Olubereberye 5:1-32

  • Okuva ku Adamu okutuuka ku Nuuwa (1-32)

    • Adamu yazaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala (4)

    • Enoka yatambula ne Katonda (21-24)

5  Kino kye kitabo ky’ebyafaayo bya Adamu. Mu lunaku Katonda lwe yatonderamu Adamu yamukola ng’alinga Katonda.+  Yabatonda omusajja n’omukazi.+ Ku lunaku lwe yabatonda+ yabawa omukisa era n’abayita Abantu.*  Adamu bwe yaweza emyaka 130 n’azaala omwana ow’obulenzi eyalinga ye era eyali mu kifaananyi kye, n’amutuuma Seezi.+  Oluvannyuma lw’okuzaala Seezi, Adamu yawangaala emyaka emirala 800. Yazaala n’abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala.  Emyaka gyonna Adamu gye yawangaala gyali 930, n’afa.+  Seezi bwe yaweza emyaka 105 n’azaala Enosi.+  Oluvannyuma lw’okuzaala Enosi, Seezi yawangaala emyaka emirala 807. Yazaala n’abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala.  Emyaka gyonna Seezi gye yawangaala gyali 912, n’afa.  Enosi bwe yaweza emyaka 90 n’azaala Kenani. 10  Oluvannyuma lw’okuzaala Kenani, Enosi yawangaala emyaka emirala 815. Yazaala n’abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala. 11  Emyaka gyonna Enosi gye yawangaala gyali 905, n’afa. 12  Kenani bwe yaweza emyaka 70 n’azaala Makalaleeri.+ 13  Oluvannyuma lw’okuzaala Makalaleeri, Kenani yawangaala emyaka emirala 840. Yazaala n’abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala. 14  Emyaka gyonna Kenani gye yawangaala gyali 910, n’afa. 15  Makalaleeri bwe yaweza emyaka 65 n’azaala Yaledi.+ 16  Oluvannyuma lw’okuzaala Yaledi, Makalaleeri yawangaala emyaka emirala 830. Yazaala n’abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala. 17  Emyaka gyonna Makalaleeri gye yawangaala gyali 895, n’afa. 18  Yaledi bwe yaweza emyaka 162 n’azaala Enoka.+ 19  Oluvannyuma lw’okuzaala Enoka, Yaledi yawangaala emyaka emirala 800. Yazaala n’abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala. 20  Emyaka gyonna Yaledi gye yawangaala gyali 962, n’afa. 21  Enoka bwe yaweza emyaka 65 n’azaala Mesuseera.+ 22  Oluvannyuma lw’okuzaala Mesuseera, Enoka yeeyongera okutambula ne Katonda ow’amazima okumala emyaka 300. Yazaala n’abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala. 23  Emyaka gyonna Enoka gye yawangaala gyali 365. 24  Enoka yatambulanga ne Katonda ow’amazima.+ Naye teyaddamu kulabika nate, kubanga Katonda yamutwala.+ 25  Mesuseera bwe yaweza emyaka 187 n’azaala Lameka.+ 26  Oluvannyuma lw’okuzaala Lameka, Mesuseera yawangaala emyaka emirala 782. Yazaala n’abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala. 27  Emyaka gyonna Mesuseera gye yawangaala gyali 969, n’afa. 28  Lameka bwe yaweza emyaka 182 n’azaala omwana ow’obulenzi. 29  N’amutuuma Nuuwa,*+ ng’agamba nti: “Ono y’alituleetera okubudaabudibwa* mu mirimu gyaffe ne mu kutegana kw’emikono gyaffe okw’obulumi, olw’ettaka Yakuwa lye yakolimira.”+ 30  Oluvannyuma lw’okuzaala Nuuwa, Lameka yawangaala emyaka emirala 595. Yazaala n’abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala. 31  Emyaka gyonna Lameka gye yawangaala gyali 777, n’afa. 32  Nuuwa bwe yaweza emyaka 500, n’azaala Seemu,+ Kaamu,+ ne Yafeesi.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Adamu.”
Liyinza okuba litegeeza “Ekiwummulo; Okubudaabudibwa.”
Oba, “obuweerero.”