Yakobo 5:1-20
5 Kale nno, mmwe abagagga, mukaabe, mukube ebiwoobe olw’ennaku egenda okubatuukako.+
2 Obugagga bwammwe buvunze, era ebyambalo byammwe biriiriddwa ebiwuka.+
3 Zzaabu wammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge bwabyo bujja kuba ng’obujulirwa gye muli, era bujja kulya emibiri gyammwe. Bye mweterekedde bijja kuba ng’omuliro mu nnaku ez’enkomerero.+
4 Empeera y’abakozi abaakungula ennimiro zammwe gye mwalyazaamanya ekaaba, era okulaajana kw’abakunguzi kutuuse mu matu ga Yakuwa* ow’eggye.+
5 Muli mu bulamu obw’okwejalabya era mwenyigidde mu by’amasanyu ku nsi. Musavuwazza emitima gyammwe ku lunaku olw’okuttirako.+
6 Musalidde omutuukirivu omusango era mumusse. Eyo ye nsonga lwaki abawakanya.
7 N’olwekyo ab’oluganda, mugumiikirize okutuuka ku kubeerawo kwa Mukama waffe.+ Omulimi alindirira n’obugumiikiriza ebibala ebirungi eby’ensi okutuusa lw’afuna enkuba esooka n’enkuba esembayo.+
8 Nammwe mugumiikirize;+ munyweze emitima gyammwe kubanga okubeerawo kwa Mukama waffe kusembedde.+
9 Ab’oluganda, buli muntu teyeemulugunyanga ku munne muleme okusalirwa omusango.+ Laba! Omusazi w’omusango ayimiridde ku mulyango.
10 Ab’oluganda, mugoberere ekyokulabirako kya bannabbi abaayogera mu linnya lya Yakuwa,*+ abaabonaabona+ era ne bagumiikiriza.+
11 Tubayita basanyufu* abo abaagumiikiriza.+ Mwawulira ku bugumiikiriza bwa Yobu+ era mwalaba Yakuwa* bye yamukolera+ oluvannyuma, era ne mukiraba nti Yakuwa* alina okwagala kungi era musaasizi.+
12 Naye baganda bange, okusingira ddala mulekere awo okulayira, newakubadde okulayira eggulu, newakubadde ensi, newakubadde okulayira ekintu ekirala kyonna. Naye ekigambo kyammwe “Yee,” kibeerenga yee n’ekigambo kyammwe “Nedda,” kibeerenga nedda,+ muleme okusalirwa omusango.
13 Waliwo omuntu yenna mu mmwe abonaabona? Asabe.+ Waliwo omuntu yenna asanyuse? Ayimbe zabbuli.+
14 Waliwo omuntu yenna mu mmwe alwadde? Ayite abakadde b’ekibiina,+ bamusabire era bamusiige amafuta+ mu linnya lya Yakuwa.*
15 Okusaba okw’okukkiriza kujja kuwonya omulwadde oyo,* era Yakuwa* ajja kumussuusa. Ate era bw’aba ng’alina ebibi bye yakola bijja kumusonyiyibwa.
16 N’olwekyo, buli omu ayatulire munne ebibi bye+ era buli omu asabire munne, musobole okuwonyezebwa. Okusaba kw’omutuukirivu kulina amaanyi mangi.+
17 Eriya yali muntu nga ffe, kyokka bwe yasaba enkuba ereme okutonnya, enkuba teyatonnya ku nsi okumala emyaka esatu n’emyezi mukaaga.+
18 Era bwe yaddamu okusaba, enkuba yatonnya okuva mu ggulu era ensi n’ebala ebibala.+
19 Baganda bange, bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe awabiziddwa okuva mu mazima, omulala n’amukomyawo,
20 mukimanye nti oyo akomyawo omwonoonyi okuva mu kkubo lye ekkyamu+ ajja kumuwonya okufa era ajja kubikka ku bibi bingi.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Oba, “ba mukisa.”
^ Laba Ebyong. A5.
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “oyo akooye.”
^ Laba Ebyong. A5.