Yeremiya 6:1-30

  • Okuzingizibwa kwa Yerusaalemi kuli kumpi (1-9)

  • Yakuwa asunguwalidde Yerusaalemi (10-21)

    • Bagamba nti ‘Mirembe!’ ng’ate tewali mirembe (14)

  • Okulumbibwa abava ebukiikakkono (22-26)

  • Yeremiya wa kuba ng’oyo aggya amasengere mu byuma (27-30)

6  Mmwe abaana ba Benyamini, muve mu Yerusaalemi mufune we mwewogoma. Mufuuwe eŋŋombe+ mu Tekowa;+Mukume omuliro gube akabonero mu Besu-kakkeremu! Kubanga akabi akava ebukiikakkono kanaatera okutuuka, akatyabaga ak’amaanyi.+   Omuwala wa Sayuuni alinga omukazi alabika obulungi era eyeekanasa.+   Abasumba bajja kujja n’ebisibo byabwe. Bajja kusimba weema zaabwe okumwetooloola,+Buli omu ng’alunda endiga z’alabirira.+   “Mweteeketeeke* okumulwanyisa! Muyimuke tumulumbe mu ttuntu!” “Zitusanze, kubanga obudde bunaatera okuziba,Kubanga ebisiikirize eby’akawungeezi bigenda biwanvuwa!”   “Muyimuke tumulumbe ekiroTuzikirize eminaala gye.”+   Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Muteme emiti era mukole ekifunvu okulwanyisa Yerusaalemi.+ Kye kibuga ekirina okubonerezebwa;Mu kyo mulimu kubonyaabonya kwokka.+   Ng’oluzzi bwe lusibukamu amazzi agannyogoga,*N’ekibuga kino ye nsibuko y’ebikolwa ebibi. Ebikolwa eby’obukambwe n’okuzikiriza biwulirwa mu kyo;+Endwadde n’ebizibu biba mu maaso gange buli kiseera.   Ggwe Yerusaalemi, labuka nneme okukwetamwa ne nkuvaako;+Nja kukufuula matongo, ensi etaliimu bantu.”+   Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Abayisirayiri abasigaddewo balinga ebibala ebisembayo ku muzabbibu. Bakuŋŋaanye wamu ng’omuntu bwakuŋŋaanyiza mu kibbo ebibala by’ezzabbibu ebisembayo.” 10  “Ani gwe nnaayogera naye era ggwe nnaalabula? Ani anaawuliriza? Laba! Amatu gaabwe maggale,* ne kiba nti tebasobola kuwulira.+ Laba! Ekigambo kya Yakuwa kifuuse ekintu kye banyooma;+Tebakisanyukira. 11  Kyenvudde nzijula obusungu bwa Yakuwa,Era nkooye okubuzibiikiriza.”+ “Bufuke ku mwana ali mu luguudo,+Buyiwe ku bibinja by’abavubuka abakuŋŋaanye awamu. Bonna bajja kuwambibwa, omusajja ne mukyala we,Abasajja abakaddiye awamu n’abasajja abazeeyuse.+ 12  Ennyumba zaabwe ziriweebwa abantu abalala,Awamu n’ebibanja byabwe ne bakazi baabwe.+ Kubanga ndigolola omukono gwange ne mbonereza abantu b’omu nsi eno,” Yakuwa bw’agamba. 13  “Bonna, okuva ku asembayo okuba owa wansi okutuuka ku asinga okuba ow’ekitiibwa, beefunira ebintu mu makubo amakyamu;+Bannabbi ne bakabona bonna si ba mazima.+ 14  Abantu bange abalina obuvune babawonya kungulu kwokka nga bagamba nti,‘Waliwo emirembe! Waliwo emirembe!’ So ng’ate tewali mirembe.+ 15  Bakwatibwa ensonyi olw’ebintu eby’omuzizo bye bakoze? Tebakwatibwa nsonyi n’akamu! Tebamanyi na kiyitibwa kuswala!+ Kyebaliva bagwa mu abo abagudde. Bwe ndibabonereza balyesittala,” Yakuwa bw’agamba. 16  Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Muyimirire mu masaŋŋanzira mulabe. Mubuuze ebikwata ku makubo ag’edda,Mubuuze ekkubo eddungi gye liri, mulitambuliremu,+Mufune ekiwummulo.” Naye abantu bo bagamba nti: “Tetujja kulitambuliramu.”+ 17  “Nnateekawo abakuumi+ abaagamba nti,‘Muwulirize eddoboozi ly’eŋŋombe!’”+ Naye bo ne bagamba nti: “Tetujja kuliwuliriza.”+ 18  “Kale muwulirize mmwe amawanga! Era mumanye mmwe abantu,Ekinaatuuka ku bantu abo. 19  Wuliriza ggwe ensi! Ŋŋenda kuleeta akabi ku ggwanga lino+Olw’enkwe zaabwe,Kubanga tebaawuliriza bigambo byangeEra beesamba amateeka gange.”* 20  “Kingasa ki mmwe okuleeta obubaani obweru obuva e SebaNe kaane ow’akaloosa* okuva mu nsi ey’ewala? Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa tebikkirizibwa,Ne ssaddaaka zammwe tezinsanyusa.”+ 21  Kale bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Ŋŋenda kuteerawo abantu bano enkonge,Era bajja kuzeesittalako,Bataata awamu n’abaana,Buli muntu ne munne,Era bonna bajja kusaanawo.”+ 22  Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Laba! Abantu bajja nga bava mu nsi ey’ebukiikakkono,Eggwanga ery’amaanyi lijja kuyimuka live mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.+ 23  Bajja kukwata omutego gw’obusaale n’effumu. Bakambwe era tebajja kusaasira. Eddoboozi lyabwe lijja kuyira ng’ennyanja,Era beebagadde embalaasi.+ Basimba ennyiriri ng’omusajja omulwanyi, okukulwanyisa ggwe omuwala wa Sayuuni.” 24  Tuwulidde amawulire agakwata ku bintu ebyo. Emikono gyaffe ginafuye;+Tunakuwadde,Tulumwa* ng’omukazi azaala.+ 25  Tofuluma kugenda ku ttale,Era totambulira ku luguudo,Kubanga omulabe alina ekitala;Entiisa eri buli wamu. 26  Ggwe omuwala w’abantu bange,Yambala ebibukutu+ era wevulunge mu vvu. Kungubaga ng’akungubagira omwana wo omu yekka, ng’okuba ebiwoobe,+Kubanga azikiriza ajja kutugwaako bugwi.+ 27  “Mu bantu bange nkufudde* ng’oyo aggya amasengere mu byuma,Nkufudde oyo anoonyereza n’obwegendereza;Weetegereze era wekkaanye ekkubo lyabwe. 28  Bonna bantu bakakanyavu nnyo,+Bagenda bawaayiriza.+ Balinga ekikomo n’ekyuma;Bonna boonoonefu. 29  Emivubo gyokeddwa omuliro. Mu muliro muvaamu erisasi. Oyo afuba okulongoosa ateganira bwereere,+Era ababi tebaggiddwamu.+ 30  Abantu bajja kubayita masengere ga ffeeza,Kubanga Yakuwa abeesambye.”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Mwetukuze.”
Oba, “amalungi.”
Obut., “Okutu kwabwe si kukomole.”
Oba, “obulagirizi bwange.”
Ekika ky’olumuli oluwunya akawoowo.
Obut., “Tulumwa ebisa.”
Wano boogera ku Yeremiya.