Yobu 21:1-34
21 Awo Yobu n’addamu nti:
2 “Muwulirize bulungi kye ŋŋamba;Eyo ye ngeri gye muba munkubagizaamu.
3 Mundeke njogere;Bwe nnaamala okwogera mulyoke munkudaalire.+
4 Nneemulugunyiza bantu?
Singa kibadde bwe kityo, nnandibadde nva mu mbeera.
5 Muntunuulire, mwewuunye;Mukwate ku mimwa.
6 Bwe nkirowoozaako, nnakuwala,Nzenna ne nneesisiwala.
7 Lwaki ababi baba balamu,+Ne bakaddiwa, era ne bagaggawala?*+
8 Baba n’abaana baabwe bulijjo,Era balaba ne bazzukulu baabwe.
9 Amaka gaabwe gaba mu mirembe nga tewali kye gatya,+Era Katonda tababonereza na muggo gwe.
10 Ente zaabwe ennume ziwakisa enkazi;Era ente zaabwe zizaala bulungi era tezivaamu mawako.
11 Abaana baabwe baddukira wabweru ng’ekisibo,Era babuukabuuka nga badda eno n’eri.
12 Bayimba nga bwe bakuba obugoma obutono n’entongooliEra banyumirwa amaloboozi g’endere.+
13 Ababi baba basanyufu obulamu bwabwe bwonna,Era bakka emagombe* mu mirembe.*
14 Bagamba Katonda ow’amazima nti, ‘Tuveeko!
Tetwagala kumanya makubo go.+
15 Omuyinza w’Ebintu Byonna y’ani, tulyoke tumuweereze?+
Kitugasa ki okumumanya?’+
16 Naye nkimanyi nti tebalina buyinza ku by’obugagga byabwe.+
Endowooza* y’ababi endi wala.+
17 Mirundi emeka ettaala y’ababi lwe yali ezikiziddwa?+
Mirundi emeka lwe baali batuukiddwako akatyabaga?
Mirundi emeka Katonda lwe yali abazikirizza mu busungu bwe?
18 Baali babaddeko ng’ebisubi ebitwalibwa empewo,Era ng’ebisusunku ebitwalibwa embuyaga?
19 Katonda alibonereza abaana olw’ebibi bya kitaabwe.
Naye Katonda alimusasula era alikimanya.+
20 Amaaso ge gennyini ka galabe okuzikirira kwe,Era k’anywe obusungu bw’Omuyinza w’Ebintu Byonna.+
21 Kubanga bw’amala okuvaawo aba afaayo ki ku ebyo ebituuka ku b’omu nnyumba ye,Ng’emyezi gye gisaliddwako?+
22 Waliwo omuntu yenna ayinza okubaako ky’ayigiriza Katonda,+Nga y’asalira n’abantu ab’ekitiibwa omusango?+
23 Omuntu omu afa ng’akyalina amaanyi,+Ng’ali mu mirembe era nga talina kintu kyonna kimweraliikiriza,+
24 Ng’ebisambi bye bigezzeEra nga n’amagumba ge magumu.*
25 Naye omulala n’afa nga mwennyamivu,Nga taleganga ku kintu kyonna kirungi.
26 Bombi bagalamira mu nfuufu,+Envunyu ne zibabuutikira.+
27 Laba! mmanyi bulungi kye mulowooza,N’akabi ke muteesa okuntuusaako.+
28 Kubanga mugamba nti, ‘Ennyumba y’omukungu eri ludda wa?
Era weema omubi gye yabeerangamu eri ludda wa?’+
29 Abo abatambula eŋŋendo temubabuuzanga?
Temwekenneenya ebyo bye boogera,*
30 Nti omuntu omubi awonyezebwawo ku lunaku olw’akatyabagaN’anunulwa ku lunaku olw’obusungu?
31 Ani anaamunenya olw’enneeyisa ye?
Era ani anaamusasula olw’ekyo ky’akoze?
32 Bw’atwalibwa mu ntaana,Amalaalo ge gajja kukuumibwa.
33 Ebifunfugu by’omu kiwonvu bijja kumuwoomera,+Era abantu bonna bamugoberera,*+Okufaananako abo abatabalika abaamusookayo.
34 Kale lwaki mumbudaabuda n’ebigambo ebitaliimu nsa?+
Byonna bye mwogera bya bulimba!”
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “ne baba ba maanyi.”
^ Oba, “mu kaseera buseera,” kwe kugamba, bafa mangu nga tebawulidde bulumi.
^ Oba, “Amagezi; Enkwe.”
^ Obut., “ng’obusomyo bw’amagumba ge bubisi.”
^ Obut., “bubonero bwabwe.”
^ Obut., “ajja kuwalula abantu bonna.”