Yobu 7:1-21
7 “Obulamu bw’omuntu ku nsi si bwa kukuluusana?
N’ennaku ze teziri ng’ez’omupakasi?+
2 Yeegomba ekisiikirize ng’omuddu,Era alindirira empeera ye ng’omupakasi.+
3 Bwe ntyo nange nnagabana emyezi egitangasa,Era nnaweebwa obudde obw’ekiro obw’okulabiramu ennaku.+
4 Bwe ngalamira wansi nneebuuza nti, ‘Nnaayimuka ddi?’+
Era obudde bwe bulwawo okukya, nkulungutana okukeesa obudde.*
5 Omubiri gwange gujjudde envunyu n’ettaka;+Olususu lwange lujjudde ebikakampa n’amasira.+
6 Ennaku zange zidduka okusinga ekyuma ky’omulusi w’engoye,+Ziggwaawo awatali ssuubi.+
7 Jjukira nti obulamu bwange mpewo,+Era nti n’eriiso lyange terikyaddamu kulaba ssanyu.*
8 Eriiso erindaba leero teririddamu kundaba;Amaaso go galinnoonya, naye ndiba sikyaliwo.+
9 Ng’ekire bwe kiggwaawo ne kibula;N’oyo akka emagombe* tavaayo.+
10 Talikomawo nate mu nnyumba ye,N’abo be yabeeranga nabo balimwerabira.+
11 N’olwekyo sijja kusirika.
Nja kwogera n’obulumi ku mwoyo;Nja kwemulugunya olw’ennaku yange ennyingi!+
12 Ndi nnyanja oba ogusolo ogunene ogw’omu nnyanja,Olyoke onteekeko omukuumi?
13 Bwe ŋŋamba nti, ‘Ekitanda kyange kinampeweeza,Era nti obuliri bwange bunaakendeeza ku nnaku yange,’
14 Ontiisa n’ebirooto,Era onkanga n’okwolesebwa,
15 Ne nnondawo okufa ekiziyiro,Mu kifo ky’okuba n’omubiri guno.*+
16 Nneetamiddwa obulamu;+ sikyayagala kweyongera kuba mulamu.
Ndeka, kubanga ennaku zange ziringa omukka.+
17 Omuntu obuntu kye ki olyoke omufeeko,Era omusseeko omwoyo?*+
18 Lwaki omwekebejja buli ku makya,Era n’omugezesa buli kiseera?+
19 Tonzigyeeko maaso go,N’ondeka ne mmira ku malusu?+
20 Bwe mba nnayonoona, nnyinza kukukolako kabi ki, ggwe eyeetegereza abantu?+
Lwaki ombonereza?
Nfuuse mugugu gy’oli?
21 Lwaki tonsonyiwa kyonoono kyangeN’ensobi yange?
Kubanga nnaatera okugalamira mu nfuufu;+Era olinnoonya, naye ndiba sikyaliwo.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “okutuusa emmambya lw’esala.”
^ Obut., “kulaba birungi.”
^ Obut., “Mu kifo ky’amagumba gange.”
^ Obut., “omusseeko omutima.”