Yobu 27:1-23
27 Awo Yobu ne yeeyongera okwogera, n’agamba nti:
2 “Nga Katonda atandaze bwenkanya+ bw’ali omulamu,Era ng’Omuyinza w’Ebintu Byonna andeetedde ennaku eno+ bw’ali omulamu,
3 Bwe mba nga nkyassa,Era nga n’omukka oguva eri Katonda gukyandimu,+
4 Emimwa gyange tegijja kwogera bitali bya butuukirivu;N’olulimi lwange telujja kwogera bya bulimba!
5 Kikafuuwe nze okubayita abatuukirivu!
Okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu* bwange!+
6 Nja kukuuma obutuukirivu bwange era siribuleka;+Omutima gwange tegujja kunvunaana obulamu bwange bwonna.
7 Omulabe wange k’abe ng’ababi,N’abo abankuba ka babe ng’abatali batuukirivu.
8 Omuntu atatya Katonda* aba na ssuubi ki bw’aba ng’azikiriziddwa,+Nga Katonda aggyeewo obulamu bwe?
9 Katonda anaawulira okwegayirira kweBw’anaaba mu buyinike?+
10 Oba omuntu oyo anaasanyuka olw’Omuyinza w’Ebintu Byonna?
Anaakoowoola Katonda ebbanga lyonna?
11 Nja kubayigiriza ebikwata ku maanyi ga Katonda;*Sijja kubakisa kintu kyonna ekikwata ku Muyinza w’Ebintu Byonna.
12 Bwe muba nga mmwenna mwafuna okwolesebwa,Lwaki bye mwogera tebiriimu nsa?
13 Guno gwe mugabo omuntu omubi gw’afuna okuva eri Katonda,+Obusika abo abanyigiriza abalala bwe bafuna okuva eri Omuyinza w’Ebintu Byonna.
14 Abaana be bwe banaayala, bajja kuttibwa n’ekitala,+Ne bazzukulu be tebajja kuba na mmere emala.
15 Abo abanaasigalawo bajja kufa endwadde,Era bannamwandu baabwe tebajja kubakaabira.
16 Ne bw’atuuma ffeeza n’aba ng’enfuufu,Era n’aba n’ebyambalo bingi ng’entuumu y’ebbumba,
17 Ne bw’abikuŋŋaanya,Omutuukirivu alibyambala,+N’abataliiko musango baligabana ffeeza we.
18 Ennyumba omubi gy’azimba eba nnafu ng’ekiyumba ky’ekiwuka,Eba ng’akasiisira+ k’omukuumi.
19 Ajja kugenda okwebaka nga mugagga, naye tajja kukungula kintu kyonna;Bw’anaazibula amaaso ge, tewajja kubaawo kintu kyonna.
20 Entiisa emubuutikira ng’amataba;Kibuyaga amukwakkula ekiro n’amutwala.+
21 Empewo ey’ebuvanjuba ejja kumutwala, asaanewo;Emuggya mu kifo w’abeera.+
22 Ejja kumukuntirako awatali kusaasira,+Nga bw’agezaako okugidduka.+
23 Emukubira mu ngaloEra n’emufuuyira oluwa+ ng’esinziira mu kifo kyayo.*
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “nja kukuuma obugolokofu.”
^ Oba, “Kyewaggula.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “nga nkozesa omukono gwa Katonda.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Bamukubira mu ngalo, era ne bamufuuyira oluwa nga basinziira mu kifo kyabwe.”