Olubereberye 4:1-26

  • Kayini ne Abbeeri (1-16)

  • Bazzukulu ba Kayini (17-24)

  • Seezi ne mutabani we Enosi (25, 26)

4  Awo Adamu ne yeegatta ne Kaawa mukazi we, Kaawa n’aba olubuto.+ Kaawa bwe yazaala Kayini+ n’agamba nti: “Yakuwa annyambye ne nzaala omwana ow’obulenzi.”  Oluvannyuma n’azaala Abbeeri+ muganda we. Abbeeri n’aba mulunzi wa ndiga, ate Kayini n’aba mulimi.  Bwe waayitawo ekiseera Kayini n’aleeta ku bibala by’ensi okubiwaayo eri Yakuwa.  Naye Abbeeri ye n’aleeta ku bibereberye by’ekisibo kye+ n’amasavu gaabyo. Yakuwa n’asiima Abbeeri era n’asiima n’ekiweebwayo kye,+  naye n’atasiima Kayini era n’ekiweebwayo kye nakyo n’atakisiima. Kayini n’asunguwala nnyo era ne yennyamira.  Yakuwa n’agamba Kayini nti: “Lwaki osunguwadde nnyo, era lwaki oli mwennyamivu?  Bw’onookyusa n’okola ebirungi toddemu n’osiimibwa?* Naye bw’otookyuse kukola birungi, ekibi kibwamye ku luggi, era ojja kufugibwa okwegomba kwakyo; naye onoosobola okukiwangula?”  Ebyo bwe byaggwa, Kayini n’agamba muganda we Abbeeri nti: “Tugende ku ttale.” Awo bwe baali ku ttale, Kayini n’atta muganda we Abbeeri.+  Oluvannyuma Yakuwa n’abuuza Kayini nti: “Muganda wo Abbeeri aluwa?” N’addamu nti: “Simanyi. Nze nkuuma muganda wange?” 10  Awo n’amugamba nti: “Kiki ky’okoze? Wulira! Omusaayi gwa muganda wo gunkaabirira nga gusinziira mu ttaka.+ 11  Era kaakano okolimiddwa era ogobeddwa ku ttaka eryasamizza akamwa kaalyo okunywa omusaayi gwa muganda wo gw’osse.+ 12  Bw’onoolimanga ettaka, teriikubalizenga mmere.* Ojja kubeera mubungeesi era mmomboze mu nsi.” 13  Awo Kayini n’agamba Yakuwa nti: “Ekibonerezo ky’ompadde olw’okusobya kwange kisukkiridde obunene. 14  Laba, ongoba leero mu nsi era nja kuba sikyali mu maaso go; nja kubeera mubungeesi era mmomboze mu nsi, era anansanga yenna ajja kunzita.” 15  Awo Yakuwa n’amugamba nti: “Omuntu yenna anatta Kayini ajja kuwoolerwako eggwanga emirundi musanvu.” Yakuwa n’ateerawo Kayini akabonero waleme kubaawo amutta ng’amusanze. 16  Awo Kayini n’ava mu maaso ga Yakuwa n’abeera mu nsi y’Obuwaŋŋanguse* ebuvanjuba wa Edeni.+ 17  Oluvannyuma Kayini ne yeegatta ne mukazi we,+ mukazi we n’aba olubuto n’azaala Enoka. Kayini n’azimba ekibuga n’akituuma erinnya ly’omwana we Enoka. 18  Oluvannyuma Enoka yazaala Iradi. Iradi n’azaala Mekuyayeri, Mekuyayeri n’azaala Mesusayeri, Mesusayeri n’azaala Lameka. 19  Lameka n’awasa abakazi babiri. Asooka yali ayitibwa Ada, ow’okubiri Zira. 20  Ada yazaala Yabali. Oyo ye kitaawe w’abo bonna ababeera mu weema era abalunzi. 21  Muganda we yali ayitibwa Yubali. Oyo ye kitaawe w’abo bonna abakuba entongooli era abafuuwa endere. 22  Ne Zira naye yazaala Tubali-kayini eyali omuweesi w’ebikozesebwa byonna eby’ekikomo n’eby’ekyuma. Mwannyina wa Tubali-kayini yali ayitibwa Naama. 23  Awo Lameka n’ayiiyiza bakazi be Ada ne Zira ekitontome kino: “Muwulire eddoboozi lyange mmwe baka Lameka;Mutege okutu eri ebigambo byange: Nzise omusajja olw’okuntuusaako ebisago,Nzise omuvubuka olw’okunkuba. 24  Bwe kiba nti anatta Kayini wa kuwoolerwako eggwangaemirundi 7,+ Anatta Lameka wa kuwoolerwako eggwanga emirundi 77.” 25  Adamu n’addamu okwegatta ne mukazi we, mukazi we n’azaala omwana ow’obulenzi n’amutuuma Seezi,*+ kubanga yagamba nti: “Katonda annondedde ezzadde ery’okudda mu kifo kya Abbeeri, kubanga Kayini yamutta.”+ 26  Seezi naye n’azaala omwana ow’obulenzi n’amutuuma Enosi.+ Mu kiseera ekyo abantu baatandika okukoowoola erinnya lya Yakuwa.*

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “tewaabeewo kutenderezebwa?”
Obut., “teriikuwenga maanyi gaalyo.”
Oba, “mu nsi ya Nodi.”
Litegeeza, “Yalondebwa, Yateekebwawo.”
Oba, “abantu baatandika okuvvoola erinnya lya Yakuwa.”