanika ku mpagi nnya ez’omuti gwa sita ezibikkiddwako zzaabu. Amalobo gaazo gajja kuba ga zzaabu. Empagi zijja kuba ku butoffaali buna obwa ffeeza obulimu ebituli. 33  Ojja kuwanika olutimbe ku malobo, era ojja kutwala essanduuko ey’Obujulirwa+ munda w’olutimbe. Olutimbe lujja kwawula Awatukuvu+ n’Awasinga Obutukuvu.+ 34  Ojja kuteeka eky’okubikkako ku ssanduuko y’Obujulirwa eri mu Awasinga Obutukuvu. 35  “Emmeeza ojja kugiteeka ebweru w’olutimbe, era n’ekikondo ky’ettaala+ okiteeke mu maaso g’emmeeza ku luuyi lwa weema entukuvu olw’ebukiikaddyo; emmeeza ojja kugiteeka ku luuyi olw’ebukiikakkono. 36  Omulyango oguyingira mu weema ojja kugukolera olutimbe mu wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa, nga zonna zirukiddwa wamu.+ 37  Olutimbe ojja kulukolera empagi ttaano mu muti gwa sita ozibikkeko zzaabu. Amalobo gaazo gajja kuba ga zzaabu, era empagi ojja kuzikolera obutoffaali butaano obw’ekikomo obulimu ebituli.

Obugambo Obuli Wansi

Omukono gwali gwenkana sentimita 44.5 (inci 17.5). Laba Ebyong. B14.
Laba obugambo obuli wansi ku Kuv 25:5.