Olubereberye 24:1-67
24 Ibulayimu yali akuze, ng’akaddiye, era Yakuwa yali amuwadde omukisa mu buli kintu.+
2 Ibulayimu n’agamba omuweereza we eyali asinga obukulu mu nnyumba ye era eyali alabirira byonna bye yalina+ nti: “Teeka omukono gwo wansi w’ekisambi kyange
3 nkulayize eri Yakuwa Katonda w’eggulu n’ensi nti mutabani wange tojja kumufunira mukazi mu bawala b’Abakanani be mbeeramu.+
4 Naye ojja kugenda mu nsi yange, mu b’eŋŋanda zange,+ ofunire Isaaka mutabani wange omukazi.”
5 Naye omuweereza n’amugamba nti: “Watya singa omukazi takkirize kujja nange mu nsi eno? Olwo nnaaba nnina okuzzaayo mutabani wo mu nsi gye wava?”+
6 Ibulayimu n’amugamba nti: “Togezanga n’ozzaayo mutabani wange eyo.+
7 Yakuwa Katonda w’eggulu eyanzigya mu nnyumba ya kitange, mu nsi y’ab’eŋŋanda zange,+ era eyayogera nange n’andayirira+ nti, ‘Ezzadde lyo+ ndiriwa ensi eno,’+ ajja kutuma malayika we akukulembere,+ era tooleme kufunira mutabani wange mukazi okuva eyo.+
8 Naye omukazi bw’atakkirize kujja naawe, awo ojja kuba tokyavunaanibwa olw’ekirayiro kino. Naye tozzangayo mutabani wange eyo.”
9 Awo omuweereza n’ateeka omukono gwe wansi w’ekisambi kya Ibulayimu mukama we, n’amulayirira okukola bye yamusaba.+
10 Bw’atyo omuweereza n’aggya eŋŋamira kkumi ku ŋŋamira za mukama we n’agenda, n’atwala ku bintu ebirungi ebya buli ngeri mukama we bye yali amuwadde. Awo n’agenda e Mesopotamiya mu kibuga kya Nakoli.
11 Awo akawungeezi, mu kiseera abakazi we baafulumiranga okukima amazzi, n’afukamiza eŋŋamira ku luzzi olwali ebweru w’ekibuga.
12 N’agamba nti: “Yakuwa Katonda wa mukama wange Ibulayimu, nkusaba ebintu biŋŋendere bulungi leero, olage mukama wange Ibulayimu okwagala okutajjulukuka.
13 Laba, nnyimiridde wano ku luzzi era abawala b’abantu b’omu kibuga bajja okukima amazzi.
14 Kale kibeere bwe kiti: omuwala gwe nnaagamba nti, ‘Nkusaba osse ensuwa yo nnywe ku mazzi,’ n’aŋŋamba nti, ‘Nywa era n’eŋŋamira zo ŋŋenda kuzisenera zinywe,’ oyo gw’onooba olondedde omuweereza wo Isaaka; era ku ekyo kw’oba ommanyisiza nti olaze mukama wange okwagala okutajjulukuka.”
15 Bwe yali akyayogera, Lebbeeka muwala wa Besweri+ mutabani wa Mirika+ muka Nakoli,+ muganda wa Ibulayimu, n’afuluma mu kibuga ng’asitulidde ensuwa ye ku kibegaabega.
16 Omuwala ono yali alabika bulungi nnyo, nga mbeerera, nga teyeegattangako na musajja yenna. N’aserengeta ku luzzi n’ajjuza ensuwa ye amazzi, oluvannyuma n’ayambuka.
17 Amangu ago omuweereza n’adduka okumusisinkana n’amugamba nti: “Nkusaba ompe ku tuzzi mu nsuwa yo nnyweko.”
18 N’amuddamu nti: “Mukama wange nywa.” Awo n’ayanguwa n’aggya ensuwa ku kibegaabega kye n’agikwata mu mikono gye, n’amuwa n’anywa.
19 Bwe yamala okumuwa amazzi okunywa, n’agamba nti: “N’eŋŋamira zo nja kuzisenera zinywe okutuusa ennyonta lw’eneeziggwaako.”
20 Bw’atyo n’ayanguwa n’afuka mu kyesero amazzi agaali mu nsuwa ye, n’adduka n’addayo enfunda n’enfunda okusena amazzi, n’asenera eŋŋamira ze zonna.
21 Mu kiseera ekyo kyonna omusajja yali asiriikiridde ng’amutunuulidde nga yeewuunya era nga yeebuuza obanga Yakuwa yali awadde olugendo lwe omukisa.
