Yeremiya 33:1-26

  • Ekisuubizo ky’okuzzaawo ebintu nga bwe byali (1-13)

  • Emirembe wansi w’obufuzi ‘bw’omusika omutuukirivu’ (14-16)

  • Endagaano eyakolebwa ne Dawudi era ne bakabona (17-26)

    • Endagaano ekwata ku kiro n’emisana (20)

33  Yeremiya bwe yali ng’akyasibiddwa mu Luggya lw’Abakuumi,+ Yakuwa yayogera naye omulundi ogw’okubiri, n’amugamba nti:  “Bw’ati Yakuwa eyakola ensi bw’agamba, Yakuwa eyagikola n’aginyweza; Yakuwa lye linnya lye,  ‘Nkoowoola, nange nja kukwanukula nkubuulire ebikulu era ebitayinza kutegeerekeka, by’otomanyi.’”+  “Kubanga bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’ayogera ku nnyumba z’omu kibuga kino ne ku nnyumba za bakabaka ba Yuda ezaamenyebwa okwetaasa ekitala ky’omulabe n’ebifunvu bye,+  ne ku abo abajja okulwanyisa Abakaludaaya, okujjuza ennyumba zino emirambo gy’abo be nnatta nga ndiko obusungu n’ekiruyi; ebikolwa ebibi eby’abantu abo bye bindeetedde okwabulira ekibuga kino:  ‘Ekibuga kino ŋŋenda kukissuusa nkiwe obulamu obulungi,+ era nja kubawonya era mbawe emirembe mingi n’obukuumi.+  Nja kukomyawo ab’omu Yuda ne Isirayiri abaawambibwa,+ era nja kubazimba nga bwe nnakola mu kusooka.+  Nja kubanaazaako ebibi byonna bye bakoze mu maaso gange,+ era nja kubasonyiwa ebibi byonna n’ensobi ze bakoze mu maaso gange.+  Erinnya ly‘ekibuga kino lijja kundeetera okujaguza, era lijja kundeetera ettendo n’ekitiibwa mu maaso g’amawanga gonna ag’oku nsi aganaawulira ku birungi bye nnaabawa.+ Bajja kutya era bakankane+ olw’ebirungi byonna n’emirembe bye nnaakiwa.’”+ 10  “Bw’ati Yakuwa bw’agamba: ‘Mu kifo kino kye mulyogerako nti kyafuuka matongo, omutali muntu wadde ensolo, mu bibuga bya Yuda ne ku nguudo za Yerusaalemi ebyafuuka amatongo, omutali muntu wadde abakibeeramu wadde ensolo, nate muliwulirwamu 11  amaloboozi ag’okusanyuka n’okujaguza,+ n’amaloboozi g’omugole omusajja n’omugole omukazi, n’amaloboozi g’abantu abagamba nti: “Mwebaze Yakuwa ow’eggye, kubanga Yakuwa mulungi;+ okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe!”’+ “‘Balireeta ebiweebwayo eby’okwebaza mu nnyumba ya Yakuwa,+ kubanga ndikomyawo abaawambibwa mu nsi, nga bwe nnakola mu kusooka,’ Yakuwa bw’agamba.” 12  “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: ‘Mu kifo kino ekyafuuka amatongo, omutali muntu wadde ensolo, ne mu bibuga byakyo byonna, muliddamu okubaamu amalundiro abasumba mwe baligalamiza ebisibo byabwe.’+ 13  “‘Mu bibuga eby’omu kitundu eky’ensozi, mu bibuga eby’omu lusenyi, mu bibuga eby’omu bukiikaddyo, mu kitundu kya Benyamini, ne mu bifo ebyetoolodde Yerusaalemi,+ ne mu bibuga bya Yuda,+ abasumba baliddamu okubala endiga zaabwe,’ Yakuwa bw’agamba.” 14  “‘Laba! Ennaku zijja,’ Yakuwa bw’agamba, ‘lwe ndituukiriza ebirungi bye nnasuubiza ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda.+ 15  Mu nnaku ezo ne mu kiseera ekyo nditeerawo Dawudi omusika omutuukirivu,*+ alikola eby’obutuukirivu n’eby’obwenkanya mu nsi.+ 16  Mu nnaku ezo Yuda erirokolebwa,+ era ekibuga Yerusaalemi kiriba mu mirembe.+ Lino lye linnya lye kiriyitibwa: Yakuwa Bwe Butuukirivu Bwaffe.’”+ 17  “Kubanga bw’ati Yakuwa bw’agamba: ‘Tewaalemenga kubaawo musajja okuva mu lunyiriri lwa Dawudi atuula ku ntebe y’obwakabaka obw’ennyumba ya Isirayiri,+ 18  era tewaabulengawo kabona Muleevi ayimirira mu maaso gange okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, okwokya ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, n’okuwaayo ssaddaaka.’” 19  Yakuwa era n’agamba Yeremiya nti: 20  “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Bwe muba nga musobola okumenya endagaano yange ekwata ku budde obw’emisana n’endagaano yange ekwata ku budde obw’ekiro, emisana n’ekiro bireme okubeerawo mu kiseera kyabyo,+ 21  olwo endagaano gye nnakola n’omuweereza wange Dawudi esobola okumenyebwa,+ n’ataba na mwana afuga nga kabaka ku ntebe ye,+ era n’endagaano gye nnakola n’abaweereza bange bakabona Abaleevi esobola okumenyebwa.+ 22  Ng’eggye ery’oku ggulu bwe litayinza kubalibwa, era ng’omusenyu gw’ennyanja bwe gutayinza kupimibwa, bwe ntyo bwe ndyaza ezzadde lya Dawudi omuweereza wange, n’Abaleevi abampeereza.’” 23  Yakuwa era n’agamba Yeremiya nti: 24  “Tossizzaayo mwoyo ku ebyo abantu bano bye bagamba nti, ‘Yakuwa ajja kwesamba ennyumba ebbiri ze yalonda’? Banyooma abantu bange, era tebakyabatwala ng’eggwanga. 25  “Bw’ati Yakuwa bw’agamba: ‘Nga bwe nnakola endagaano yange ekwata ku budde obw’emisana n’obudde obw’ekiro,+ amateeka* ag’eggulu n’ensi,+ 26  siryesamba zzadde lya Yakobo n’ery’omuweereza wange Dawudi, ne nnema kuggya mu zzadde lye ab’okufuga bazzukulu* ba Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo. Nja kukuŋŋaanya abantu baabwe abaawambibwa mbakomyewo,+ era mbakwatirwe ekisa.’”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “mu birowoozo byange.”
Oba, “ndiroseza Dawudi ensibuka entuukirivu.”
Oba, “ebiragiro.”