Yobu 11:1-20

  • Okwogera kwa Zofali okusooka (1-20)

    • Agamba nti Yobu by’ayogera tebiriimu nsa (2, 3)

    • Agamba Yobu okulekera awo okukola ebibi (14)

11  Awo Zofali+ Omunaamasi n’addamu nti:   “Ebigambo ebyo byonna tebigwanidde kuddibwamu? Oba okwogera ennyo kwe kuleetera omuntu okuba omutuufu?*   Ebigambo byo ebitaliimu nsa binaasirisa abantu? Bw’okudaala bw’otyo wanaabulawo omuntu yenna akunenya?+   Ogamba nti, ‘Bye njigiriza bituufu,+Era ndi mulongoofu mu maaso go.’+   Naye singa Katonda ayasamya akamwa keN’ayogera naawe!+   Yandikubuulidde ebyama ebikufuula ow’amagezi,Kubanga amagezi geeyoleka mu ngeri nnyingi. Era wanditegedde nti Katonda tayagala na kujjukira ezimu ku nsobi zo.   Osobola okuzuula ebintu bya Katonda eby’ebuziba,Oba okuzuula byonna ebikwata ku Muyinza w’Ebintu Byonna?   Amagezi gasinga eggulu obugulumivu. Kiki ky’oyinza okukola? Gasinga amagombe* obuwanvu. Kiki ky’oyinza okumanya?   Gasinga ensi obuneneEra gasinga ennyanja obugazi. 10  Bw’ajja n’akwata omuntu n’amutwala mu kkooti,Ani ayinza okumuziyiza? 11  Kubanga amanya abantu we babeerera abalimba. Bw’alaba ebibi, anaabibuusa amaaso? 12  Endogoyi ey’omu nsiko erimala kuzaala muntu,Omuntu omusirusiru n’alyoka ategeera. 13  Teekateeka omutima gwoEra ogolole emikono gyo gy’ali. 14  Omukono gwo bwe guba nga gukola ebikyamu, guteeke wala,Era tokkiriza butali butuukirivu kubeera mu weema zo. 15  Olwo nno lw’onooyimusa omutwe gwo nga toliiko kikyamu kyonna;N’oyimirira ng’oli munywevu, nga tolina ky’otya. 16  Era ojja kwerabira ennaku yo;Ojja kugyerabira ebe ng’amazzi agakulukuse ne gakuyitako. 17  Obulamu bwo bujja kuba butangaavu okusinga obudde obw’omu ttuntu,N’ekizikiza kyabwo kijja kuba ng’obudde obw’oku makya. 18  Ojja kuba mugumu olw’okuba eriyo essuubi,Era ojja kutunulatunula ogalamire nga tewali ky’otya. 19  Ojja kugalamira nga tewali akutiisa,Era abantu bangi bajja kwagala obalage ekisa. 20  Naye amaaso g’ababi gajja kuziba;Era bajja kubulwa obuddukiro,Okufa kwe kujja okuba essuubi lyabwe.”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “oyo eyeewaana anaaba mutuufu?”
Laba Awanny.