Okuva 5:1-23

  • Musa ne Alooni bagenda mu maaso ga Falaawo (1-5)

  • Okunyigirizibwa kweyongera (6-18)

  • Abayisirayiri banenya Musa ne Alooni (19-23)

5  Oluvannyuma Musa ne Alooni ne bayingira ne bagamba Falaawo nti: “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Leka abantu bange bagende bakwate embaga yange mu ddungu.’”  Naye Falaawo n’agamba nti: “Yakuwa y’ani,+ ndyoke mpulirize eddoboozi lye ndeke Abayisirayiri bagende?+ Nze Yakuwa simumanyi, era sijja kuleka Bayisirayiri kugenda.”+  Kyokka bo ne bamugamba nti: “Katonda w’Abebbulaniya ayogedde naffe. Tukwegayiridde, tukkirize tugende mu ddungu olugendo lwa nnaku ssatu tuweeyo ssaddaaka eri Yakuwa Katonda waffe,+ aleme kutulwaza oba okututta n’ekitala.”  Awo kabaka wa Misiri n’abagamba nti: “Lwaki ggwe Musa ne Alooni muggya abantu ku mirimu gyabwe? Muddeeyo ku mirimu* gyammwe!”+  Falaawo era n’agamba nti: “Abantu bammwe bangi nnyo mu nsi. Ddala mwagala abantu bano bonna baleke emirimu gyabwe bagende nammwe?”  Ku lunaku olwo lwennyini, Falaawo n’alagira abo abaali bakozesa abantu emirimu ne bannampala b’Abayisirayiri nti:  “Mulekere awo okuwa abantu essubi ery’okukubisa amatoffaali.+ Bo bennyini bagende balyekuŋŋaanyize.  Ate era omuwendo gwennyini ogw’amatoffaali ge babadde bakuba gwe muba mubasalira. Temugukendeezaako kubanga bagayaavu. Eyo ye nsonga lwaki bagamba nti, ‘Twagala kugenda, twagala kuwaayo ssaddaaka eri Katonda waffe!’  Mubawe emirimu emizibu ennyo era temubaganya kuwummula, baleme kuwuliriza bigambo bya bulimba.” 10  Awo abo abaali bakozesa abantu emirimu+ ne bannampala b’Abayisirayiri ne bagenda ne bagamba Abayisirayiri nti: “Bw’ati Falaawo bw’agambye, ‘Sigenda kuddamu kubawa ssubi. 11  Mugende mulyenoonyeze yonna gye muyinza okulizuula, naye emirimu gyammwe tegijja kukendeezebwako.’” 12  Awo abantu ne batalaaga buli wamu mu nsi ya Misiri okukuŋŋaanya essubi.* 13  Abo abaali babakozesa emirimu ne babakuutira nga bagamba nti: “Buli omu alina okutuukiriza omulimu gwe buli lunaku, nga bw’abadde akola nga waliwo essubi.” 14  Oluvannyuma, abo Falaawo be yassaawo okukozesa abantu emirimu ne bakuba+ abo abaali balondeddwa okuba bannampala b’Abayisirayiri. Baababuuza nti: “Lwaki temuwezezza muwendo gw’amatoffaali gwe mubaddenga mukuba? Jjo temwaguwezezza, n’olwa leero temuguwezezza.” 15  Awo bannampala b’Abayisirayiri ne bagenda eri Falaawo ne bamwemulugunyiza nga bagamba nti: “Lwaki oyisa bw’oti abaweereza bo? 16  Abaweereza bo tebaweebwa ssubi kyokka batugamba nti, ‘Mukube amatoffaali!’ Era abaweereza bo bakubibwa so ng’abantu bo be bali mu nsobi.” 17  Naye n’abagamba nti: “Muli bagayaavu, muli bagayaavu!+ Eyo ye nsonga lwaki mugamba nti: ‘Twagala kugenda, twagala kuwaayo ssaddaaka eri Yakuwa.’+ 18  Kale kaakano muddeeyo mukole! Temujja kuweebwa ssubi, naye mulina okukuba omuwendo gw’amatoffaali ogwabagerekerwa.” 19  Awo abaali bannampala b’Abayisirayiri ne balaba nga bali mu buzibu bwa maanyi olw’ekiragiro ekyali kigamba nti: “Temukendeeza ku muwendo gw’amatoffaali gwe mulina okukuba buli lunaku.” 20  Bwe baali bava ewa Falaawo, ne basisinkana Musa ne Alooni abaali bayimiridde awo nga babalindiridde. 21  Amangu ago ne bagamba Musa ne Alooni nti “Yakuwa k’abatunuulire, asale omusango, kubanga muleetedde Falaawo n’abaweereza be okutunyooma,* era mutadde ekitala mu mukono gwabwe batutte.”+ 22  Awo Musa n’akyukira Yakuwa n’agamba nti: “Yakuwa, lwaki obonyaabonyezza abantu bano? Lwaki wantuma? 23  Kasookedde ŋŋenda eri Falaawo okwogera mu linnya lyo,+ yeeyongedde kuyisa bubi abantu bano+ ate ggwe tobanunudde.”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “migugu.”
Bino byabanga bisubisubi ebyasigalanga mu nnimiro nga bamaze okukungula.
Oba, “mutuleetedde okuwunyira obubi Falaawo n’abaweereza be.”