Yobu 19:1-29
19 Awo Yobu n’addamu nti:
2 “Munaatuusa wa okunnyiiza,+Nga mummenyaamenya n’ebigambo byammwe?+
3 Munnenyezza* emirundi kkumi;Temukwatiddwa nsonyi kumpisa bubi bwe muti.+
4 Bwe mba nga nnakola ensobi,Ensobi eyo eba yange.
5 Bwe mweyongera okunneekulumbalizaako,Nga mugamba nti ekivume ekindiko kiŋŋwanidde,
6 Mumanye nga Katonda y’ampabizza,N’ankwasiza mu kitimba kye.
7 Laba! Bwe ndeekaana nti, ‘Ettemu!’ tewaba anziramu;+Nkoowoola bannyambe, naye tewali bwenkanya.+
8 Ekkubo lyange alizibye n’ekisenge ky’amayinja, era sirina we mpita;Amakubo gange agataddemu ekizikiza.+
9 Anzigyeeko ekitiibwa kyange,Era aggye engule ku mutwe gwange.
10 Ammenyaamenya enjuyi zonna okutuusa lwe nsaanawo;Essuubi lyange alisiguukuludde ng’omuti.
11 Obusungu bwe bumbuubuukira,Era antwala ng’omulabe we.+
12 Eggye lye lijja ne linzingiza,Lisiisira okwetooloola weema yange.
13 Angobyeeko baganda bange,N’abo abammanyi banjabulidde.+
14 Mikwano gyange egy’oku lusegere* gigenze,N’abo be nnali mmanyi obulungi banneerabidde.+
15 Abo be nnakyazanga mu maka gange+ n’abazaana bange bantwala ng’omuntu gwe batamanyi;Ndi mugwira gye bali.
16 Mpita omuddu wange, naye tannyanukula;Mmwegayirira ankwatirwe ekisa.
17 Mukyala wange anneenyinyala olw’omukka oguva mu kamwa kange,+Era mpunyirira baganda bange.*
18 N’abaana abato bannyooma;Bwe nsituka, bansekerera.
19 Mikwano gyange gyonna egy’oku lusegere ginkyaye,+N’abo be nnayagalanga banneefuulidde.+
20 Nzenna nkozze nsigadde magumba meereere,+Era mponera watono okufa.
21 Munsaasire, munsaasire mikwano gyange,Kubanga Katonda ankubye.+
22 Lwaki munjigganya nga Katonda bw’anjigganya,+Ne munnumba olutatadde?+
23 Kale singa ebigambo byange biwandiikiddwa,Singa biwandiikiddwa mu kitabo!
24 Kale singa byoleddwa ku lwazi,N’ekkalaamu ey’ekyuma n’erisasi ne bibeera okwo emirembe n’emirembe!
25 Kubanga nkimanyi nti omununuzi wange+ mulamu;Alijja n’ayimirira ku nsi.*
26 Wadde ng’olususu lwange lwonooneddwa bwe luti,Ndiraba Katonda nga nkyalina omubiri gwange,
27 Nze kennyini ndimulaba, so si mulala,+Amaaso gange galimulaba.
Naye muli mpulira nga ntendewaliddwa!
28 Kubanga mugamba nti, ‘Tumuyigganya tutya?’+
Okuva bwe kiri nti nze nvaako obuzibu.
29 Mutye ekitala,+Kubanga abakola ebibi babonerezebwa na kitala;Kale mumanye nga waliyo omulamuzi.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Munvumye.”
^ Oba, “Ab’eŋŋanda zange.”
^ Obut., “abaana b’enda yange,” kwe kugamba, olubuto olwanzaala (olubuto lwa mmange).
^ Obut., “ku nfuufu.”