Olubereberye 2:1-25

  • Katonda awummula ku lunaku olw’omusanvu (1-3)

  • Yakuwa Katonda Omutonzi w’eggulu n’ensi (4)

  • Omusajja n’omukazi mu lusuku Edeni (5-25)

    • Omusajja akolebwa okuva mu nfuufu (7)

    • Omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi (15-17)

    • Omukazi atondebwa (18-25)

2  Bwe bityo eggulu n’ensi n’ebintu byonna ebibirimu ne biggwa okutondebwa.+  Ku lunaku olw’omusanvu Katonda yali amalirizza emirimu gye yali akola, era ku lunaku olw’omusanvu yatandika okuwummula emirimu gye gyonna gye yali akola.+  Katonda n’awa olunaku olw’omusanvu omukisa era n’alulangirira okuba olutukuvu, kubanga ku olwo Katonda yatandika okuwummula emirimu gye gyonna egy’okutonda; ng’atonze ebintu byonna bye yali ateeseteese okukola.  Bino bye byafaayo by’eggulu n’ensi mu kiseera we byatonderwa, ku lunaku Yakuwa* Katonda lwe yatonderako ensi n’eggulu.+  Ku nsi kwali tekunnabaako miti wadde ebimera ebirala, kubanga Yakuwa Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi era nga tewali muntu wa kulima nsi.  Naye olufu lwavanga mu ttaka ne luginnyikiza yonna.  Yakuwa Katonda n’akola omuntu mu nfuufu+ y’ensi n’afuuwa mu nnyindo ze omukka ogw’obulamu,+ omuntu n’afuuka omulamu.+  Ate era Yakuwa Katonda n’asimba olusuku mu Edeni,+ ku ludda olw’ebuvanjuba, n’ateeka omwo omuntu gwe yali atonze.+  Yakuwa Katonda n’ameza ku ttaka buli muti ogulabika obulungi era omulungi okulya, n’omuti ogw’obulamu+ wakati mu lusuku, era n’omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi.+ 10  Waaliwo omugga ogwali gukulukuta okuva mu Edeni okufukirira olusuku, era gweyawulamu ne gufuuka emigga ena.* 11  Ogusooka guyitibwa Pisoni; ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kavira erimu zzaabu. 12  Zzaabu w’ensi eyo mulungi. Era eriyo ne bedola* n’amayinja agayitibwa sokamu. 13  Ogw’okubiri guyitibwa Gikoni; ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kuusi. 14  Ogw’okusatu guyitibwa Kidekeri;*+ ogwo gwe guyita ebuvanjuba wa Bwasuli.+ Ate ogw’okuna guyitibwa Fulaati.+ 15  Yakuwa Katonda n’atwala omuntu n’amuteeka mu lusuku Edeni okululimanga n’okululabiriranga.+ 16  Yakuwa Katonda n’awa omuntu ekiragiro kino: “Ku buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’oyagala.+ 17  Naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi togulyangako, kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.”+ 18  Yakuwa Katonda n’agamba nti: “Si kirungi omusajja okweyongera okubeeranga yekka. Ŋŋenda kumukolera omuyambi; omuntu amusaanira.”+ 19  Yakuwa Katonda yali akoze mu nfuufu buli nsolo ey’omu nsiko na buli ekibuuka mu bbanga; n’atandika okubireeta eri omuntu alabe buli kimu bw’anaakiyita, era buli kiramu erinnya lye yakituuma lye lyaba erinnya lyakyo.+ 20  Bw’atyo omusajja n’atuuma amannya ensolo zonna ez’awaka, n’ebibuuka mu bbanga na buli nsolo ey’omu nsiko, naye ye omusajja teyalina muyambi; teyalina munne amusaanira. 21  Awo Yakuwa Katonda ne yeebasa omusajja otulo tungi; bwe yali yeebase n’amuggyamu olumu ku mbiriizi ze, we lwava n’azzaawo ennyama. 22  Yakuwa Katonda olubiriizi lwe yaggya mu musajja n’alukolamu omukazi, n’amuleeta eri omusajja.+ 23  Omusajja n’agamba nti: “Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gangeEra omubiri oguvudde mu mubiri gwange.Ono anaayitibwanga Mukazi,Kubanga aggiddwa mu musajja.”+ 24  Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina n’anywerera* ku mukazi we era banaabanga omubiri gumu.+ 25  Bombi omusajja ne mukazi we baabeeranga bwereere+ naye nga tebakwatibwa nsonyi.

Obugambo Obuli Wansi

Wano erinnya lya Katonda, יהוה (YHWH), we lisooka okulabika mu Byawandiikibwa. Laba Ebyong. A4.
Obut., “emitwe ena.”
Bedola gaba masanda agaggibwa mu miti egimu.
Oba, “Tiguliisi.”
Oba, “n’abeera.”