Yobu 35:1-16
35 Eriku ne yeeyongera okwogera n’agamba nti:
2 “Oli mukakafu ddala nti oli mutuufu n’otuuka n’okugamba nti,‘Ndi mutuukirivu okusinga Katonda’?+
3 Ogamba nti, ‘Kikugasa kitya?*
Ndi bulungi okusinga bwe nnandibadde nga nnyonoonye?’+
4 Nja kukuddamu ggweNe mikwano gyo+ b’oli nabo.
5 Tunula waggulu olabe,Weetegereze ebire+ ebiri waggulu.
6 Bw’oyonoona, omulumya otya?+
Ebibi byo bwe byeyongera obungi, omukolako ki?+
7 Bw’obeera omutuukirivu, omuwa ki;Kiki ky’akufunako?+
8 Ebikolwa byo ebibi birumya muntu nga ggwe,N’obutuukirivu bwo buyamba mwana wa muntu.
9 Abantu balaajana olw’okunyigirizibwa okungi;Balaajana bawone okufugibwa ab’amaanyi.*+
10 Naye tewali n’omu agamba nti, ‘Katonda ali ludda wa, Omutonzi wange ow’Ekitalo,+Oyo aviirako ennyimba okuyimbibwa ekiro?’+
11 Atuyigiriza+ bingi okusinga ensolo ez’oku nsi,+Atufuula ba magezi okusinga ebinyonyi eby’omu bbanga.
12 Abantu bakoowoola naye taddamu,+Olw’amalala g’ababi.+
13 Mazima ddala Katonda tawuliriza bigambo bitaliimu;*+Omuyinza w’Ebintu Byonna tabissaako mwoyo.
14 Kati olwo kiba kitya bwe weemulugunya nti tomulaba!+
Ensonga zo ziri mu maaso ge, n’olwekyo mulindirire.+
15 Kubanga takubonerezza na busungu;Era tafuddeeyo wadde nga tobadde mwegendereza.+
16 Yobu ayasamiza bwereere akamwa ke;Ayogera ebigambo bingi mu butamanya.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Kirabika ayogera ku Katonda.
^ Obut., “omukono gw’ab’amaanyi.”
^ Oba, “bulimba.”