Yobu 31:1-40
31 “Nnakola endagaano n’amaaso gange.+
Kale nnyinza ntya okutunuulira omukazi omulala ne mmwegwanyiza?+
2 Singa nkikola, mugabo ki gwe nfuna okuva eri Katonda ali mu gguluEra busika ki bwe nfuna okuva waggulu eri Omuyinza w’Ebintu Byonna?
3 Akabi tekalindirira mwonoonyi?
N’emitawaana tegirindirira abo abakola ebintu ebibi?+
4 Talaba makubo gange+Era ebigere byonna bye ntambula tabibala?
5 Nnali njogeddeko ebitali bya mazima?
Nnali nnimbyeko omuntu yenna?+
6 Katonda k’ampime ku minzaani entuufu;+Ajja kutegeera obugolokofu bwange.+
7 Ebigere byange bwe biba nga byawaba okuva mu kkubo+Oba ng’omutima gwange gwagoberera amaaso gange+Oba ng’engalo zange si nnongoofu,
8 Kale ka nsige omuntu omulala alye,+Era bye nsimba ka bikuulibwe.*
9 Omutima gwange bwe guba nga gwegomba omukazi,+Ne nteegera+ ku mulyango gwa muliraanwa wange,
10 Kale mukazi wange k’ase eŋŋaano y’omusajja omulalaEra abasajja abalala ka beegatte naye.*+
11 Kubanga ekyo kyandibadde kikolwa kya buswavu,Yandibadde nsobi egwanira omuntu okubonerezebwa abalamuzi.+
12 Gwandibadde muliro ogwokya era oguzikiriza,*+Ne gusaanyaawo n’ebintu byonna bye nnina.
13 Abaweereza bange abasajja oba abakazi bwe mba nga saabalaga bwenkanya,Nga balina kye banneemulugunyaako,*
14 Kale nnaakola ntya nga Katonda anjolekedde?*
Nnaamuddamu ki ng’ayagala mmunnyonnyole?+
15 Eyantonda mu lubuto lwa mmange nabo si ye yabatonda?+
Ffenna si ye yatubumba nga tetunnazaalibwa?*+
16 Bwe kiba nti abaavu nnabamma bye baali beetaaga,+Oba nga nnanakuwaza nnamwandu;*+
17 Bwe mba nga nnalyanga emmere yange nzekkaNe siwa ku bamulekwa;+
18 (Kubanga okuva mu buvubuka bwange bamulekwa babadde bantwala nga kitaabwe,Era okuva obuto* mbadde ndabirira bannamwandu.)
19 Bwe mba nga nnalaba omuntu yenna ng’afa empewo olw’obutaba na kya kwambala,Oba omwavu nga talina kya kwebikka;+
20 Bw’aba nga teyansabira mukisa,+Nga yeebisse ekyambalo ky’ebyoya by’endiga zange;
21 Bwe mba nga nnatiisatiisa mulekwa okumukuba ekikonde+Bwe yali ayagala mmuyambe ku mulyango gw’ekibuga;*+
22 Kale omukono gwange ka gukutuke ku kibegaabega kyange,Era ka gumenyekere mu lukokola.
23 Kubanga nnali ntya okubonerezebwa Katonda,Era nnali siyinza kuyimirira mu maaso ga kitiibwa kye.
24 Bwe mba nga nnateeka obwesige bwange mu zzaabu,Oba nga nnagamba zzaabu omulungi nti, ‘Ggwe bukuumi bwange!’+
25 Bwe mba nga nneewaananga olw’obugagga bwange obungi+N’olw’ebintu ebingi bye nnafuna;+
26 Bwe mba nga nnalaba enjuba* ng’eyakaOba omwezi nga gutambula mu kitiibwa kyagwo;+
27 Omutima gwange ne gusikirizibwa,Era omumwa gwange ne gunywegera omukono gwange okubisinza;+
28 Kale ekyo kyandibadde kibi ekigwanira omuntu okubonerezebwa abalamuzi,Kubanga nnandibadde nneegaanye Katonda ow’amazima ali mu ggulu.
29 Nnali nsanyukidde okuzikirizibwa kw’omulabe wange+Oba okujaganya ng’afunye ekizibu?
30 Saaganyanga kamwa kange kwonoonaNga mmukolimira afe.+
31 Abantu b’omu weema yange tebaagambanga nti,‘Ani ayinza okuzuula oyo atakkuse mmere ya Yobu?’+
32 Abantu be simanyi* tebaasulanga bweru;+Abatambuze nnabagguliranga enzigi zange.
33 Nnali ngezezzaako okukweka ebibi byange ng’abantu abalala bwe bakola,+Okukweka ensobi zange mu nsawo y’ekyambalo kyange?
34 Nnali ntidde ekibiina ky’abantu,Oba nnali ntidde okunyoomebwa amaka amalala,Ne nsirika ne ntya n’okufuluma ebweru?
35 Kale singa wabaawo ampuliriza!+
Nnanditadde omukono ku ebyo bye njogedde.
Omuyinza w’Ebintu Byonna k’anziremu!+
Kale singa oyo annumiriza awandiika by’anvunaana mu kiwandiiko!
36 Nnandikisitulidde ku kibegaabega kyange,Nnandikisibye ku mutwe gwange ne kiba ng’engule.
37 Nnandimutegeezezza buli kigere kye nnatambula;Nnandimutuukiridde ng’omulangira, nga sirina kye ntya.
38 Ettaka lyange bwe liba nga lyankaabiriraEra nga n’ensalosalo zaalyo zaakaabira wamu;
39 Bwe mba nga nnalya ebibala byalyo nga sibisasulidde,+Oba nga nnanakuwaza bannyiniryo;+
40 Kale ettaka ka limeremu amaggwa mu kifo ky’eŋŋaano,Era ka limeremu omuddo oguwunya obubi mu kifo kya ssayiri.”
Ebigambo bya Yobu bikomye wano.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “bazzukulu bange ka bakuulibwe.”
^ Obut., “abasajja abalala ka bamufukamireko.”
^ Obut., “ogulya okutuusa lwe guzikiriza.”
^ Oba, “Nga balina omusango gwe banvunaana.”
^ Obut., “ayimuse?”
^ Obut., “mu lubuto.”
^ Obut., “nnaleetera amaaso ga nnamwandu okuziba.”
^ Obut., “okuva mu lubuto lwa mmange.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Bwe nnalaba nga nnina obuyambi ku mulyango gw’ekibuga.”
^ Obut., “ekitangaala.”
^ Oba, “Abagwira.”