Yeremiya 4:1-31

  • Okwenenya kuvaamu emikisa (1-4)

  • Akabi kajja kuva ebukiikakkono (5-18)

  • Obulumi Yeremiya bw’awulira olw’akabi akajja (19-31)

4  “Ggwe Isirayiri, bw’onookomawo gye ndi,” Yakuwa bw’agamba,“Bw’onookomawo gye ndiEra bw’onoggya mu maaso gange ebifaananyi byo ebyenyinyaza,Tojja kuba mmomboze.+   Bw’onoolayira nti,‘Nga Yakuwa bw’ali omulamu!’ mu mazima, n’obwenkanya, era n’obutuukirivu,Olwo nja* kuwa amawanga omukisa,Era mu nze mwe ganeenyumiririzanga.”+  Kubanga bw’ati Yakuwa bw’agamba Yerusaalemi n’abantu b’omu Yuda: “Mulime ettaka eritali ddime,Era temusiga nsigo zammwe mu maggwa.+   Mwekomole mu ngeri esanyusa Yakuwa,Mukomole emitima gyammwe,+Mmwe abantu b’omu Yuda n’ab’omu Yerusaalemi,Obusungu bwange buleme kubuubuuka ng’omuliroNe bwaka nga tewali abuzikiza,Olw’ebikolwa byammwe ebibi.”+   Mukirangirire mu Yuda, era mukibuulire mu Yerusaalemi. Muleekaanire waggulu era mufuuwe eŋŋombe mu ggwanga lyonna.+ Mukoowoolere waggulu nti: “Mukuŋŋaane,Tuddukire mu bibuga ebiriko bbugwe.+   Muwanike akabonero* akalaga ekkubo erigenda mu Sayuuni. Munoonye aw’okwewogoma, era temuyimirira buyimirizi,” Kubanga ndeeta akabi okuva ebukiikakkono,+ akatyabaga ak’amaanyi.   Omulabe avuddeyo ng’empologoma bw’eva mu kisaka kyayo;+Omuzikiriza w’amawanga asimbudde.+ Avudde ewuwe afuule ensi yo ekifo eky’entiisa. Ebibuga byo bijja kufuuka matongo, bireme kusigalamu muntu.+   Kale mwambale ebibukutu,+Mukungubage* era mukube ebiwoobe,Kubanga obusungu bwa Yakuwa tebutuvuddeeko.   “Ku lunaku olwo,” Yakuwa bw’agamba, “kabaka n’abaami,Baliggwaamu amaanyi;*+Bakabona balifuna entiisa, ne bannabbi balyewuunya.”+ 10  Awo ne ŋŋamba nti: “Ai Yakuwa, Mukama Afuga Byonna! Mazima olimbidde ddala Yerusaalemi n’abantu bano,+ ng’obagamba nti, ‘Mujja kuba n’emirembe,’+ so ng’ate ekitala kibali mu bulago.” 11  Mu kiseera ekyo baligamba Yerusaalemi n’eggwanga lino nti: “Embuyaga eyokya eva ku busozi obw’omu ddungu obutaliiko bimeraEryolekera omuwala w’abantu bange;Terijja kuwewa wadde okulongoosa. 12  Embuyaga ey’amaanyi eva mu bifo ebyo nga ngiragidde. Kaakano ŋŋenda kulangirira emisango gye mbasalidde. 13  Laba! Omulabe alijja ng’ebire by’enkuba,Amagaali ge galinga embuyaga.+ Embalaasi ze zidduka embiro okusinga empungu.+ Zitusanze, kubanga tuzikiriziddwa! 14  Ggwe Yerusaalemi, naaza omutima gwo guggweemu ebintu ebibi, osobole okulokolebwa.+ Onootuusa wa okubaamu ebirowoozo ebibi? 15  Eddoboozi lirangirira amawulire nga liyima mu Ddaani,+Era lirangirira akabi nga liyima mu nsozi za Efulayimu. 16  Mukitegeeze amawanga;Mukirangirire eri Yerusaalemi.” “Abakessi* bajja nga bava mu nsi ey’ewala,Era bajja kulaya enduulu z’olutalo eri ebibuga bya Yuda. 17  Balumba ekibuga Yerusaalemi ku njuyi zonna ng’abakuumi abakuuma ku ttale,+Olw’okuba kinjeemedde,”+ Yakuwa bw’agamba. 