Olubereberye 39:1-23

  • Yusufu mu nnyumba ya Potifaali (1-6)

  • Yusufu agaana okwebaka ne muka Potifaali (7-20)

  • Yusufu mu kkomera (21-23)

39  Yusufu ne bamutwala e Misiri,+ Potifaali+ Omumisiri omukungu wa Falaawo era omukulu w’abakuumi n’amugula ku Bayisimayiri+ abaamutwalayo.  Naye Yakuwa yali wamu ne Yusufu,+ bw’atyo Yusufu n’aba n’omukisa mu buli kintu era n’aweebwa okukulira ennyumba ya mukama we Omumisiri.  Mukama we n’alaba nga Yakuwa ali wamu naye, era nga buli ky’akola Yakuwa akiwa omukisa.  Yusufu n’asiimibwanga mu maaso ga Potifaali, n’amufuula omuweereza we; Potifaali n’amulonda okulabiriranga ennyumba ye era n’amukwasa ne byonna bye yalina.  Okuva lwe yamulonda okulabirira ennyumba ye n’ebibye byonna, Yakuwa yawa ennyumba y’Omumisiri omukisa ku lwa Yusufu, era omukisa gwa Yakuwa ne gubeera ku byonna bye yalina mu nnyumba ne ku ttale.+  Oluvannyuma Potifaali n’aleka byonna bye yalina mu mukono gwa Yusufu, n’aba nga takyeraliikirira kintu kye na kimu okuggyako emmere gye yalyanga. Ate era Yusufu yali yakula bulungi era ng’alabika bulungi.  Bwe waayitawo ekiseera, muka mukama we n’atandika okusuuliza Yusufu eriiso era n’amugambanga nti: “Weebake nange.”  Naye Yusufu n’agaananga era n’agambanga muka mukama we nti: “Mukama wange talina kintu kye kyonna kye yeeraliikirira mu nnyumba kubanga nze wendi, era ankwasizza byonna by’alina.  Tewali ansinga buyinza mu nnyumba muno era tewali na kimu ky’atankwasa okuggyako ggwe, kubanga oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okukola ekibi ekyenkanidde awo ne nnyonoona mu maaso ga Katonda?”+ 10  Newakubadde nga yagambanga Yusufu buli lunaku, Yusufu teyakkiriza kwebaka naye, wadde okubeera naye okumala akaseera. 11  Naye lumu Yusufu bwe yayingira mu nnyumba okukola emirimu gye, mu nnyumba temwalimu muweereza n’omu ku baweereza b’omu nnyumba. 12  Awo omukazi n’amukwata ekyambalo n’amugamba nti: “Weebake nange!” Naye Yusufu n’aleka ekyambalo kye mu ngalo ze n’adduka n’afuluma ebweru. 13  Olwalaba ng’alese ekyambalo kye mu ngalo ze n’adduka n’afuluma ebweru, 14  n’atandika okuleekaana ng’ayita abaweereza ab’omu nnyumba era n’abagamba nti: “Laba! Omwebbulaniya ono, baze gwe yatuleetera, asazeewo okutufuula eky’okusekererwa. Azze gye ndi okwebaka nange naye ne ntandika okuleekaana ennyo. 15  Oluwulidde nga ntandise okuleekaana, n’aleka ekyambalo kye we mbadde n’adduka n’afuluma ebweru.” 16  Awo n’asigaza ekyambalo kya Yusufu okutuusa Potifaali mukama wa Yusufu lwe yakomawo mu nnyumba ye. 17  N’amubuulira ebigambo bino nti: “Omuweereza Omwebbulaniya gwe watuleetera yazze gye ndi okunfuula eky’okusekererwa. 18  Naye bwe nnatandise okuleekaana, n’aleka ekyambalo kye we nnabadde n’adduka n’afuluma ebweru.” 19  Mukama we olwawulira ebigambo mukazi we bye yamugamba nti: “Bino omuweereza wo bye yankoze,” n’asunguwala nnyo. 20  Mukama wa Yusufu n’amutwala n’amuwaayo mu kkomera abasibe ba kabaka gye baasibirwanga, n’abeera eyo mu kkomera.+ 21  Kyokka Yakuwa yeeyongera okuba awamu ne Yusufu n’amulaganga okwagala okutajjulukuka era n’amuleetera okusiimibwa mu maaso g’omukulu w’ekkomera.+ 22  Omukulu w’ekkomera n’awa Yusufu okukulira abasibe abalala bonna abaali mu kkomera, era nga byonna ebikolebwa mu kkomera y’abibalagira.+ 23  Omukulu w’ekkomera teyeeraliikiriranga kintu kyonna ekyali mu mukono gwa Yusufu, kubanga Yakuwa yali wamu ne Yusufu, era nga buli ky’akola Yakuwa akiwa omukisa.+

Obugambo Obuli Wansi