22 Awo eŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja n’amuwa empeta ey’omu nnyindo eya zzaabu ng’ezitowa kitundu kya sekeri,* n’obukomo bubiri obwa zzaabu nga buzitowa sekeri* kkumi,
23 n’amubuuza nti: “Nkwegayiridde mbuulira, oli muwala w’ani? Mu nnyumba ya kitaawo eriyo ekifo mwe tuyinza okusula?”
24 N’amugamba nti: “Ndi muwala wa Besweri,+ mutabani wa Mirika, nga kitaawe ye Nakoli.”+
25 Era n’amugamba nti: “Tulina ebisubi n’emmere endala nnyingi ey’ensolo, era n’ekifo aw’okusula.”
26 Awo omusajja n’akka ku maviivi n’avunnama mu maaso ga Yakuwa,
27 n’agamba nti: “Yakuwa Katonda wa mukama wange Ibulayimu atenderezebwe, kubanga taleseeyo kulaga mukama wange kwagala okutajjulukuka, era taleseeyo kwoleka bwesigwa bwe gy’ali. Yakuwa ankulembedde n’antuusa mu nnyumba ya baganda ba mukama wange.”
28 Omuwala n’adduka okubuulira ab’ennyumba ya nnyina ebintu ebyo.
29 Lebbeeka yalina mwannyina ayitibwa Labbaani.+ Awo Labbaani n’adduka n’agenda eri omusajja eyali ebweru w’ekibuga ku luzzi.
30 Bwe yalaba empeta ey’omu nnyindo n’obukomo ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira Lebbeeka mwannyina ng’agamba nti: “Omusajja aŋŋambye bw’ati ne bw’ati,” n’agenda asisinkane omusajja eyali akyayimiridde n’eŋŋamira ku luzzi,
31 n’amugamba nti: “Jjangu ggwe Yakuwa gw’awadde omukisa. Kiki ekikuyimirizza ebweru? Mmaze okuteekateeka ennyumba n’ekifo ky’eŋŋamira.”
32 Awo omusajja n’ayingira mu nnyumba, Labbaani n’asumulula eŋŋamira n’aziwa ebisubi n’emmere yaazo endala, era n’aleeta n’amazzi ag’okunaaza ebigere by’omuweereza n’eby’abasajja abaali naye.
33 Kyokka bwe baamuleetera eby’okulya n’agamba nti: “Sijja kulya okutuusa nga mmaze okukubuulira ensonga zange.” Awo Labbaani n’amugamba nti: “Yogera.”
34 N’abagamba nti: “Ndi muweereza wa Ibulayimu.+
35 Yakuwa awadde mukama wange emikisa mingi era amugaggawazza n’amuwa endiga, ente, ffeeza, zzaabu, abaweereza abasajja n’abakazi, eŋŋamira, n’endogoyi.+
36 Ate era Saala muka mukama wange, mu bukadde bwe yazaalira mukama wange omwana ow’obulenzi,+ era mukama wange ajja kumuwa byonna by’alina.+
37 Kale mukama wange yandayiza ng’agamba nti: ‘Mutabani wange tomufuniranga omukazi mu bawala b’Abakanani bannannyini nsi gye mbeeramu.+
38 Naye ojja kugenda mu nnyumba ya kitange era mu b’ekika kyange+ ofunire mutabani wange omukazi.’+
39 Kyokka ne ŋŋamba mukama wange nti: ‘Watya singa omukazi talikkiriza kujja nange?’+
40 N’aŋŋamba nti: ‘Olw’okuba ntambudde ne Yakuwa,+ ajja kutuma malayika we+ abe wamu naawe, era taaleme kuwa lugendo lwo mukisa; ojja kufunira mutabani wange omukazi okuva mu b’ekika kyange mu nnyumba ya kitange.+
41 Naye ojja kuba tokyavunaanyizibwa olw’ekirayiro kino ky’ondayiridde singa onoogenda eri ab’eŋŋanda zange ne bagaana okumukuwa. Awo ojja kuba tokyavunaanyizibwa olw’ekirayiro ky’ondayiridde.’+
42 “Bwe ntuuse ku luzzi leero ne ŋŋamba nti, ‘Yakuwa Katonda wa mukama wange Ibulayimu, bw’oba ng’onoowa olugendo lwange omukisa,
43 nga nnyimiridde wano ku luzzi, ka kibeere bwe kiti: Omuwala+ bw’anaafuluma okujja okusena amazzi, ne mmugamba nti: “Nsaba ompe ku tuzzi mu nsuwa yo,”
44 n’addamu nti, “Nywa, era n’eŋŋamira zo nja kuzisenera,” oyo k’abe omukazi Yakuwa gw’alondedde mutabani wa mukama wange.’+
45 “Bwe nnabadde nkyayogera mu mutima gwange, laba, Lebbeeka n’afuluma ng’asitulidde ensuwa ku kibegaabega, n’aserengeta ku luzzi n’asena amazzi. Ne mmugamba nti: ‘Mpa ku mazzi nnyweko.’+
46 N’ayanguwa n’aggya ensuwa ye ku kibegaabega n’agamba nti: ‘Nywa,+ era n’eŋŋamira zo nja kuziwa amazzi zinywe.’ Awo ne nnywa, era n’awa n’eŋŋamira ne zinywa.
