Yeremiya 22:1-30

  • Obubaka eri bakabaka ababi (1-30)

22  Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Genda mu lubiri lwa kabaka wa Yuda omutuuseeko obubaka buno.  Mugambe nti, ‘Wulira ekigambo kya Yakuwa, ggwe kabaka wa Yuda atuula ku ntebe ya Dawudi, ggwe n’abaweereza bo, n’abantu bo, abo abayingirira mu miryango gino.  Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Mukole eby’obwenkanya n’eby’obutuukirivu. Mununule anyagiddwa mu mukono gw’omunyazi. Temuyisa bubi mugwira yenna, era temukola kabi ku nnamwandu wadde omwana yenna atalina kitaawe.*+ Ate era temuyiwa musaayi gw’abantu abatalina musango mu kifo kino.+  Bwe munaafuba okukolera ku kigambo kino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi+ bajja kuyingirira mu miryango gy’olubiri luno, nga bali mu magaali era nga beebagadde embalaasi, bo n’abaweereza baabwe n’abantu baabwe.”’+  “‘Naye bwe mutaakolere ku bigambo bino,’ Yakuwa bw’agamba, ‘ndayira nti olubiri luno lujja kufuuka matongo.’+  “Kubanga bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku lubiri lwa kabaka wa Yuda,‘Olinga Gireyaadi gye ndi,Olinga entikko ya Lebanooni. Naye nja kukufuula ddungu;Tewali kibuga kyo na kimu kijja kubeeramu muntu.+   Ate era nja kussaawo* abanaakuzikiriza,Nga buli omu alina eby’okulwanyisa bye.+ Bajja kutema emiti gyo egy’entolokyo egisingayo obulungiBagisuule mu muliro.+  “‘Abantu ab’amawanga mangi bajja kuyita ku kibuga kino buli omu abuuze munne nti: “Lwaki ekibuga kino ekikulu Yakuwa yakituusa ku kino?”+  Bajja kuddamu nti: “Olw’okuba baava ku ndagaano ya Yakuwa Katonda waabwe ne bavunnamira bakatonda abalala era ne babaweereza.”’+ 10  Temukaabira afudde,Era temumulumirirwa. Wabula oyo agenda mu buwaŋŋanguse gwe muba mukaabira ennyo,Olw’okuba tajja kudda kulaba nsi mwe yazaalibwa. 11  “Kubanga bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku Salumu*+ kabaka wa Yuda, mutabani wa Yosiya, eyasikira kitaawe Yosiya+ ku bwakabaka, era eyava mu kifo kino n’agenda: ‘Si wa kudda. 12  Ajja kufiira gye bamututte mu buwaŋŋanguse, era tajja kuddamu kulaba nsi eno.’+ 13  Zimusanze oyo azimba ennyumba ye ng’ayitira mu makubo amakyamuEra azimba ebisenge bye ebya waggulu mu butali bwenkanya,Akozesa munne ku bwereere,Era agaana okumusasula empeera ye;+ 14  Oyo agamba nti, ‘Nja kwezimbira ennyumba enneneNg’erina ebisenge ebya waggulu ebigazi. Nja kugiwangamu amadirisaEra ngikubeko embaawo ez’entolokyo ngisiige langi emmyufu.’ 15  Oneeyongera okufuga olw’okuba osinga abalala okukozesa emiti gy’entolokyo? Kitaawo naye yalyanga era yanywanga,Naye yakolanga eby’obwenkanya n’eby’obutuukirivu,+Era ebintu byamugendera bulungi. 16  Yakola ku nsonga z’ababonyaabonyezebwa n’abaavu,Ebintu ne bigenda bulungi. ‘Ekyo si kye kitegeeza okummanya?’ Yakuwa bw’agamba. 17  ‘Naye amaaso go n’omutima gwo byemalidde ku kwefunira ebintu mu makubo amakyamu,Ku kuyiwa omusaayi ogutaliiko musangoNe ku kukumpanya n’okunyaga.’ 18  “Kale bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku kabaka wa Yuda Yekoyakimu,+ mutabani wa Yosiya,‘Tebajja kumukungubagira nga bagamba nti: “Woowe mwannyinaze! Woowe muganda wange!” Tebajja kumukungubagira nga bagamba nti: “Woowe mukama wange! Woowe ow’ekitiibwa!” 19  Bajja kumuziika ng’endogoyi bw’eziikibwa,+Bajja kumuwalula bamukasukeEbweru w’emiryango gya Yerusaalemi.’+ 20  Genda ku Lebanooni okaabe,Leekaanira mu Basani,Era kaabira mu Abalimu,+Kubanga baganzi bo bazikiriziddwa.+ 21  Bwe wali ng’owulira nti tewali kikweraliikiriza, nnayogera naawe. Naye wagamba nti, ‘Sijja kukugondera.’+ Bw’otyo bw’obadde okola okuva mu buvubuka bwo,Era togondedde ddoboozi lyange.+ 22  Omuyaga gujja kutwala abasumba bo bonna,+Era baganzi bo bonna bajja kuwambibwa,Olyoke oswale era ofeebezebwe olw’akabi akanaakutuukako. 23  Mmwe ababeera mu Lebanooni,+Abeeyagalira mu miti egy’entolokyo,+Nga mujja kusinda ng’obulumi bubajjidde,Okulumwa* ng’okw’omukazi azaala!”+ 24  “‘Nga bwe ndi omulamu,’ Yakuwa bw’agamba, ‘Koniya*+ kabaka wa Yuda, mutabani wa Yekoyakimu,+ ne bwe yandibadde nga ye mpeta eramba eri ku mukono gwange ogwa ddyo, nnandimunaanuddeko! 25  Nja kukuwaayo mu mukono gw’abo abaagala okukutta, ne mu mukono gw’abo b’otya, ne mu mukono gwa kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni, ne mu mukono gw’Abakaludaaya.+ 26  Ggwe ne nnyoko eyakuzaala nja kubakasuka mu nsi endala gye mutaazaalibwa, era mujja kufiira eyo. 27  Tebajja kudda mu nsi gye baagala ennyo.+ 28  Omusajja ono Koniya nsuwa emenyese enyoomebwa,Kibya ekitalina akyagala? Lwaki ye ne bazzukulu be bakasukibwaNe basuulibwa mu nsi gye batamanyi?’+ 29  Ggwe ensi, ensi, ensi, wulira ekigambo kya Yakuwa. 30  Bw’ati Yakuwa bw’agamba: ‘Muwandiike nti omusajja ono talina baana,Era nti tajja kutuuka ku buwanguzi mu bulamu bwe,*Kubanga tewali muzzukulu we n’omuAjja kutuula ku ntebe ya Dawudi era ajja kuddamu kufuga mu Yuda.’”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ajja kuwonawo.”
Oba, “omwana yenna enfuuzi.”
Obut., “kutukuza.”
Era ayitibwa Yekoyakazi.
Obut., “Ebisa.”
Era ayitibwa Yekoyakini oba Yekoniya.
Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.