Omubuulizi 6:1-12
6 Waliwo ekintu ekirala eky’ennaku kye ndabye wansi w’enjuba era nga kitera okubaawo mu bantu:
2 Katonda ow’amazima awa omuntu eby’obugagga n’ekitiibwa, omuntu oyo n’atabaako ky’ajula; kyokka Katonda ow’amazima n’atamusobozesa kubyeyagaliramu, wadde ng’omuntu omulala ayinza okubyeyagaliramu. Ekyo nakyo butaliimu era kya nnaku nnyo.
3 Omusajja ne bw’azaala abaana ekikumi n’awangaala emyaka mingi era n’akaddiwa, kyokka n’agenda mu ntaana nga teyeeyagaliddeeko mu bintu bye, nze ŋŋamba nti omwana eyazaalibwa ng’afudde amusinga.+
4 Kubanga omwana oyo baba baamuzaalira bwereere era yagendera mu kizikiza, era nga n’erinnya lye lyetooloddwa ekizikiza.
5 Wadde nga teyalaba ku njuba era nga teyamanya kintu kyonna, asinga omusajja oli.*+
6 Kigasa ki omuntu okuwangaala emyaka enkumi bbiri naye nga si musanyufu? Bonna tebagenda mu kifo kimu?+
7 Omuntu ateganira kujjuza lubuto lwe,+ naye tamatira.
8 Kiki ow’amagezi ky’asinga omusirusiru,+ era omuntu omwavu okuba nti amanyi engeri y’okweyimirizaawo kimugasa ki?
9 Okusanyusibwa ebintu amaaso bye galabako kisinga okwegomba ebintu by’otayinza kufuna. Ekyo nakyo butaliimu era kugoba mpewo.
10 Buli ekyali kibaddewo kyatuumibwa dda erinnya, n’omuntu ky’ali kimanyiddwa; tasobola kuwakana* n’oyo amusinga amaanyi.
11 Ebigambo* gye bikoma okuba ebingi, gye bikoma okuba ebitaliimu; kati olwo bigasa ki omuntu?
12 Ani amanyi omuntu ky’agwanidde okukola mu nnaku entono ez’obulamu bwe obutaliimu obuyita obuyisi ng’ekisiikirize,+ era ani ayinza okumubuulira ebiribaawo wansi w’enjuba ng’amaze okufa?
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “awummula okusinga omusajja oli.”
^ Oba, “kuwoza.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ebintu.”