Yobu 32:1-22
32 Awo abasajja abo abasatu ne balekera awo okwogera ne Yobu, kubanga yali yeekakasa nti mutuukirivu.*+
2 Naye Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi+ ow’omu luggya lwa Laamu yali musunguwavu nnyo. Yasunguwalira Yobu olw’okuba yali agezaako okulaga nti ye mutuufu so si Katonda.+
3 Yasunguwalira ne mikwano gya Yobu abasatu olw’okuba baabulwa eky’okumuddamu ekituufu, kyokka ne bagamba nti Katonda mubi.+
4 Eriku yali akyalinze okubaako ky’addamu Yobu, olw’okuba baali bamusinga obukulu.+
5 Bwe yalaba ng’abasajja abo abasatu babuliddwa eky’okwogera, obusungu bwe ne bubuubuuka.
6 Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n’atandika okwogera n’agamba nti:
“Nze ndi muto mu myaka,*Mmwe muli bakadde.+
Kyenvudde nsirika olw’okuba mbassaamu ekitiibwa,+Ne seetantala kubabuulira kye mmanyi.
7 Ndowoozezza nti, ‘Abakulu ka boogere,*Era ab’emyaka emingi ka boogere eby’amagezi.’
8 Omwoyo omutukuvu Katonda gw’awa abantu,Omukka gw’Omuyinza w’Ebintu Byonna, gwe gubawa okutegeera.+
9 Okukula si kwe kwokka okugeziwaza* omuntu,Era abakadde si be bokka abamanyi ekituufu.+
10 Kyenva ŋŋamba nti, ‘Mumpulirize,Nange mbabuulire kye mmanyi.’
11 Laba! Nnindiridde ebigambo byammwe;Mpulirizza ensonga zammwe,+Nga munoonya eby’okwogera.+
12 Mbawulirizza bulungi,Naye tewali n’omu ku mmwe asobodde kulaga nti Yobu mukyamu,*Oba ayanukudde ebigambo bye.
13 N’olwekyo temugamba nti, ‘Tuzudde amagezi;Katonda y’ayinza okulaga nti mukyamu so si abantu.’
14 Ebigambo bye tabyolekezza nze,Kale sijja kumuddamu mu ngeri gye mumuzzeemu.
15 Basobeddwa, babuliddwa eby’okuddamu;Tebakyalina kya kwogera.
16 Nnindiridde, naye tebakyalina kya kwogera;Bayimiridde buyimirizi awo, tebakyalina kya kuddamu.
17 Nange ka mbeeko kye njogera;Nange ka njogere kye mmanyi,
18 Kubanga nnina bingi eby’okwogera;Omwoyo omutukuvu oguli mu nze gumpaliriza.
19 Munda yange nninga omwenge ogusaanikiddwa,Nninga ensawo z’omwenge ez’amaliba empya ezaagala okwabika.+
20 Ka njogere mpeweere!
Ka njasamye akamwa kange mbeeko kye nziramu.
21 Sijja kwekubiira ku ludda lwa muntu yenna;+Era sijja kubaako muntu yenna gwe mpaanawaana,
22 Kubanga simanyi kuwaanawaana;Singa nkikola, Omutonzi wange asobola okunsaanyaawo mu bwangu.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “yali yeetwala nti mutuukirivu.”
^ Obut., “ndi mutono mu nnaku.”
^ Obut., “Ennaku ka zoogere.”
^ Oba, “Ennaku ennyingi si ze zokka ezigeziwaza.”
^ Oba, “kunenya Yobu.”