Olubereberye 46:1-34

  • Yakobo n’ab’omu nnyumba ye bagenda e Misiri (1-7)

  • Amannya g’abo abaagenda e Misiri (8-27)

  • Yusufu asisinkana Yakobo e Goseni (28-34)

46  Awo Isirayiri n’akwata byonna bye yalina* n’agenda. Bwe yatuuka e Beeru-seba,+ n’awaayo ssaddaaka eri Katonda wa Isaaka+ kitaawe.  Katonda n’ayogera ne Isirayiri mu kwolesebwa ekiro n’amugamba nti: “Yakobo, Yakobo!” N’amuddamu nti: “Nzuuno!”  N’amugamba nti: “Nze Katonda ow’amazima, Katonda wa kitaawo.+ Totya kugenda Misiri kubanga ndikufuulira eyo eggwanga eddene.+  Nze kennyini nja kugenda naawe e Misiri, era nze kennyini nja kukukomyawo,+ era Yusufu aliteeka engalo ze ku maaso go.”*+  Ebyo bwe byaggwa, Yakobo n’ava e Beeru-seba, era batabani ba Isirayiri ne batambuliza Yakobo kitaabwe n’abaana baabwe abato ne bakyala baabwe mu magaali Falaawo ge yaweereza okumutambulizaamu.  Ne batwala ensolo zaabwe n’ebintu byabwe bye baali bafunye mu nsi ya Kanani. Oluvannyuma Yakobo n’ezzadde lye lyonna ne batuuka e Misiri.  Yatwala mu Misiri batabani be ne bazzukulu be ab’obulenzi, ne bawala be ne bazzukulu be ab’obuwala—ezzadde lye lyonna.  Gano ge mannya ga batabani ba Isirayiri, kwe kugamba, abaana ba Yakobo abaagenda e Misiri:+ Lewubeeni+ ye yali omwana wa Yakobo omubereberye.  Batabani ba Lewubeeni be bano: Kanoki, Palu, Kezulooni, ne Kalumi.+ 10  Batabani ba Simiyoni+ be bano: Yemweri, Yamini, Okadi, Yakini, Zokali, ne Sawuli+ omwana w’omukazi Omukanani. 11  Batabani ba Leevi+ be bano: Gerusoni, Kokasi, ne Merali.+ 12  Batabani ba Yuda+ be bano: Eli, Onani, Seera,+ Pereezi,+ ne Zeera.+ Kyokka Eli ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani.+ Batabani ba Pereezi be bano: Kezulooni ne Kamuli.+ 13  Batabani ba Isakaali be bano: Tola, Puva, Yobu, ne Simuloni.+ 14  Batabani ba Zebbulooni+ be bano: Seredi, Eroni, ne Yaleeri.+ 15  Abo be batabani ba Leeya be yazaalira Yakobo mu Padanalaamu, awamu ne muwala we Dina.+ Batabani ba Yakobo ne bawala be bonna awamu baali 33. 16  Batabani ba Gaadi+ be bano: Zifiyooni, Kagi, Suni, Ezuboni, Eri, Alodi, ne Aleri.+ 17  Batabani ba Aseri+ be bano: Imuna, Isuva, Isuvi, Beriya; mwannyinaabwe yali ayitibwa Seera. Batabani ba Beriya be bano: Keberi ne Malukiyeeri.+ 18  Abo be batabani ba Zirupa+ Labbaani gwe yawa Leeya muwala we, era abo Zirupa be yazaalira Yakobo. Bonna awamu baali 16. 19  Batabani ba Laakeeri muka Yakobo be bano: Yusufu+ ne Benyamini.+ 20  Batabani ba Yusufu Asenasi+ muwala wa Potifera kabona w’e Oni* be yamuzaalira mu nsi ya Misiri be bano: Manase+ ne Efulayimu.+ 21  Batabani ba Benyamini+ be bano: Bera, Bekeri, Asuberi, Gera,+ Naamani, Eki, Losi, Muppimu, Kuppimu,+ ne Aludi.+ 22  Abo be batabani ba Laakeeri be yazaalira Yakobo. Bonna awamu baali 14. 23  Mutabani* wa Ddaani+ yali Kusimu.+ 24  Batabani ba Nafutaali+ be bano: Yazeeri, Guni, Yezeri, ne Siremu.+ 25  Abo be batabani ba Biruka Labbaani gwe yawa Laakeeri muwala we, era abo Biruka be yazaalira Yakobo. Bonna awamu baali abantu musanvu. 26  Abantu bonna abaasibuka mu Yakobo era abaagenda naye e Misiri, nga tobaliddeeko baka batabani be, baali 66.+ 27  Batabani ba Yusufu abaamuzaalirwa mu Misiri baali babiri. Abantu bonna ab’ennyumba ya Yakobo abaagenda e Misiri baali 70.+ 28  Yakobo n’atuma Yuda+ okumukulemberamu agende eri Yusufu amutegeeze nti ali mu kkubo agenda Goseni. Bwe baatuuka mu kitundu ky’e Goseni,+ 29  Yusufu n’ateekateeka eggaali lye n’agenda e Goseni okusisinkana Isirayiri kitaawe. Bwe yamweyanjulira, amangu ago n’amugwa mu kifuba* era n’akaaba okumala ekiseera.* 30  Awo Isirayiri n’agamba Yusufu nti: “Kaakano ne bwe nfa; nkulabyeko era nkitegedde nti okyali mulamu.” 31  Awo Yusufu n’agamba baganda be n’ab’omu nnyumba ya kitaawe nti: “Ka ŋŋende eri Falaawo+ mmutegeeze nti, ‘Baganda bange n’ab’omu nnyumba ya kitange abaali mu nsi ya Kanani bazze eno gye ndi.+ 32  Basajja basumba+ era balunzi ba bisolo;+ era baleese ebisibo byabwe n’amagana gaabwe ne byonna bye balina.’+ 33  Era Falaawo bw’anaabayita n’ababuuza nti, ‘Mukola mulimu ki?’ 34  mumuddemu nti, ‘Ffe abaweereza bo awamu ne bajjajjaffe tubadde balunzi ba bisolo okuva mu buto n’okutuuka leero,’+ kibasobozese okubeera mu kitundu ky’e Goseni,+ kubanga buli mulunzi wa ndiga wa muzizo eri Abamisiri.”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ababe bonna.”
Kwe kugamba, alibikka amaaso ga Yakobo ng’afudde.
Kwe kugamba, Keriyopolisi.
Obut., “Batabani.”
Obut., “n’agwa mu nsingo ye.”
Oba, “n’akaabira mu nsingo ye enfunda n’enfunda.”