Yobu 28:1-28

  • Yobu alaga enjawulo wakati w’eby’obugagga n’amagezi (1-28)

    • Omuntu afuba okusima eby’obugagga eby’omu ttaka (1-11)

    • Amagezi ga muwendo okusinga luulu (18)

    • Okutya Yakuwa ge magezi (28)

28  “Eriyo ekifo gye basima ffeezaNe gye baggya zzaabu gwe balongoosa;+   Ekyuma kisimibwa mu ttaka,Amayinja gasaanuusibwa* ne bafunamu ekikomo.+   Omuntu agoba ekizikiza;Akkira ddala wansi mu kizikiza ekikutte,Ng’anoonya amayinja.   Asima mu bifo ebyesudde okuva abantu we babeera,Mu bifo ebyerabirwa, ebiri ewala ennyo okuva abantu we batambulira;Abantu abamu bakkirayo ku miguwa ne balengejja.   Emmere erimwa ku nsi;Naye wansi eyo wayiikuddwa ng’awookeddwa omuliro.   Eyo mu mayinja eriyo safiro,N’enfuufu erimu zzaabu.   Teri kinyonyi ekirya ennyama ekimanyi ekkubo erigendayo;Ne kamunye omuddugavu talirabangako.   Teri nsolo nkambwe yali eritambuliddemu;N’empologoma ey’amaanyi teriyitangamu.   Omuntu ayasa olwazi olugumu n’engalo ze;Asaanyaawo ensozi ng’azisima okuva ku ntobo yaazo. 10  Atema emikutu gy’amazzi+ mu njazi;N’amaaso ge galaba buli kintu eky’omuwendo ennyo. 11  Aziba ensulo z’emiggaEra ebyakisibwa abiteeka mu kitangaala. 12  Naye amagezi gayinza kusangibwa wa?+ Era okutegeera kusibuka wa?+ 13  Teri muntu ategeera muwendo gwago,+Era tewali we gayinza kusangibwa mu nsi. 14  Obuziba bugamba, ‘Tegali mu nze!’ N’ennyanja egamba, ‘Tegali nange!’+ 15  Tegagulwa zzaabu alongooseddwa;Ne ffeeza tapimibwa okugagula.+ 16  Era tegagulwa zzaabu w’e Ofiri,+Wadde amayinja ga sokamu n’aga safiro agatasangikasangika. 17  Zzaabu n’endabirwamu tebiyinza kugeraageranyizibwa nago;Era tegayinza kuwaanyisibwa na kibya kya zzaabu omulungi.*+ 18  Amayinja ag’omuwendo omungi ag’omu nnyanja n’amayinja agamasamasa tebiyinza kugeraageranyizibwa nago,+Kubanga ensawo ejjudde amagezi ya muwendo nnyo okusinga ensawo ejjudde luulu. 19  Tegayinza kugeraageranyizibwa na mayinja ga topazi+ ag’e Kuusi;Era tegayinza kugulwa zzaabu alongooseddwa. 20  Naye amagezi gava wa,Era okutegeera kusibuka wa?+ 21  Gakisiddwa ebiramu byonna,+Era gakisiddwa n’ebinyonyi eby’omu bbanga. 22  Okuzikirira n’okufa bigamba nti,‘Amatu gaffe gaawulirako buwulizi ebigoogerwako.’ 23  Katonda amanyi engeri y’okugafunamu;Ye yekka amanyi gye gali,+ 24  Kubanga alaba ensi gy’ekoma,Era alaba buli kimu ekiri wansi w’eggulu.+ 25  Bwe yawa empewo amaanyi* gaayo,+Era n’apima amazzi,+ 26  Bwe yateerawo enkuba etteeka,+N’enkuba erimu okubwatuka ne kibuyaga n’agiteerawo ekkubo,+ 27  Olwo n’alaba amagezi era n’annyonnyola kye gali;Yagassaawo era n’agagezesa. 28  Awo n’agamba omuntu nti: ‘Laba! Okutya Yakuwa ge magezi,+Era okwewala ebintu ebibi kwe kutegeera.’”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “gafukibwa.”
Oba, “alongooseddwa.”
Obut., “obuzito.”