Omubuulizi 4:1-16
4 Nnaddamu ne ndowooza ku bikolwa byonna eby’okunyigiriza abalala ebikolebwa wansi w’enjuba. Nnalaba amaziga g’abo abanyigirizibwa, era nga tewali ababudaabuda.+ Tewaali ababudaabuda olw’okuba abaali babanyigiriza baalina obuyinza.
2 Nnalowooza nti omufu asinga omulamu.+
3 Naye abasinga bombi y’oyo atannazaalibwa,+ atannalaba binakuwaza ebikolebwa wansi w’enjuba.+
4 Era nkirabye nti okuvuganya kwe kuleetera abantu okukola ennyo n’okwolesa obukugu;+ ekyo nakyo butaliimu era kugoba mpewo.
5 Omusirusiru azinga emikono n’afa enjala.*+
6 Olubatu lumu olw’okuwummula lusinga embatu bbiri ez’okukola ennyo era n’okugoba empewo.+
7 Nnaddamu ne ndowooza ku kintu ekirala ekitaliimu ekikolebwa wansi w’enjuba:
8 Wabaawo omuntu ng’ali bw’omu bw’ati, nga talina munne, wadde omwana, wadde muganda we, kyokka ng’akola butaweera. Amaaso ge tegamatira bya bugagga.+ Naye amala ne yeebuuza nti, ‘Ani gwe nteganira era lwaki nneerumya’?+ Ekyo nakyo butaliimu era kinakuwaza.+
9 Ababiri basinga omu,+ kubanga bafuna empeera ennungi* olw’ebyo bye bafuba okukola.
10 Kubanga omu bw’agwa, munne asobola okumuyamba n’asituka. Naye omuntu bw’aba yekka n’agwa, ani ayinza okumuyamba okusituka?
11 Ate era ababiri bwe bagalamira awamu babuguma, naye ali obw’omu ayinza atya okubuguma?
12 Omuntu ayinza okusinza amaanyi oyo ali yekka, naye ababiri tasobola kubasinza maanyi. N’omuguwa ogw’emiyondo esatu si mwangu kukutula.
13 Omwana omwavu naye nga wa magezi asinga kabaka omukadde omusirusiru+ atakyayagala kuwabulwa.+
14 Omwana oyo yava mu kkomera n’afuuka kabaka,+ wadde nga yazaalibwa mwavu mu bwakabaka bwa kabaka oyo.+
15 Nnalowooza ku bantu bonna abalamu abatambulatambula wansi w’enjuba, ne ku muvubuka addira kabaka mu bigere.
16 Wadde ng’aba n’abawagizi bangi, abantu abaddawo oluvannyuma tebamusanyukira.+ Ekyo nakyo butaliimu era kugoba mpewo.