Yeremiya 30:1-24
-
Ebisuubizo ebikwata ku kukomezebwawo n’okuwonyezebwa (1-24)
30 Awo Yakuwa n’agamba Yeremiya nti:
2 “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Wandiika mu kitabo byonna bye nkugamba.
3 Kubanga “laba! ennaku zijja,” Yakuwa bw’agamba, “lwe ndikuŋŋaanya abantu bange ab’omu Isirayiri ne Yuda abaawambibwa,”+ Yakuwa bw’agamba, “era ndibakomyawo mu nsi gye nnawa bajjajjaabwe, era eriddamu n’eba yaabwe.”’”+
4 Bino Yakuwa bye yagamba Isirayiri ne Yuda.
5 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Tuwulidde eddoboozi ly’abantu abajugumira;Waliwo entiisa, tewali mirembe.
6 Mubuuze obanga omusajja asobola okuzaala.
Kale lwaki ndaba nga buli musajja ow’amaanyi yeekutte ku lubuto*
Ng’omukazi azaala?+
Lwaki buli omu apeeruuse mu maaso?
7 Kya nnaku! Kubanga olunaku olwo lubi nnyo.*+
Tewali lulufaanana,Kiseera Yakobo ky’alabiramu ennaku.
Naye ajja kulokolebwa agiwone.”
8 “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Yakuwa ow’eggye, “ndimenya ekikoligo ne nkiggya ku nsingo zaabwe, era enkoba zaabwe ndizikutulamu, era abagwira tebaliddamu kubafuula baddu baabwe.*
9 Abantu bange baliweereza Yakuwa Katonda waabwe ne kabaka waabwe Dawudi gwe ndibateerawo.”+
10 “Era naawe omuweereza wange Yakobo, totya,” Yakuwa bw’agamba,“Era totekemuka ggwe Isirayiri.+
Kubanga nja kukulokola nkuggye ewalaEra n’abaana bo nja kubalokola mbaggye mu nsi gye baatwalibwa mu buwambe.+
Yakobo ajja kudda abe mu mirembe nga tewali kimutaataaganya,Nga tewali n’omu abatiisa.”+
11 “Kubanga ndi wamu naawe okukulokola,” Yakuwa bw’agamba.
Naye nja kuzikiriza amawanga gonna gye nnakusaasaanyiza;+Naye ggwe sijja kukuzikiriza.+
Nja kukukangavvula* ku kigero ekisaanira,Era siireme kukubonereza.”+
12 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Tewali kiyinza kuwonya kiwundu kyo.+
Ebbwa lyo si lya kuwona.
13 Tewali anaakuwolereza,Tewali ngeri ya kuwonya bbwa lyo.
Tewali ddagala lya kukuwonya.
14 Baganzi bo bonna bakwerabidde.+
Tebakyakunoonya.
Nkukubye ng’omulabe bw’akuba,+Nkubonerezza ng’omuntu omukambwe bw’abonereza,Olw’ensobi zo ez’amaanyi n’ebibi byo ebingi.+
15 Lwaki weemulugunya olw’ekiwundu kyo?
Obulumi bwo tebusobola kuggwaawo!
Kino nkikukoze
Olw’ensobi zo ez’amaanyi n’ebibi byo ebingi.+
16 Kale abo bonna abakukavvula bajja kukavvulwa,+Abalabe bo bonna bajja kugenda mu buwambe.+
Abo abakubba bajja kubbibwa,N’abo abakunyaga nja kubawaayo banyagibwe.”+
17 “Naye nja kukussuusa era mponye ebiwundu byo,”+ Yakuwa bw’agamba,“Wadde nga bakuyita eyaboolebwa:
‘Sayuuni, atalina amunoonya.’”+
18 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Laba ŋŋenda kukuŋŋaanya ab’omu weema za Yakobo abaawambibwa,+Era nja kusaasira weema ze.
Ekibuga kijja kuddamu kizimbibwe ku kasozi kaakyo,+Era olubiri lujja kubeera mu kifo kyalwo ekituufu.
19 Mu byo mujja kuwulirwamu amaloboozi g’abantu abaseka n’abeebaza.+
Nja kubaaza, era tebajja kuba batono;+Nja kubafuula bangi,*Era omuwendo gwabwe tegujja kuba mutono.+
20 Abaana be bajja kuba nga bwe baali edda,Era ekibiina kye kijja kunywezebwa mu maaso gange.+
Abo bonna abamubonyaabonya nja kubakolako.+
21 Owuwe ow’ekitiibwa ajja kuba omu ku babe,Era amufuga ajja kuva mu ye.
Nja kumukkiriza asembere, era ajja kuntuukirira.”
“Kubanga bwe kitandibadde kityo, ani eyandyetantadde* okuntuukirira?” Yakuwa bw’agamba.
22 “Mujja kuba bantu bange+ era nange nja kuba Katonda wammwe.”+
23 Laba! Embuyaga ya Yakuwa ejja kujja n’obusungu bungi,+Omuyaga ogw’amaanyi ogukuntira ku mitwe gy’ababi.
24 Obusungu bwa Yakuwa tebujja kukkakkanaOkutuusa lw’anaatuukiriza ebiruubirirwa by’omu mutima gwe.+
Mu nnaku ez’enkomerero kino mulikitegeera.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “mu kiwato.”
^ Obut., “lukulu.”
^ Oba, “kumufuula muddu waabwe.”
^ Oba, “kukugolola.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “ba kitiibwa.”