Yeremiya 49:1-39

  • Obunnabbi obukwata ku Amoni (1-6)

  • Obunnabbi obukwata ku Edomu (7-22)

    • Eggwanga lya Edomu lijja kusaanawo (17, 18)

  • Obunnabbi obukwata ku Ddamasiko (23-27)

  • Obunnabbi obukwata ku Kedali ne Kazoli (28-33)

  • Obunnabbi obukwata ku Eramu (34-39)

49  Bw’ati Yakuwa bw’agamba Abaamoni:+ “Isirayiri talina baana? Talina musika? Lwaki abasinza Malukamu+ batutte ekitundu kya Gaadi?+ Era lwaki abantu be babeera mu bibuga bya Isirayiri?”   “‘Kale laba! ennaku zijja’ Yakuwa bw’agamba,‘Lwe ndireetera Labba+ eky’Abaamoni+ okukubirwa enduulu z’olutalo. Kirifuuka entuumu y’ebifunfugu,Obubuga obukyetoolodde bulikumibwako omuliro.’ ‘Era Isirayiri alitwala ensi y’abo abaatwala ensi ye,’+ Yakuwa bw’agamba.   ‘Kuba ebiwoobe, ggwe Kesuboni, kubanga Ayi kizikiriziddwa! Mukaabe, mmwe obubuga obwetoolodde Labba. Mwambale ebibukutu. Mukube ebiwoobe mudduke nga mudda eno n’eri mu biyumba by’ensolo eby’amayinja,*Kubanga Malukamu ajja kugenda mu buwaŋŋanguse,Awamu ne bakabona be n’abaami be.+   Lwaki weewaana olw’ebiwonvu,Lwaki weewaana olw’olusenyi lwo omukulukutira amazzi, ggwe omuwala atali mwesigwa,Eyeesiga eby’obugagga byeEra agamba nti: “Ani anannumba?”’”   “‘Laba nkuleetako ekintu eky’entiisa,’ bw’ayogera Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye,‘Okuva eri abo bonna abakwetoolodde. Ojja kusaasaanyizibwa ku njuyi zonna,Era tewali ajja kukuŋŋaanya abo abadduka.’”   “‘Naye oluvannyuma nja kukuŋŋaanya Abaamoni abaawambibwa,’ Yakuwa bw’agamba.”  Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba Edomu: “Tekyali magezi mu Temani?+ Abategeevu tebakyawa magezi malungi? Amagezi gaabwe gavunze?   Mudduke, mukyuke! Mugende mu biwonvu mwekweke mmwe ababeera mu Dedani!+ Kubanga nja kuleeta akabi ku EsawuEkiseera eky’okumubonereza bwe kinaatuuka.   Singa abanoga ezzabbibu bajja mu nnimiro yo,Tebandireseeko ebibala by’ezzabbibu abalala bye basobola okutwala? Ababbi bwe bajja ekiro,Banyaga ebyo byokka bye baagala.+ 10  Naye Esawu nja kumuggyako byonna by’alina. Nja kubikkula ebifo mwe yeekweka,Abe nga takyasobola kwekweka. Abaana be, baganda be, ne baliraanwa be bajja kuzikirizibwa,+Era ajja kuba takyaliwo.+ 11  Abaana bo abatalina bakitaabwe baleke,Nja kubaleka nga balamu,Era bannamwandu bo bajja kunneesiga.” 12  Kubanga bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Laba! Bwe kiba nti abo abaali bataweereddwa kibonerezo kya kunywa ku kikopo bateekwa okunywa ku kikopo ekyo, olwo mmwe muyinza obutabonerezebwa? Mujja kubonerezebwa, kubanga mujja kukinywako.”+ 13  “Ndayira,” Yakuwa bw’agamba, “nti Bozula kijja kufuuka ekintu eky’entiisa,+ ekivume, amatongo, era ekikolimo; ebibuga byakyo byonna bijja kufuuka matongo ag’olubeerera.”+ 14  Mpulidde obubaka obuva eri Yakuwa,Omubaka atumiddwa mu mawanga ng’agamba nti: “Mwekuŋŋaanye mukirumbe;Mweteekereteekere olutalo.”+ 15  “Kubanga laba! nkufudde owa wansi mu mawanga,Anyoomebwa mu bantu.+ 16  Entiisa gye waleetera abalala,N’okwetulinkiriza kw’omutima gwo bikulimbye,Ggwe abeera mu kiddukiro eky’omu lwazi,Ali ku kasozi akasingayo obuwanvu. Wadde wazimba ekisu kyo waggulu ng’empungu,Nja kukuwanulayo,” Yakuwa bw’agamba. 17  “Edomu ajja kufuuka ekintu eky’entiisa.+ Buli anaayitanga w’ali anaatunulanga n’atya n’afuuwa oluwa olw’ebibonyoobonyo bye byonna. 18  Nga bwe kyali oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwa Sodomu ne Ggomola n’obubuga obwali bukiriraanye,+ bwe kinaaba ne ku luno,” Yakuwa bw’agamba, “tewali muntu anaabeeranga mu Edomu, era tewali anaasengamu.