Yeremiya 9:1-26

  • Ennaku ya Yeremiya (1-3a)

  • Yakuwa ayanika ebibi bya Yuda (3b-16)

  • Okukungubagira Yuda (17-22)

  • Okwenyumiriza olw’okumanya Yakuwa (23-26)

9  Singa omutwe gwange gubadde mazzi,Nga n’amaaso gange nsulo y’amaziga!+ Abantu bange abattiddwaNnandibakaabidde emisana n’ekiro.   Singa mbadde n’ekisulo ky’abatambuze mu ddungu! Nnandivudde mu bantu bange ne ŋŋenda,Kubanga bonna benzi,+Era kibiina ky’abantu ab’enkwe.   Baweta olulimi lwabwe ng’omutego gw’obusaale;Obulimba bwe bujjudde mu nsi, so si bwesigwa.+ “Beeyongera bweyongenzi kuba babi,Era tebanfaako,”+ Yakuwa bw’agamba.   “Buli omu ku mmwe yeekuume munne,Era temwesiganga wa luganda yenna. Ab’oluganda bonna ba nkwe,+Era buli muntu awaayiriza munne.+   Buli muntu si mwesigwa eri munne,Era tewali ayogera mazima. Bayigirizza olulimi lwabwe okwogera obulimba.+ Beekooya nga bakola ebikyamu.   Obeera n’abantu abalimba. Balimba, era bagaanye okummanya,” Yakuwa bw’agamba.   Kale bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Nja kubasaanuusa, mbalongoose,+Ate kiki ekirala kye nnandikoledde muwala w’abantu bange?   Olulimi lwabwe kasaale ak’obulabe, akoogera eby’obulimba. Omuntu ayogera ne munne mu ngeri ya mirembe,Naye nga mu mutima gwe amuteeze.”   “Sisaanidde kubabonereza olw’ebintu ebyo?” Yakuwa bw’agamba. “Sisaanidde kuwoolera ggwanga ku ggwanga ng’eryo?+ 10  Nja kukaabira ensozi era nzikubire ebiwoobeNja kuyimbira amalundiro ag’omu ddungu oluyimba olw’okukungubaga,Kubanga byokeddwa omuliro ne kiba nti tewali muntu abiyitamu,Era ebisolo ebirundibwa tebikyawulirwayo. Ebinyonyi ebibuuka mu bbanga n’ensolo bidduse; bigenze.+ 11  Nja kufuula Yerusaalemi entuumu z’amayinja,+ era ekisulo ky’ebibe,+Era ebibuga bya Yuda nja kubifuula matongo, nga tewakyali abibeeramu.+ 12  Ani alina amagezi okusobola okutegeera kino? Ani Yakuwa gw’ayogedde naye, alyoke akirangirire? Lwaki ensi ezikiridde? Lwaki ekaze ng’eddungu,N’eba nga tewali agiyitamu?” 13  Yakuwa yaddamu nti: “Olw’okuba bavudde ku mateeka gange ge* nnateeka mu maaso gaabwe, era olw’okuba tebagagoberedde era tebagondedde ddoboozi lyange. 14  Naye baagugubira ku ebyo emitima gyabwe bye gyagala,+ era baagoberera ebifaananyi bya Bbaali, nga bakitaabwe bwe baabayigiriza okukola.+ 15  Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, kyava agamba nti, ‘Laba, ŋŋenda kuliisa abantu bano omususa, era nja kubanywesa amazzi agalimu obutwa.+ 16  Nja kubasaasaanyiza mu mawanga bo ne bakitaabwe ge bataamanya,+ era nja kubasindikira ekitala kibagoberere okutuusa lwe nnaabasaanyaawo.’+ 17  Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba,‘Mufumiitirize ku biriwo. Muyite abakazi abayimba ennyimba ez’okukungubaga,+Era mutumye abakazi abakungubazi bajje, 18  Banguwe batukungubagire,Amaaso gaffe gakulukute amazigaEra ebikowe byaffe bitiiriike amazzi.+ 19  Eddoboozi ly’okukungubaga liwuliddwa mu Sayuuni:+ “Tusaanyiziddwawo! Nga tuswadde nnyo! Kubanga tuvudde mu nsi, era bamenyeemenye ennyumba zaffe.”+ 20  Mmwe abakazi muwulire ekigambo kya Yakuwa. Mukkirize ky’agamba. Muyigirize bawala bammwe okukungubaga okw’engeri eno,Era buli omu ayigirize munne oluyimba luno olw’okukungubaga.+ 21  Kubanga okufa kuyitidde mu madirisa gaffe ne kuyingira;Kuyingidde mu minaala gyaffeKuggye abaana ku nguudoN’abavubuka mu bibangirizi ebya lukale.’+ 22  Gamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Emirambo gy’abantu girigwa ng’obusa ku ttale,Ng’ebinywa by’ebirime eby’empeke omukunguzi bye yaakatema,Ne wataba abikuŋŋaanya.”’”+ 23  Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Omuntu ow’amagezi aleme okwenyumiriza olw’amagezi ge;+Omuntu ow’amaanyi aleme okwenyumiriza olw’amaanyi ge;N’omugagga aleme okwenyumiriza olw’obugagga bwe.”+ 24  “Naye oyo eyeenyumiriza yeenyumirize olw’okuba,Alina amagezi era ammanyi,+Nti nze Yakuwa, alaga okwagala okutajjulukuka, obwenkanya, n’obutuukirivu mu nsi,+Kubanga ebintu bino binsanyusa,”+ Yakuwa bw’agamba. 25  Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Laba! Ekiseera kijja kutuuka mbonereze abakomole naye nga si bakomolere ddala,+ 26  Misiri,+ ne Yuda,+ ne Edomu,+ n’Abaamoni,+ ne Mowaabu,+ n’abo bonna abasalako kakoba waabwe, ababeera mu ddungu;+ kubanga amawanga gonna si makomole, era ab’ennyumba ya Isirayiri bonna emitima gyabwe si mikomole.”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “bulagirizi bwange.”