Oluyimba lwa Sulemaani 7:1-13
7 “Ebigere byo nga birabika bulungi mu ngatto,Ggwe omuwala ow’omutima omulungi!
Ebisambi byo ebyakula obulungi biringa amajolobero,Agaakolebwa omukugu.
2 Ekkundi lyo kibya ekyekulungirivu.
Ka kiremenga kubulamu mwenge omutabule.
Olubuto lwo lulinga entuumu y’eŋŋaano,Eyeetooloddwa amalanga.
3 Amabeere go gombi galinga enjaza ento,Abaana b’enjaza abalongo.+
4 Ensingo yo+ eringa omunaala ogw’amasanga.+
Amaaso go+ galinga ebidiba by’e Kesuboni,+Ebiri okumpi n’omulyango gwa Basu-labbimu.
Ennyindo yo eringa omunaala gwa Lebanooni,Ogutunudde e Ddamasiko.
5 Omutwe gwo gulinga Olusozi Kalumeeri,+N’enviiri zo*+ ziringa wuzi eza kakobe.+
Kabaka asikirizibwa enviiri zo empanvu era ezirabika obulungi.
6 Ng’olabika bulungi era ng’osanyusa!
Ggwe omuwala gwe njagala, osinga ebirala byonna ebisanyusa.
7 Wawanvuwa ng’olukindu,N’amabeere go galinga ebirimba by’entende.+
8 Nnagamba nti, ‘Nja kulinnya olukindu,Nnoge ebibala byalwo.’
Amabeere go ka gabeere ng’ebirimba by’ezzabbibu,N’akawoowo k’omukka gw’ossa ka kabeere ng’aka apo,
9 N’akamwa ko* ka kabeere ng’omwenge ogusingayo obulungi.”
“Ka gukkirire bulungi mu mumiro gw’omwagalwa wange,Guyite mpola mpola ku mimwa gy’abo abeebase.
10 Nze ndi wa mwagalwa wange,+Era nze gw’ayagala.
11 Omwagalwa wange, jjangu,Tugende ebweru;Ka tubeere mu bimera bya kofera.+
12 Tukeere tugende mu nnimiro y’emizabbibu,Tulabe obanga emizabbibu gireese emitunsi,Tulabe obanga ebimuli byanjuluzza,+Tulabe obanga enkomamawanga zaanyizza.+
Eyo gye nnaakulagira omukwano.+
13 Amadudayimu+ gawunya akaloosa;Ku miryango gyaffe waliwo ebibala ebirungi ebya buli ngeri,+Ebiggya n’ebikadde,Bye nkuterekedde, ggwe omwagalwa wange.