Oluyimba lwa Sulemaani 1:1-17
-
Oluyimba olusinga ennyimba zonna (1)
-
Omuwala (2-7)
-
Abawala ba Yerusaalemi (8)
-
Kabaka (9-11)
-
“Tujja kukukolera amajolobero aga zzaabu” (11)
-
-
Omuwala (12-14)
-
‘Omwagalwa wange alinga akasawo akawunya obulungi akalimu miira’ (13)
-
-
Omusumba (15)
-
“Olabika bulungi omwagalwa wange”
-
-
Omuwala (16, 17)
-
“Omwagalwa wange olabika bulungi” (16)
-
1 Oluyimba olusinga ennyimba zonna,* nga lwe lwa Sulemaani:+
2 “Nnywegera n’emimwa gyo,Kubanga omukwano gw’olaga gusinga omwenge.+
3 Amafuta go galina akaloosa akalungi.+
Erinnya lyo liringa amafuta ag’akaloosa agafukiddwa ku mutwe.+
Abawala kyebava bakwagala.
4 Ntwala gy’olaga; tudduke.
Kabaka annyingizza mu bisenge bye.
Ka tusanyuke era tujagulize wamu.
Ka tutende* omukwano gw’olaga; omukwano gw’olaga gusinga omwenge.
Ogwanira okwagala kwabwe.*
5 Mmwe abawala ba Yerusaalemi, ndi muwala muddugavu naye ndabika bulungi,Nninga weema z’e Kedali,+ nninga emitanda gya weema+ za Sulemaani.
6 Temuntunuulira olw’okuba ndi muddugavu,Omusana gunjokezza.
Bannyinaze baansunguwalira;Baampa ogw’okulabirira ennimiro z’emizabbibu,Ne sisobola kulabirira nnimiro yange.
7 Ggwe gwe njagala ennyo,Mbuulira gy’olundira ekisibo kyo,+Era gy’okigalamiza mu ttuntu.
Lwaki mbeera ng’omukazi eyeebisse ekitambaala* ku maasoNga ndi mu bisibo bya banno?”
8 “Ggwe asinga abakazi bonna obulungi, bw’oba nga tomanyi,Genda ng’ogoberera ekisinde ky’ekisiboOlundire embuzi zo ento okumpi ne weema z’abasumba.”
9 “Omwagalwa wange ondabikira bulungi ng’embalaasi* enkazi eri ku magaali ga Falaawo.+
10 Amajolobero galabisa bulungi amatama go,Embira zirabisa bulungi obulago bwo.
11 Tujja kukukolera amajolobero aga zzaabu,Agatonaatoneddwako ffeeza.”
12 “Kabaka bw’aba atudde ku mmeeza ye,Amafuta gange ag’akaloosa+ gawunyira bulungi omwagalwa wange.
13 Gye ndi omwagalwa wange alinga akasawo akalimu miira akawunya obulungi+Akasula mu kifuba kyange.
14 Gye ndi omwagalwa wange alinga ekiganda kya kofera*+Mu nnimiro z’emizabbibu ez’omu Eni-gedi.”+
15 “Ng’olabika bulungi omwagalwa wange!
Ng’olabika bulungi! Amaaso go galinga ag’ejjiba.”+
16 “Naawe olabika bulungi omwagalwa wange, era osanyusa.+
Ekiriri kyaffe kya bikoola.
17 Emirabba gy’ennyumba yaffe* gya miti gy’entolokyo,Embaawo z’akasolya kaffe za miberosi.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “olulungi ennyo.”
^ Oba, “tulombojje.”
^ Kwe kugamba, okw’abawala.
^ Oba, “ekitambaala ekyebikkirirwa mu kukungubaga.”
^ Oba, “ng’embalaasi yange.”
^ Oba “yina.” Kimera omuggibwa langi emmyukirivu.
^ Oba, “gy’ennyumba yaffe ennungi.”