Yobu 24:1-25

  • Yobu ayongera okwogera (1-25)

    • ‘Lwaki Katonda tassaawo kiseera?’ (1)

    • Agamba nti Katonda aleka ebintu ebibi okubaawo (12)

    • Ababi baagala ekizikiza (13-17)

24  “Lwaki Omuyinza w’Ebintu Byonna tassaawo kiseera kya kusaliramu musango?+ Lwaki abo abamumanyi tebalaba lunaku lwe olw’okusalirako omusango?   Abantu bajjulula obubonero obulamba ensalosalo;+Banyaga endiga ne bazitwala mu malundiro gaabwe.   Batwala endogoyi z’abaana abatalina bakitaabwe,Era batwala ente ya nnamwandu ng’omusingo.+   Bagoba abaavu mu nguudo;Abateesobola abali mu nsi babeekweka.+   Abaavu banoonya emmere ng’endogoyi ez’omu nsiko+ bwe ziginoonya mu ddungu;Mu ddungu gye banoonya emmere ey’okuliisa abaana baabwe.   Bakungula mu nnimiro z’abalalaEra balonderera ebiba bisigalidde mu nnimiro z’emizabbibu ez’ababi.   Basula bwereere, nga tebalina kye bambadde;+Tebalina kya kwebikka mu budde obw’empewo.   Enkuba ey’omu nsozi ebakuba;Beekwata ku njazi olw’okubulwa aw’okweggama.   Omwana atalina kitaawe akwakkulwa ku mabeere ga nnyina;+Era ebyambalo by’abaavu bitwalibwa ng’omusingo,+ 10  Ne bawalirizibwa okutambula obukunya, nga tebalina kye bambadde,N’okulumwa enjala nga beetisse ebinywa by’emmere ey’empeke. 11  Bakuluusana mu musana omungi nga bali wakati w’ebisenge by’amayinja;Basogola ezzabbibu mu masogolero, kyokka ne balumwa ennyonta.+ 12  Abafa basindira mu kibuga;N’abatuusiddwako ebisago eby’amaanyi bawanjaga,+Naye Katonda takifaako.* 13  Waliwo abo abajeemera ekitangaala;Tebategeera makubo gaakyo,+Era tebatambulira mu mpenda zaakyo. 14  Omutemu agolokoka ng’obudde bukya,N’atta ateesobola n’omwavu,+Ate ekiro n’abba. 15  Amaaso g’omusajja omwenzi galinda obudde ne buwungeera,+N’agamba nti, ‘Tewali n’omu ajja kundaba!’+ Ne yeebikka mu maaso. 16  Ekiro bamenya ennyumba ne bayingira;Emisana beggalira mu nnyumba. Beewala ekitangaala.+ 17  Gye bali, obudde obw’oku makya bulinga ekizikiza ekikutte;Bamanyidde ebintu eby’entiisa eby’omu kizikiza ekikutte. 18  Naye batwalibwa amazzi. Ekibanja kyabwe kijja kukolimirwa.+ Tebaliddayo mu nnimiro zaabwe ez’emizabbibu. 19  Ng’ekyeya n’ebbugumu bwe bimalawo omuzira ogusaanuuse,N’amagombe* bwe gatyo bwe gamalawo aboonoonyi.+ 20  Nnyina ajja kumwerabira, n’envunyu zijja kumulya. Tajja kujjukirwa nate.+ Era obutali butuukirivu bujja kumenyebwa ng’omuti. 21  Ayisa bubi omukazi omugumba,Era abonyaabonya nnamwandu. 22  Katonda ajja kukozesa amaanyi ge okuggyawo ab’amaanyi;Ne bwe baba mu bifo ebya waggulu tebaba na ssuubi ku bulamu. 23  Katonda abaleka ne baba bagumu era ne bawulira nga balina obukuumi,+Naye amaaso ge galaba byonna bye bakola.*+ 24  Bagulumizibwa okumala akaseera katono, oluvannyuma ne basaanawo.+ Bafeebezebwa+ era ne bafa ng’abantu abalala bonna;Basalibwa ng’ebirimba by’eŋŋaano ebisalibwa ku kikolo. 25  Kale ani ayinza okuleeta obukakafu obulaga nti ndi mulimba,Oba okuwakanya ebigambo byange?”

Obugambo Obuli Wansi

Era kiyinza okuvvuunulwa, “Katonda talina gw’avunaana.”
Laba Awanny.
Obut., “amakubo gaabwe.”