+ 19  “Laba! Ng’empologoma+ bw’eva mu bisaka ebiziyivu ebiri ku lubalama lwa Yoludaani, waliwo ajja okujja alumbe amalundiro amatebenkevu ag’omu Edomu, naye mu kaseera katono nja kumuleetera okumuddukamu. Era omulonde gwe nja okuwa obuyinza okumufuga. Kubanga ani alinga nze, era ani ananneesimbamu? Musumba ki ayinza okuyimirira mu maaso gange?+ 20  N’olwekyo mmwe abasajja muwulire Yakuwa ky’asazeewo okukola Edomu ne ky’alowooza okukola abo ababeera mu Temani:+ Mazima ddala obuliga obuto obw’omu kisibo bujja kutwalibwa. Ebifo bye bubeeramu ajja kubifuula matongo olw’okubeera bo.+ 21  Bwe beggunda wansi, ensi yonna ekankana. Wabaawo okukaaba! Kuwulirwa okutuuka ku Nnyanja Emmyufu.+ 22  Laba! Okufaananako empungu, ajja kwambuka ate akke okukwata omuyiggo,+Era ajja kwanjuluza ebiwaawaatiro bye ku Bozula.+ Ku lunaku olwo omutima gw’abalwanyi b’omu EdomuGujja kubeera ng’ogw’omukazi azaala.” 23  Obubaka eri Ddamasiko:+ “Kamasi+ ne Alupadi biswaziddwa,Kubanga bawulidde amawulire amabi. Emitima gyabwe gisaanuuka olw’okutya. Balinga ennyanja esiikuuse etayinza kukkakkana. 24  Ddamasiko amaanyi gamuwedde. Akyuse adduke, naye n’atya. Afunye ennaku n’obulumi,Ng’omukazi azaala. 25  Lwaki ekibuga eky’ekitiibwa, ekibuga eky’essanyu,Tekyabuliddwa? 26  Abavubuka baakyo baligwa mu bibangirizi byakyo ebya lukale,Era abalwanyi bonna balisaanawo ku lunaku olwo,” bw’ayogera Yakuwa ow’eggye. 27  “Nja kukuma omuliro ku bbugwe wa Ddamasiko,Era gujja kwokya embiri za Beni-kadadi.”+ 28  Bw’ati Yakuwa bw’agamba Kedali+ n’obwakabaka bwa Kazoli, Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni bye yalwanyisa n’awangula: “Muyimuke mugende e Kedali,Muzikirize abaana ab’Ebuvanjuba. 29  Weema zaabwe n’ebisibo byabwe bijja kutwalibwa,N’entimbe za weema n’ebintu byabwe byonna. Eŋŋamira zaabwe zijja kutwalibwa,Abantu bajja kubagamba nti, ‘Entiisa eri buli wamu!’” 30  “Mudduke, mugende wala! Mugende mu biwonvu mwekweke mmwe ababeera mu Kazoli,” Yakuwa bw’agamba. “Kubanga Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni abasalidde olukwe,Era ateeseteese okubatuusaako akabi.” 31  “Musituke mugende mulumbe eggwanga eriri mu mirembe,Eritebenkedde!” Yakuwa bw’agamba. “Teririna nzigi wadde ebisiba; babeera bokka. 32  Eŋŋamira zaabwe zijja kunyagibwa,N’ebisolo byabwe ebingi bijja kunyagibwa. Abo abasalako kakoba waabwe,+Nja kubasaasaanya eri buli mpewo,*Nja kubaleetako akabi nga kava ku buli luuyi,” Yakuwa bw’agamba. 33  “Kazoli kijja kufuuka ekisulo ky’ebibe,Amatongo ag’olubeerera. Tewali muntu anaakibeerangamu,Era tewali anaakisengamu.” 34  Bino bye bigambo Yakuwa bye yagamba nnabbi Yeremiya ebikwata ku Eramu+ ku ntandikwa y’obufuzi bwa Kabaka Zeddeekiya+ owa Yuda: 35  “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Laba mmenya omutego gwa Eramu+ ogw’obusaale, ensibuko* y’amaanyi gaabwe. 36  Nja kuleeta ku Eramu empewo ennya okuva ku nsonda ennya ez’eggulu, era nja kubasaasaanya eri empewo ezo zonna. Tewali ggwanga abo ab’omu Eramu abaasaasaanyizibwa gye bataligenda.’” 37  “Nja kumenyaamenya Abeeramu mu maaso g’abalabe baabwe ne mu maaso g’abo abaagala okubatta; nja kubatuusaako akabi, obusungu bwange obubuubuuka,” Yakuwa bw’agamba. “Nja kubasindikira ekitala kibagoberere okutuusa lwe nnaabasaanyaawo.” 38  “Nja kuteeka entebe yange ey’obwakabaka mu Eramu,+ era nja kuzikiririza eyo kabaka n’abaami,” Yakuwa bw’agamba. 39  “Naye mu nnaku ez’enkomerero, ndikuŋŋaanya abo Abeeramu abaawambibwa,” Yakuwa bw’agamba.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ebiyumba by’endiga.”
Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.
Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.
Oba, “ku buli luuyi.”
Obut., “entandikwa.”