Oluyimba lwa Sulemaani 8:1-14
-
Omuwala (1-4)
-
“Singa wali nga mwannyinaze” (1)
-
-
Bannyina b’omuwala (5a)
-
‘Ani oyo eyeesigamye ku mwagalwa we?’
-
-
Omuwala (5b-7)
-
“Okwagala kwa maanyi ng’okufa” (6)
-
-
Bannyina b’omuwala (8, 9)
-
“Bw’aba bbugwe, . . . naye bw’aba luggi, . . .” (9)
-
-
Omuwala (10-12)
-
“Ndi bbugwe” (10)
-
-
Omusumba (13)
-
‘Ka mpulire eddoboozi lyo’
-
-
Omuwala (14)
-
“Wenyuka ng’enjaza”
-
8 “Singa wali nga mwannyinaze,Eyayonka amabeere ga mmange!
Bwe nnandikusanze ebweru, nnandikunywegedde,+Era tewali yandinnyoomye.
2 Nnandikututte;Nnandikuyingizza mu nnyumba ya mmange,+Eyanjigirizanga.
Nnandikuwadde omwenge oguteereddwamu ebirungo n’onywa,N’omubisi ogusogoddwa mu nkomamawanga.
3 Omukono gwo ogwa kkono gwandibadde wansi w’omutwe gwange,N’omukono gwo ogwa ddyo gwandimpambaatidde.+
4 Mmwe abawala ba Yerusaalemi mbalayiza:
Temugolokosanga kwagala kwange newakubadde okukuzuukusa okutuusa we kulyagalira.”+
5 “Ani oyo ava mu ddungu,Nga yeesigamye ku mwagalwa we?”
“Nnakuzuukusa ng’oli wansi w’omuti gwa apo.
Awo nnyoko we yalumirwa ng’akuzaala.
Awo ebisa we byalumira eyakuzaala.
6 Nteeka ku mutima gwo ng’akabonero,Nteeka ku mukono gwo ng’akabonero,Kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa,+Era obwesigwa bunywereza ddala ng’amagombe.*
Okwagala kulinga ennimi z’omuliro ogubumbujja, ennimi z’omuliro gwa Ya.*+
7 Amazzi agayira tegasobola kuzikiza kwagala,+N’emigga tegisobola kukutwala.+
Omuntu ne bwe yandiwaddeyo obugagga bwonna obw’omu nnyumba ye olw’okwagala,Bwandibadde bunyoomebwa* nnyo.”
8 “Tulina mwannyinaffe omuto,+Atannasuna mabeere.
Tulimukolera kiKu lunaku lwe balimwogereza?”
9 “Bw’aba bbugwe,Tujja kumuzimbako omuziziko ogwa ffeeza,Naye bw’aba luggi,Tulimukubako olubaawo olw’entolokyo.”
10 “Ndi bbugwe,N’amabeere gange galinga eminaala.
N’olwekyo mu maaso ge nningaOmuntu afunye emirembe.
11 Sulemaani yalina ennimiro y’emizabbibu+ mu Bbaali-Kamooni.
Ennimiro eyo yagikwasa abantu bagirabirire.
Olw’ebibala ebyalimu, buli omu ku bo yaleetanga ebitundu bya ffeeza lukumi.
12 Ennimiro yange ey’emizabbibu yange.
Ggwe Sulemaani, ebitundu bya ffeeza olukumi bibyo,*Ate ebitundu bya ffeeza ebikumi ebibiri by’abo abagirabirira.”
13 “Ggwe abeera mu nnimiro,+Bannange balindiridde okuwulira eddoboozi lyo.
Nange ka ndiwulire.”+
14 “Omwagalwa wange, yanguwa,Era wenyuka ng’enjaza+Oba ng’empeewo entoKu nsozi eziriko ebimera eby’akaloosa.”
Obugambo Obuli Wansi
^ “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Yandibadde anyoomebwa.”
^ Obut., “olukumi lulwo.”