Olubereberye 33:1-20
33 Awo Yakobo n’ayimusa amaaso ge n’alaba Esawu ng’ajja ng’ali wamu n’abasajja 400.+ N’agabanyaamu abaana n’abawa Leeya ne Laakeeri n’abaweereza ababiri.+
2 N’ateeka abaweereza n’abaana baabwe mu maaso,+ n’azzaako Leeya n’abaana be,+ n’asembyayo Laakeeri+ ne Yusufu.
3 Era ye kennyini n’abakulemberamu, n’avunnama ku ttaka emirundi musanvu nga bw’agenda asembera eri muganda we.
4 Naye Esawu n’adduka okumusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amunywegera, era bombi ne batulika ne bakaaba.
5 Bwe yayimusa amaaso ge n’alaba abakazi n’abaana n’agamba nti: “Baani bano abali naawe?” N’amuddamu nti: “Be baana Katonda b’awadde omuweereza wo olw’ekisa kye.”+
6 Awo abaweereza ne basembera nga bali wamu n’abaana baabwe ne bavunnama,
7 Leeya naye n’asembera n’abaana be ne bavunnama, oluvannyuma Yusufu ne Laakeeri ne basembera era nabo ne bavunnama.+
8 Awo Esawu n’agamba nti: “Lwaki osindise ekibinja kiri kyonna kye nsanze?”+ N’amuddamu nti: “Osobole okunkwatirwa ekisa mukama wange.”+
9 Esawu n’amugamba nti: “Nnina bingi nnyo muganda wange.+ Ebibyo bisigaze.”
10 Naye Yakobo n’amugamba nti: “Nedda, kaakano bwe mba nga nsiimibwa mu maaso go, twala ebirabo ebiva mu mukono gwange kubanga mbireese nsobole okulaba amaaso go. Era bwe ndabye amaaso go mbadde ng’alabye amaaso ga Katonda kubanga onnyanirizza n’essanyu.+
11 Nkwegayiridde twala ebirabo bye baleese gy’oli ebyoleka nti nkwagaliza emikisa,+ kubanga Katonda ansiimye era kubanga nnina buli kintu kye nneetaaga.”+ Ne yeeyongera okumwegayirira, bw’atyo n’abitwala.
12 Oluvannyuma Esawu n’amugamba nti: “Tusitule tugende, era ka nkukulemberemu.”
13 Naye n’amuddamu nti: “Mukama wange akimanyi nti abaana balina amaanyi matono,+ era nnina endiga n’ente eziyonsa; bwe zinaagobebwa amangu amangu mu lunaku lumu, zonna zijja kufa.
14 Nkwegayiridde, mukama wange akulemberemu omuweereza we, naye nze nja kujja mpolampola ng’okutambula kw’ebisolo byange n’okw’abaana bwe kuli, okutuusa lwe nnaatuuka eri mukama wange e Seyiri.”+
15 Awo Esawu n’amugamba nti: “Ka nkulekere abamu ku bantu bange.” N’amuddamu nti: “Ate lwaki? Ka nsiimibwe mu maaso ga mukama wange.”
16 Bw’atyo Esawu n’asitula okuddayo e Seyiri ku lunaku olwo.
17 Awo Yakobo n’agenda e Sukkosi,+ ne yeezimbira ennyumba n’ebisolo bye n’abizimbira ebigo. Eyo ye nsonga lwaki ekifo ekyo yakituuma Sukkosi.*
18 Yakobo n’atuuka mirembe okumpi n’ekibuga ky’e Sekemu+ mu nsi ya Kanani+ oluvannyuma lw’okuva e Padanalaamu,+ era n’asiisira okumpi n’ekibuga.
19 N’agula ekibanja ku baana ba Kamoli kitaawe wa Sekemu, ebitundu bya ffeeza 100,+ n’asiisira omwo.
20 N’azimba eyo ekyoto n’akituuma Katonda, Katonda wa Isirayiri.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Litegeeza, “Ensiisira.”