47 Oluvannyuma ne mmubuuza nti, ‘Oli muwala w’ani?’ n’anziramu nti, ‘Ndi muwala wa Besweri mutabani wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira.’ Awo ne nteeka empeta ku nnyindo ye n’obukomo ku mikono gye.+
48 Awo ne nzika ku maviivi ne nvunnama mu maaso ga Yakuwa, ne ntendereza Yakuwa Katonda wa mukama wange Ibulayimu,+ eyannuŋŋamizza mu kkubo ettuufu okutwalira mutabani wa mukama wange muwala wa muganda we.
49 Kale bwe muba nga munaalaga mukama wange okwagala okutajjulukuka era nga munaaba beesigwa gy’ali, mumbuulire; bwe kitaba bwe kityo era mumbuulire nkwate ekkubo lino oba liri.”*+
50 Awo Labbaani ne Besweri ne baddamu nti: “Ekintu kino kivudde eri Yakuwa era tetusobola kukugamba nti yee oba nedda.*
51 Lebbeeka wuuyo. Mutwale ogende, abeere mukazi wa mutabani wa mukama wo, nga Yakuwa bw’agambye.”
52 Awo omuweereza wa Ibulayimu bwe yawulira ebigambo byabwe, amangu ago n’avunnama ku ttaka mu maaso ga Yakuwa.
53 Omuweereza n’aggyayo ebintu ebya ffeeza, n’ebya zzaabu, n’ebyambalo, n’abiwa Lebbeeka; n’awa ne mwannyina ne nnyina ebintu eby’omuwendo.
54 Oluvannyuma lw’ebyo, ye n’abasajja abaali naye ne balya era ne banywa, ne basula eyo.
Bwe yazuukuka ku makya n’agamba nti: “Munsiibule nzireyo eri mukama wange.”
55 Mwannyina w’omuwala ne nnyina ne bagamba nti: “Omuwala k’asigaleko naffe waakiri ennaku kkumi, oluvannyuma agende.”
56 Naye n’abagamba nti: “Temundwisa nga mumaze okulaba nti Yakuwa awadde olugendo lwange omukisa. Munsiibule ŋŋende eri mukama wange.”
57 Ne bamuddamu nti: “Ka tuyite omuwala tumubuuze.”
58 Ne bayita Lebbeeka ne bamubuuza nti: “Onoogenda n’omusajja ono?” N’addamu nti: “Nja kugenda naye.”
59 Awo ne basiibula Lebbeeka+ mwannyinaabwe n’omulezi*+ we n’omuweereza wa Ibulayimu n’abasajja be.
60 Ne bawa Lebbeeka emikisa ne bamugamba nti: “Mwannyinaffe, beera nnyina wa nkumi na nkumi emirundi mitwalo na mitwalo, era ezzadde lyo litwale omulyango* gw’abo abalikyawa.”+
61 Awo Lebbeeka n’abakazi abaweereza be ne basituka ne beebagala eŋŋamira ne bagoberera omusajja. Bw’atyo omuweereza n’atwala Lebbeeka n’agenda.
62 Awo Isaaka yali ava ku ludda lw’e Beeri-lakayiroyi,+ kubanga yali abeera mu Negebu.+
63 Awo nga buwungeera, Isaaka yali bweru ng’atambulatambula ku ttale okufumiitiriza,+ n’ayimusa amaaso ge n’alaba eŋŋamira nga zijja.
64 Lebbeeka bwe yayimusa amaaso ge n’alaba Isaaka, n’ava mangu ku ŋŋamira.
65 N’abuuza omuweereza nti: “Omusajja oli atambula ku ttale ajja gye tuli y’ani?” N’amuddamu nti: “Ye mukama wange.” N’addira ekitambaala ne yeebikka ku mutwe.
66 Omuweereza n’abuulira Isaaka byonna bye yali akoze.
67 Oluvannyuma lw’ebyo, Isaaka n’atwala Lebbeeka mu weema ya nnyina Saala.+ Bw’atyo n’atwala Lebbeeka n’afuuka mukazi we; Isaaka n’ayagala nnyo Lebbeeka,+ n’abudaabudibwa oluvannyuma lw’okufiirwa nnyina.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.
^ Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.
^ Obut., “ŋŋende ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono.”
^ Oba, “tetusobola kukugamba birungi oba bibi.”
^ Kwe kugamba, omulezi we eyali omuweereza we.
^ Oba, “ebibuga.”