Oluyimba lwa Sulemaani 3:1-11
-
Abawala ba Sayuuni (6-11)
-
Sulemaani n’abaamuwerekerako
-
3 “Bwe nnali ku kitanda kyange ekiro,Nnanoonya oyo gwe njagala.+
Nnamunoonya, naye saamuzuula.+
2 Kyennava ŋŋamba nti, ‘Ka nnyimuke ntambuletambule mu kibuga;Ka nnoonye oyo gwe njagala,Mu nguudo ne mu bifo ebya lukale.
Nnamunoonya, naye saamuzuula.
3 Abakuumi abaali balawuna mu kibuga bansanga,+Ne mbabuuza nti, ‘Mundabiddeko ku oyo gwe njagala?’
4 Nnali nnaakabayitako bwe nti,Ne nsanga oyo gwe njagala.
Ne mmukwata, era saamuta,Okutuusa lwe nnamuleeta mu nnyumba ya mmange,+Mu bisenge by’oyo eyanzaala.
5 Mmwe abawala ba Yerusaalemi,Mbalayiza enjaza n’empeewo ez’oku ttale:
Temugolokosanga kwagala kwange newakubadde okukuzuukusa okutuusa we kulyagalira.”+
6 “Kiki ekyo ekiringa empagi z’omukka ekyambuka nga kiva mu ddungu,Ekiwunya akawoowo ka miira n’ak’obubaani obweru,N’eby’akaloosa byonna eby’abasuubuzi?”+
7 “Laba! Ye ntebe ya Sulemaani.
Yeetooloddwa abasajja ab’amaanyi nkaaga,Nga be bamu ku basajja ab’amaanyi ab’omu Isirayiri,+
8 Bonna balina ebitala,Bonna batendekeddwa okulwana,Buli omu asibye ekitala kye mu kiwatoOkwerinda eby’entiisa eby’ekiro.”
9 “Ye ntebe* ya Kabaka SulemaaniGye yeekolera mu miti gy’e Lebanooni.+
10 Empagi zaayo yazikola mu ffeeza,Ekyesigamwako kya zzaabu,Ekituulibwako kya wuzi eza kakobe;Era ng’Abawala ba YerusaalemiBaagitonaatona bulungi munda.”
11 “Mmwe abawala ba Sayuuni mufulume,Mulabe Kabaka SulemaaniNg’ayambadde omuge* nnyina+ gwe yamukoleraKu lunaku lw’embaga ye,Ku lunaku omutima gwe lwe gwasanyuka.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Entebe oba ekitanda okuli ekibikka waggulu kwe baasituliranga omuntu ow’ekitiibwa.
^ Oba, “engule.”