Olubereberye 6:1-22
6 Awo abantu bwe baatandika okwala ku nsi ne bazaala abaana ab’obuwala,
2 abaana ba Katonda+ ow’amazima* ne balaba ng’abawala b’abantu balabika bulungi, era ne batandika okuwasa bonna be baalondangamu.
3 Awo Yakuwa n’agamba nti: “Omwoyo gwange teguugumiikirize muntu mirembe na mirembe,+ kubanga ye mubiri bubiri.* N’olwekyo, ennaku ze zinaaba emyaka 120.”+
4 Mu biro ebyo era n’ebyaddirira waaliwo Abanefuli* mu nsi; mu kiseera ekyo abaana ba Katonda beeyongera okwegatta n’abawala b’abantu ne babazaalira abaana ab’obulenzi; abo be baali ab’amaanyi era abaatiikirivu mu biseera eby’edda.
5 Awo Yakuwa n’alaba ng’ebikolwa by’omuntu ebibi biyitiridde mu nsi era nga n’ebirowoozo byonna eby’omu mutima gwe bibi ekiseera kyonna.+
6 Yakuwa ne yejjusa* olw’okutonda abantu ku nsi, era n’anakuwala* mu mutima gwe.+
7 Yakuwa n’agamba nti: “Ŋŋenda kusaanyaawo ku nsi abantu be nnatonda, abantu awamu n’ensolo ez’awaka, n’ensolo ezeewalula,* n’ebibuuka mu bbanga, kubanga nnejjusa olw’okuba nnabakola.”
8 Naye Nuuwa n’asiimibwa mu maaso ga Yakuwa.
9 Bino bye byafaayo bya Nuuwa.
Nuuwa yali musajja mutuukirivu+ era okwawukana ku bantu ab’omu mulembe gwe, ye teyaliiko kya kunenyezebwa. Nuuwa yatambula ne Katonda ow’amazima.+
10 Nuuwa yazaala abaana ab’obulenzi basatu, Seemu, Kaamu ne Yafeesi.+
11 Naye ensi yali eyonoonese mu maaso ga Katonda ow’amazima era ng’ejjudde ebikolwa eby’obukambwe.
12 Katonda n’atunuulira ensi n’alaba ng’eyonoonese,+ kubanga abantu baali boonoonye nnyo ku nsi.+
13 Awo Katonda n’agamba Nuuwa nti: “Nsazeewo okuzikiriza abantu bonna, kubanga ensi ejjudde ebikolwa eby’obukambwe ku lwabwe; era laba, ŋŋenda kubazikiriza awamu n’ensi.+
14 Weekolere eryato mu muti ogw’embaawo ennungi.*+ Ojja kuliteekamu ebisenge era olisiige koferi*+ munda ne kungulu.
15 Bw’oti bw’onoolikola: obuwanvu lijja kuba emikono* 300, obugazi emikono 50, ate obugulumivu emikono 30.
16 Ku lyato ojja kuteekako eddirisa* eriyingiza ekitangaala, omukono gumu okuva ku kasolya. Omulyango gw’eryato ojja kuguteeka mu mbiriizi zaalyo;+ ojja kulikola nga lirina omwaliiro ogusooka, omwaliiro ogw’okubiri, n’omwaliiro ogw’okusatu.
17 “Ŋŋenda kuleeta amataba+ ku nsi okuzikiriza buli ekirina omubiri ekirina omukka ogw’obulamu* ekiri wansi w’eggulu. Buli ekiri mu nsi kigenda kuzikirira.+
18 Era nkola naawe endagaano; ojja kuyingira mu lyato, ggwe ne batabani bo ne mukazi wo ne baka batabani bo.+
19 Ku biramu ebya buli ngeri+ ojja kuyingiza bibiri bibiri mu lyato, ekisajja n’ekikazi,+ biwonere wamu naawe.
20 Ebibuuka okusinziira ku bika byabyo, ensolo ez’awaka okusinziira ku bika byazo, n’ensolo zonna ezeewalula okusinziira ku bika byazo, bijja kuyingira bibiri bibiri gy’oli bisobole okuwonawo.+
21 Era ojja kukuŋŋaanya era otwale emmere ey’okulya eya buli kika;+ ejja kuba yiyo awamu n’ebisolo.”
22 Nuuwa n’akola byonna nga Katonda bwe yamulagira. Yakolera ddala bw’atyo.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Mu Lwebbulaniya, ebigambo “abaana ba Katonda ow’amazima” bikozesebwa ku bamalayika.
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “kubanga akola ebyo omubiri bye gwagala.”
^ Oba, “n’anyolwa.”
^ Oba, “n’alumizibwa mu mutima.”
^ Obut., “emiti egya goferi,” omuti ogw’envumbo.
^ Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekikozeseddwa wano kitegeeza ebintu ebiddugavu ebikwatira ebiringa ebitosi.
^ Omukono gwali gwenkana sentimita 44.5 (inci 17.5). Laba Ebyong. B14.
^ Ekigambo ky’Olwebbulaniya kiri tsoʹhar. Kiyinza okuba kitegeeza nti akasolya we keewunzikira waaliwo omuwaatwa gwa mukono gumu ekitangaala mwe kyayitanga, so si ddirisa.
^ Oba, “omwoyo ogw’obulamu.”