Oluyimba lwa Sulemaani 2:1-17
2 “Ndi kimuli bumuli eky’omu lusenyi,Eddanga ery’omu biwonvu.”+
2 “Ng’eddanga mu maggwa,Gwe njagala bw’ali bw’atyo mu bawala.”
3 “Ng’omuti gwa apo bwe guba mu miti egy’omu kibira,N’omwagalwa wange bw’ali bw’atyo mu bavubuka.
Njagala nnyo okutuula mu kisiikirize kye,Era ekibala kye kimpoomera.
4 Yannyingiza mu nnyumba omuliirwa ebijjulo,*Era bbendera ye eyali ku nze kwe kwagala.
5 Mumpe ebitole by’ezzabbibu+ ne apo,Ndye nziremu amaanyi,Kubanga omukwano gundwazizza.
6 Omukono gwe ogwa kkono guli wansi w’omutwe gwange;N’omukono gwe ogwa ddyo gumpambaatidde.+
7 Mmwe abawala ba Yerusaalemi,Mbalayiza enjaza+ n’empeewo ez’oku ttale:
Temugolokosanga kwagala kwange newakubadde okukuzuukusa okutuusa we kulyagalira.+
8 Mpulira eddoboozi ly’omwagalwa wange!
Laba! Wuuyo ajja,Ng’alinnya ensozi, ng’obusozi abuyitako awenyuka.
9 Omwagalwa wange alinga enjaza, alinga empeewo ento.+
Wuuli ayimiridde emabega w’ennyumba yaffe,Alingiza mu ddirisa,Atunula mu ddirisa ery’akatimba.
10 Omwagalwa wange aŋŋamba nti,‘Yimuka gwe gwe njagala ennyo,Nnalulungi wange, jjangu tugende.
11 Laba! Ekiseera ky’obutiti* kiyise,Enkuba eweddeyo, egenze.
12 Ebimuli byanyizza mu nsi,+Ekiseera ky’okusalira kituuse,+Era oluyimba lw’ejjiba luwulirwa mu nsi yaffe.+
13 Ebibala by’omutiini ebisooka byengedde;+Emizabbibu gimulisizza era giwunya akawoowo.
Omwagalwa wange, yimuka ojje.
Nnalulungi wange, jjangu tugende.
14 Ggwe ejjiba lyange, vaayo mu mpampagama z’olwazi,+Vaayo eyo aweekusifu mu lwazi olugulumivu,Nkulabe era mpulire eddoboozi lyo,+Kubanga eddoboozi lyo ddungi era olabika bulungi.’”+
15 “Mutukwatire ebibe,Ebibe ebito ebyonoona ennimiro zaffe ez’emizabbibu,Kubanga emizabbibu gyaffe gimulisizza.”
16 “Omwagalwa wange, wange, nange ndi wuwe.+
Alundira endiga+ mu malanga.+
17 Ng’empewo tennatandika kukunta, era nga n’ebisiikirize tebinnaggwaawo,Komawo mangu omwagalwa wange,’enjaza+ oba empeewo ento+ ku nsozi eziri wakati waffe.*
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “nnyumba ey’omwenge.”
^ Oba, “ky’enkuba.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “nsozi ez’omuwaatwa.” Oba, “nsozi z’e Beteri.”