Yobu 25:1-6
25 Awo Birudaadi+ Omusuuki n’addamu nti:
2 “Obufuzi n’amaanyi ag’entiisa bibye;Assaawo emirembe mu ggulu.
3 Amagye ge gasobola okubalibwa?
Ani atayakirwa kitangaala kye?
4 Kati olwo, omuntu obuntu ayinza atya okuba omutuukirivu mu maaso ga Katonda,+Oba omuntu azaalibwa omukazi ayinza atya obutabaako musango?*+
5 Bwe kiba nti gy’ali omwezi tegwaka,Era nga n’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge,
6 Kati olwo kiba kitya eri omuntu obuntu alinga envunyu,Era omwana w’omuntu alinga olusiriŋŋanyi!”
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “okuba omulongoofu.”