Yobu 34:1-37

  • Eriku ayogera ku bwenkanya bwa Katonda n’amakubo ge (1-37)

    • Yobu yagamba nti Katonda teyamulaga bwenkanya (5)

    • Katonda ow’amazima tayinza kukola kibi (10)

    • Yobu ayogeza butamanya (35)

34  Awo Eriku ne yeeyongera okwogera n’agamba nti:   “Muwulirize ebigambo byange, mmwe ab’amagezi;Mumpulirize mmwe abamanyi ebingi.   Kubanga okutu kugezesa ebigamboNg’olulimi bwe lulega ku mmere.   Ka tweyawulirewo ekituufu;Ka twesalirewo ekirungi.   Kubanga Yobu agambye nti, ‘Ndi mutuufu,+Naye Katonda tandaze bwenkanya.+   Nnyinza okwogera eby’obulimba ku ngeri gye ŋŋwanidde okulamulwamu? Ekiwundu kyange tekisobola kuwona, wadde nga sirina kibi kye nkoze.’+   Muntu ki alinga Yobu,Anywa obunyoomi ng’amazzi?   Abeera n’abakozi b’ebibi,Era abeera wamu n’abantu ababi.+   Agambye nti, ‘Omuntu talina ky’aganyulwaMu kugezaako okusanyusa Katonda.’+ 10  N’olwekyo mumpulirize mmwe abasajja abategeevu:* Tekiyinzika Katonda ow’amazima okukola ebintu ebibi,+Tekiyinzika Omuyinza w’Ebintu Byonna okukola ekikyamu!+ 11  Kubanga ajja kusasula omuntu okusinziira ku bikolwa bye,+Era ajja kumuleka atuukibweko ebiva mu makubo ge. 12  Mazima ddala Katonda tayinza kukola bintu bibi;+Omuyinza w’Ebintu Byonna tayinza kukola kitali kya bwenkanya.+ 13  Ani yamuwa omulimu gw’okulabirira ensi,Era ani yamussaawo okufuga ensi yonna? 14  Bw’abassaako ebirowoozo bye,*Bw’abaggyako omwoyo gwe n’omukka gwe,+ 15  Abantu bonna bafa,Ne baddayo mu nfuufu.+ 16  Bw’oba ng’olina okutegeera, ssaayo omwoyo ku kino;Wuliriza n’obwegendereza kye ŋŋamba. 17  Omuntu atayagala bwenkanya asaanidde okufuga,Oba wandinenyezza omuntu ow’amaanyi omutuukirivu? 18  Oyinza okugamba kabaka nti, ‘Tolina mugaso,’ Oba abakungu nti, ‘Muli babi’?+ 19  Waliwo Oyo ateekubiira ku ludda lw’abaami,Era abagagga n’abaavu* abayisa kyenkanyi,+Kubanga bonna mirimu gya mikono gye.+ 20  Bayinza okufa ekibwatukira+ mu matumbi budde;+Bakankana nnyo ne bafa;N’ab’amaanyi baggibwawo, naye si na mikono gya bantu.+ 21  Kubanga amaaso ga Katonda galaba amakubo g’omuntu,+Era alaba empenda ze zonna. 22  Teri kizikiza oba kisiikirizeAbabi gye bayinza okwekweka.+ 23  Kubanga Katonda talina muntu yenna gwe yagerekera ekiseeraOkuyimirira mu maaso ge alamulwe. 24  Amenya ab’amaanyi nga tekimwetaagisizza kunoonyereza,Era assaawo abalala mu kifo kyabwe.+ 25  Kubanga amanyi bye bakola;+Abawangula ekiro, ne bazikirizibwa.+ 26  Abakuba olw’ebikolwa byabwe ebibi,Mu kifo abantu bonna we basobola okulabira,+ 27  Olw’okuba balekedde awo okumugoberera,+Era tebafaayo ku makubo ge;+ 28  Baleetera abaavu okumukaabirira,N’awulira okukaaba kw’abo abateesobola.+ 29  Katonda bw’asirika ani ayinza okumunenya? Bw’akweka amaaso ge, ani ayinza okumulaba? K’abe ng’agakwese ggwanga oba muntu, ebivaamu bye bimu, 30  Omuntu atatya Katonda* aleme okufuga+Oba okutega abantu emitego. 31  Waliwo ayinza okugamba Katonda nti,‘Mbonerezeddwa wadde nga sizzizza musango;+ 32  Njigiriza kye simanyi;Bwe mba nga nnina ekikyamu kye nnakola, siriddamu kukikola’? 33  Akusasule nga bw’oyagala ng’ate tokkiriza by’asazeewo? Ggwe olina okusalawo so si nze. Kale, mbuulira ky’omanyi obulungi. 34  Abantu abategeevu* bajja kuŋŋamba,—Omuntu yenna ow’amagezi awulira bye njogera ajja kuŋŋamba nti— 35  ‘Yobu ayogeza butamanya,+Era ebigambo bye si bya magezi.’ 36  Yobu k’agezesebwe* mu bujjuvuKubanga by’addamu biringa ebyo abantu ababi bye baddamu! 37  Ku kibi kye ayongerako bujeemu;+Akuba mu ngalo ze n’obunyoomi ng’ali mu maaso gaffeEra ayogera ku Katonda ow’amazima ebigambo bingi ebivvoola!”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “omutima.”
Obut., “omutima gwe.”
Oba, “ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa.”
Oba, “Kyewaggula.”
Obut., “abalina omutima.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Kitange, Yobu k’agezesebwe.”