18  “Ojja kusasulwa olw’amakubo go n’ebikolwa byo. Akabi kajja kukutuukako,+ era kajja kuba ka maanyi;Kubanga obujeemu bwo busensedde omutima gwo!” 19  Nga ndi munakuwavu nnyo,* nga ndi munakuwavu nnyo! Mpulira obulumi obw’amaanyi mu mutima gwange.* Omutima gunkuba. Sisobola kusirika,Kubanga mpulidde eŋŋombe evuga,Mpulidde enduulu z’olutalo.*+ 20  Emitawaana egy’omuddiriŋŋanwa gyogeddwako,Kubanga ensi yonna ezikiriziddwa. Weema zange zizikiriziddwa mbagirawo,Mu kaseera katono emitanda gya weema zange gizikiriziddwa.+ 21  Nnaatuusa wa okulaba akabonero,*Nnaatuusa wa okuwulira eŋŋombe ng’evuga?+ 22  “Kubanga abantu bange tebalina magezi;+Tebanzisaako mwoyo. Baana basirusiru, tebalina kutegeera. Bagezi* bwe kituuka ku kukola ebibi,Naye tebamanyi kukola birungi.” 23  Nnatunuulira ensi, era laba! yali njereere era nga matongo.+ Nnatunuulira eggulu, era laba! ekitangaala kyalyo kyali tekikyaliwo.+ 24  Nnatunuulira ensozi, era laba! zaali zikankana,N’obusozi bwali buyuuguuma.+ 25  Nnatunula, era laba, tewaali muntu n’omu,N’ebinyonyi byonna eby’omu bbanga byali bibuuse nga bigenze.+ 26  Nnatunula, era laba! ensi engimu yali efuuse ddungu,Era ebibuga byamu byali bizikiriziddwa.+ Ekyo Yakuwa yakikola,Olw’okuba yali asunguwadde nnyo. 27  Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Ensi yonna ejja kufuuka matongo,+Naye sijja kuzikiririza ddala. 28  Olw’ensonga eyo ensi kyeriva ekungubaga,+N’eggulu ne likwata ekizikiza.+ Olw’okuba njogedde, nsazeewo,Sirikyusa birowoozo,* era sirikivaako.+ 29  Oluwulira omusinde gw’abeebagazi b’embalaasi n’abalasi b’obusaale,Abantu b’omu kibuga bonna nga badduka.+ Nga beefubitika mu bisaka,Nga balinnya enjazi.+ Ebibuga byonna birekeddwa awo,Tewali abibeeramu.” 30  Kaakano nga bw’oyonooneddwa, onookola ki? Wayambalanga engoye emmyufu,Ne weetonaatona amajolobero aga zzaabu,Wasiiganga ku maaso go langi enzirugavu okugalungiya. Naye weelungiyizanga bwereere,+Kubanga abaali bakwegomba bakwesambye;Kati baagala kukutta.+ 31  Mpulidde okusinda kw’omukazi ali mu bulumi,Mpulidde okukaaba okulinga okw’omukazi azaala omwana we asooka,Mpulidde omuwala wa Sayuuni ng’aweekeera. Ayanjala engalo ze nga bw’agamba nti:+ “Zinsanze nze, kubanga nkooye nnyo olw’abassi!”

Obugambo Obuli Wansi

Wano boogera ku Yakuwa.
Oba, “ekikondo.”
Oba, “Mukube ebifuba byammwe.”
Obut., “omutima.”
Oba, “Abatunuulizi; Abakuumi.”
Obut., “Ebyenda byange.”
Obut., “mu bisenge by’omutima gwange.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “oluyoogaano lw’olutalo.”
Oba, “ekikondo.”
Oba, “Ba magezi.”
Oba, “Siryejjusa.”